LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 1 lup. 8-9
  • Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Similar Material
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ekitundu 11
    Wuliriza Katonda
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 1 lup. 8-9

Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?

Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, ayagala nnyo okuwuliriza essaala zaffe bwe tumusaba mu bwesimbu. Naye waliwo ebiyinza okumuleetera obutaddamu ssaala zaffe. Bye biruwa ebyo? Era biki bye tusaanidde okukuumira mu birowoozo nga tusaba? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba.

Abantu mu kkanisa nga basoma essaala eyawandiikibwa mu kitabo.

“Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga mu bigambo.”​—Matayo 6:7.

Yakuwa tayagala tuddiŋŋane ssaala ze twakwata mu mutwe oba okusoma ezaawandiikibwa mu bitabo. Mu kifo ky’ekyo, ayagala tumubuulire ebituli ku mutima. Wandiwulidde otya, singa mukwano gwo ayogera naawe ng’akozesa ebigambo bye bimu buli kiseera? Abantu ab’omukwano baba beesimbu, era buli omu abuulira munne ebimuli ku mutima. Bwe tusaba Kitaffe ow’omu ggulu nga tumubuulira ebituli ku mutima, kiba kiraga nti tumutwala nga mukwano gwaffe.

Omusajja atunudde waggulu nga bw’atakula akapapula okulaba obanga awangudde.

“Bwe musaba temufuna kubanga musaba olw’ekigendererwa ekikyamu.”​—Yakobo 4:3.

Tetuyinza kusuubira nti Katonda ajja kuddamu essaala zaffe singa tumusaba ekintu kye tumanyi nti takyagala. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’akuba zzaala n’asaba Katonda amuwe omukisa awangule, ddala Katonda asobola okuddamu essaala ng’eyo? Nedda. Katonda atugamba okwewala omululu n’obutakkiririza mu bintu ebitali bya ddala. (Isaaya 65:11; Lukka 12:15) Katonda okusobola okuddamu essaala zaffe, tulina okukakasa nti ebyo bye tumusabye bikwatagana n’ebyo by’atugamba mu Bayibuli.

Munnaddiini ng’asabira abasirikale.

“Agaana okuwuliriza amateeka, n’okusaba kwe kuba kwa muzizo.”​—Engero 28:9.

Mu biseera eby’edda, Katonda yagaana okuwuliriza okusaba kw’abo abaali bamenya amateeka ge. (Isaaya 1:15, 16) Katonda takyukanga. (Malaki 3:6) Bwe tuba twagala Katonda awulire okusaba kwaffe, tulina okufuba okukola ebyo by’ayagala. Watya singa twakola ebintu ebibi mu biseera ebyayita? Ekyo kitegeeza nti Katonda tasobola kuwuliriza ssaala zaffe? Nedda! Bwe twenenya era ne tufuba okukola ebisanyusa Katonda, atusonyiwa.​—Ebikolwa 3:19.

“Oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”​—Abebbulaniya 11:6.

Omukazi ng’asoma Bayibuli.

Okusaba tetusaanidde kukutwala ng’ekintu kye tukola okusobola okuwulira obuwulizi obulungi nga tulina ebitweraliikiriza. Bwe tusaba, tuba tulaga nti twesiga Katonda era nti tumukkiririzaamu. Omutume Yakobo yagamba nti bwe tusaba nga tetulina kukkiriza, ‘tetusuubira nti tujja kufuna ekintu kyonna okuva eri Yakuwa.’ (Yakobo 1:6, 7) Okusobola okuba n’okukkiriza mu Katonda, tulina okuwaayo ebiseera okusoma Bayibuli tusobole okumanya ebimukwatako. Bwe tunaakola bwe tutyo, kijja kutuyamba okumanya Katonda by’ayagala n’okuba abakakafu nti awulira okusaba kwaffe.

TOKOOWA KUSABA!

Wadde ng’essaala ezimu Katonda taziddamu, awulira era addamu essaala z’abantu bukadde na bukadde abamusaba mu bwesimbu. Bayibuli eraga engeri gy’osaanidde okusabamu, essaala zo zisobole okuwulirwa Katonda. Ekitundu ekiddako kyogera ku nsonga eyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share