EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 10-11
Musa ne Alooni Booleka Obuvumu
Musa ne Alooni baayoleka obuvumu bwe baayogera ne Falaawo omusajja eyali asinga okuba n’obuyinza mu nsi yonna mu kiseera ekyo. Kiki ekyabayamba okuba abavumu? Bayibuli eyogera bw’eti ku Musa: “Olw’okukkiriza, yava e Misiri, n’atatya busungu bwa kabaka, kubanga yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.” (Beb 11:27) Musa ne Alooni baalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa era baamwesiganga.
Mbeera ki eziyinza okukwetaagisa okwoleka obuvumu n’olwanirira okukkiriza kwo mu b’obuyinza?