LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 2 lup. 4-6
  • Ensi Eno Egenda Kusaanawo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensi Eno Egenda Kusaanawo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Biki Ebitajja Kusaanawo?
  • Kiki Ekijja Okukoma?
  • EKYETAAGISA​—Obufuzi bw’Abantu Okukoma
  • Ensi Eneezikirizibwa?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Amazzi Gaasaanyaawo Ensi—Kiribaawo Nate?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Enkomerero Ogitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Enkomerero”—Kye Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 2 lup. 4-6
Ab’omu maka abasanyufu nga baliira wamu. Taata ateeka essowaani y’emmere ku mmeeza.

Ensi Eno Egenda Kusaanawo?

Oboolyawo okimanyi nti Bayibuli eyogera ku nkomerero y’ensi. (1 Yokaana 2:17) Eba etegeeza nti abantu bonna abali ku nsi bajja kusaanawo? Ensi eneesigala njereere nga teriimu kintu kyonna kiramu oba eneesaanyizibwawo?

EBIBUUZO EBYO BYOMBI BAYIBULI EBIDDAMU NTI NEDDA!

Biki Ebitajja Kusaanawo?

ABANTU

Bayibuli ky’egamba: Katonda “[ensi] teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu.”​—ISAAYA 45:18.

Ennyanja eyeetooloddwa ensozi n’ebibira.

ENSI

Bayibuli ky’egamba: “Omulembe ogumu gugenda, ate omulembe omulala ne guddawo, naye ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.”​—OMUBUULIZI 1:4.

KYE KITEGEEZA: Okusinziira ku Bayibuli, ensi tejja kuzikirizibwa era ejja kweyongera okubeerako abantu. Kati olwo Bayibuli eba etegeeza ki bw’eyogera ku nkomerero y’ensi?

LOWOOZA KU KINO: Bayibuli bw’eba eyogera ku nkomerero y’ensi, egigeraageranya ku ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Mu kiseera ekyo, ensi yali “ejjudde ebikolwa eby’obukambwe.” (Olubereberye 6:13) Naye ye Nuuwa yali mutuukirivu. Bwe kityo Katonda yamuwonyaawo n’ab’omu maka ge, naye n’azikiriza abantu ababi ng’akozesa amataba. Ng’eyogera ku kyaliwo, Bayibuli egamba nti: “Ensi ey’omu kiseera ekyo yazikirizibwa bwe yabuutikirwa amazzi.” (2 Peetero 3:6) Eyo ye yali enkomerero y’ensi eyaliwo mu kiseera ekyo. Weetegereze nti ensi si ye yaggibwawo wabula abantu ababi abaali ku nsi. N’olwekyo Bayibuli bw’eyogera ku nkomerero y’ensi, eba tetegeeza nti ensi kwe tuli y’ejja okusaanyizibwawo, wabula abantu ababi abali ku nsi n’enteekateeka ze bataddewo bye bijja okusaanyizibwawo.

Kiki Ekijja Okukoma?

EBIZIBU N’EBIKOLWA EBIBI

Bayibuli ky’egamba: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo; olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”​—ZABBULI 37:10, 11.

Ebifaananyi: 1. Ababbi bafuluma mu dduuka nga bambadde obukookolo era nga bakutte ebintu bye babbye. 2. Omusajja awa munne ensawo ejjudde ssente.

KYE KITEGEEZA: Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa tegaggirawo ddala bikolwa bibi. Oluvannyuma lw’Amataba, abantu ababi baddamu okukola ebintu ebireetera abalala okubonaabona. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda agenda kuggirawo ddala ebikolwa ebibi. Ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yagamba: “Ababi tebalibaawo.” Katonda ajja kumalawo ebikolwa ebibi ng’akozesa Obwakabaka bwe, ng’eno ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuga abantu abalungi abajja okubeera ku nsi.

LOWOOZA KU KINO: Abafuzi b’ensi banaasanyuka ng’Obwakabaka bwa Katonda butandise okufuga ensi? Bayibuli eraga nti tebajja kusanyuka, era nti bajja kugezaako okubulwanyisa. (Zabbuli 2:2) Biki ebinaavaamu? Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna, era ‘bwo bwokka bwe bujja okubeerawo emirembe n’emirembe.’ (Danyeri 2:44) Naye lwaki obufuzi bw’abantu bwetaaga okukoma?

EKYETAAGISA​—Obufuzi bw’Abantu Okukoma

Bayibuli ky’egamba: “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”​—YEREMIYA 10:23.

Abantu bayita okumpi n’ekisenge ekitimbiddwako ebipande by’abeesimbyewo.

KYE KITEGEEZA: Abantu tebaatondebwa kwefuga bokka. Abantu tebasobola kufuga bulungi bantu bannaabwe era tebasobola kumalawo bizibu by’abantu.

LOWOOZA KU KINO: Ekitabo ekiyitibwa Britannica Academic kigamba nti, gavumenti z’amawanga zirabika tezisobola “kumalawo bizibu ebiruma abantu mu nsi yonna, gamba ng’obwavu, enjala, endwadde, obutyabaga, entalo, n’ebizibu ebirala.” Era kigattako nti: “Abamu . . . balowooza nti singa ensi yonna efugibwa gavumenti emu, ebizibu ebyo byandisobodde okugonjoolwa.” Kyokka, amawanga gonna ne bwe geegatta ne gakola gavumenti emu efuga ensi yonna, era ensi eba ekyafugibwa abantu abatatuukiridde abatasobola kugonjoola bizibu ebyogeddwako waggulu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bufuzi bwokka obusobola okumalirawo ddala ebizibu ebiri mu nsi.

N’olwekyo okusinziira ku Bayibuli, enkomerero y’ensi, kwe kugamba, enkomerero y’enteekateeka eno embi, si kye kintu abantu abakola Katonda by’ayagala kye basaanidde okutya. Mu kifo ky’ekyo, kintu kye basaanidde okwesunga, kubanga ensi eno ejjudde ebizibu eneetera okuvaawo waddewo ensi ya Katonda empya!

Ebyo byonna binaabaawo ddi? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share