EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15
Ossaawo ‘Ekyokulabirako Ekirungi mu Kwogera’?
“Beeranga kyakulabirako eri abeesigwa, mu kwogera.”—1 TIM. 4:12.
OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi
OMULAMWAa
1. Ani yatuwa obusobozi bwe tulina obw’okwogera?
OBUSOBOZI bwe tulina obw’okwogera kirabo okuva eri Katonda waffe atwagala ennyo. Amangu ddala nga Adamu yaakatondebwa, yali asobola okwogera ne Kitaawe ow’omu ggulu. Ate era Adamu yali asobola okuyiiyaayo ebigambo ebipya. Adamu yakozesa obusobozi obwo obw’okwogera okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yamuwa obw’okutuuma ebisolo byonna amannya. (Lub. 2:19) Ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo ku mulundi gwe yasookera ddala okwogera n’omuntu omulala, nga ye yali mukyala we Kaawa!—Lub. 2:22, 23.
2. Ekirabo eky’okwogera ky’akozesebwa kitya obubi mu biseera eby’edda era kikozesebwa kitya obubi leero?
2 Waayita ekiseera kitono, ekirabo eky’okwogera ne kitandika okukozesebwa obubi. Sitaani Omulyolyomi yalimba Kaawa, era obulimba obwo bwaviirako abantu okwonoona n’okufuuka abatatuukiridde. (Lub. 3:1-4) Adamu yakozesa bubi ekirabo eky’okwogera. Mu kifo ky’okukkiriza ensobi gye yali akoze, yanenya Kaawa era n’anenya ne Yakuwa. (Lub. 3:12) Kayini yalimba Yakuwa oluvannyuma lw’okutta muganda we Abbeeri. (Lub. 4:9) Muzzukulu wa Kayini ayitibwa Lameka yayiiya ekitontome ekyali kiraga nti ebikolwa eby’obukambwe byali biyitiridde nnyo mu kiseera kye. (Lub. 4:23, 24) Ate kiri kitya leero? Leero tulaba bannabyabufuzi abatakwatibwa na nsonyi kukozesa bigambo bibi mu lujjudde. Ate era leero kizibu okusanga vidiyo ataliimu bigambo bibi. Abaana bawulira ebigambo ebibi ku masomero, era n’abantu abakulu babiwulira mu bifo gye bakolera. Ebyo byonna biraga nti emitindo gy’empisa mu nsi gyeyongedde okwonooneka.
3. Kiki bye tusaanidde okwegendereza era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Bwe tuteegendereza tuyinza okumanyiira ebigambo ebibi abantu bye bakozesa, ne twesanga nga naffe tutandise okubikozesa. Kyo kituufu nti ffe Abakristaayo twagala okusanyusa Yakuwa, era tufuba okwewala okukozesa ebigambo ebibi. Twagala okukozesa ekirabo kyaffe eky’okwogera mu ngeri ennungi, kwe kugamba, okukikozesa okutendereza Katonda. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu (1) mu buweereza, (2) nga tuli mu nkuŋŋaana, era (3) nga tunyumya n’abalala. Naye okusooka, katulabe ensonga lwaki Yakuwa afaayo ku ngeri gye twogeramu.
YAKUWA AFAAYO NNYO KU NGERI GYE TWOGERAMU
Enjogera yo eraga ekiri mu mutima gwo? (Laba akatundu 4-5)d
4. Okusinziira ku Malaki 3:16, lwaki Yakuwa afaayo nnyo ku ngeri gye twogeramu?
4 Soma Malaki 3:16. Lowooza ku nsonga lwaki Yakuwa mu ‘kitabo kye eky’okujjukiza’ ateekamu amannya g’abo aboogera mu ngeri eraga nti bamutya era nga bafumiitiriza ku linnya lye? Engeri gye twogeramu eyolekera ddala ekituli ku mutima. Yesu yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) Ebyo bye twogerako biraga obanga twagala Yakuwa. Yakuwa ayagala abo abamwagala okunyumirwa obulamu emirembe gyonna mu nsi empya.
5. (a) Kakwate ki akaliwo wakati w’okusinza kwaffe n’engeri gye twogeramu? (b) Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, lwaki tulina okwegendereza bwe kituuka ku ngeri gye twogeramu?
5 Engeri gye twogeramu eyinza okuviirako Yakuwa okusiima obuweereza bwaffe oba obutabusiima. (Yak. 1:26) Abamu ku abo abataagala Katonda boogera mu ngeri ey’obukambwe, etali ya kisa, era eyoleka amalala. (2 Tim. 3:1-5) Awatali kubuusabuusa tetwagala kuba nga bo. Twagala okwogera mu ngeri esanyusa yakuwa. Naye ddala Yakuwa ayinza okutusiima bwe twogera mu ngeri ey’ekisa era ey’obukkakkamu nga tuli mu nkuŋŋaana ne mu buweereza, kyokka bwe tuddayo ewaka ne twogera n’ab’omu maka gaffe mu ngeri etali ya kisa era ey’obukambwe?—1 Peet. 3:7.
6. Birungi ki ebyavaamu Kimberly bwe yakozesa obulungi ekirabo eky’okwogera?
6 Bwe tukozesa obulungi ekirabo eky’okwogera, kitwawulawo ng’abaweereza ba Yakuwa ab’amazima. Tuyamba abalala okulaba “enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” (Mal. 3:18) Lowooza ku mwannyinaffe Kimberly.b Yaweebwa eky’okukolako n’omuyizi omulala ku ssomero. Oluvannyuma lw’okukola ekyali kibaweereddwa, muyizi munne yakiraba nti Kimberly yali wa njawulo nnyo ku bayizi abalala. Teyayogeranga bubi ku balala, wabula yayogeranga mu ngeri ey’ekisa era teyakozesanga bigambo bibi. Omuyizi oyo yakwatibwako nnyo era nnakiriza okuyiga Bayibuli. Nga kisanyusa nnyo Yakuwa bwe twogera mu ngeri esikiriza abalala okuyiga amazima!
7. Omaliridde kukozesa otya ekirabo Katonda kye yakuwa eky’okwogera?
7 Ffenna twagala okwogera mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa era etuyamba okunyweza enkolagana gye tulina ne baganda baffe. Kati ka tulabe ebiyinza okutuyamba okwongera okuba ‘ekyokulabirako mu kwogera.’
BEERA KYAKULABIRAKO MU BUWEEREZA
Okwogera n’abantu mu ngeri ey’ekisa nga tuli mu buweereza kisanyusa Yakuwa (Laba akatundu 8-9)
8. Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yatuteerawo ng’ayogera n’abantu abalala?
8 Yogera mu ngeri ey’ekisa era eraga nti ossaamu abalala ekitiibwa nga bakunyiizizza. Yesu bwe yali ku nsi, abantu baamuyita omusajja omutamiivu, ow’omululu, akolera Sitaani, amenya amateeka ga Ssabbiiti, era avvoola Katonda. (Mat. 11:19; 26:65; Luk. 11:15; Yok. 9:16) Wadde kyali kityo, Yesu teyabaddangamu bubi. Okufaananako Yesu, abantu bwe boogera naffe mu ngeri ey’obukambwe naffe tetusaanidde kwogera nabo mu ngeri y’emu. (1 Peet. 2:21-23) Ekituufu kiri nti ekyo si kyangu. (Yak. 3:2) Kiki ekiyinza okutuyamba?
9. Kiki ekinaatuyamba okwogera obulungi nga tuli mu mulimu gw’okubuulira?
9 Bw’oba ng’obuulira omuntu n’akukambuwalira, lowooza ku nsonga eyinza okuba nga y’emuviiriddeko okukukambuwalira. Ow’oluganda ayitibwa Sam agamba nti, “Ngezaako okussa ebirowoozo ku ky’okuba nti omuntu gwe njogera naye yeetaaga okumanya amazima era asobola okukola enkyukakyuka.” Ebiseera ebimu omuntu ayinza okutukambuwalira olw’okuba tuba tumukyalidde mu kiseera ekikyamu. Omuntu gwe twogera naye bw’atandika okutukambuwalira, tuyinza okukola ekyo mwannyinaffe Lucia ky’akola. Tuyinza okusaba essaala ennyimpimpi nga tusaba Yakuwa okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era n’obutoogera kintu kyonna ekitali kirungi.
10. Okusinziira ku 1 Timoseewo 4:13, kiruubirirwa ki kye tusaanidde okuba nakyo?
10 Longoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Wadde nga Timoseewo yalina obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira, naye yali yeetaaga okulongoosa mu ngeri gye yali ayigirizaamu. (Soma 1 Timoseewo 4:13.) Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu nga tuli mu buweereza? Tusaanidde okweteekateeka obulungi. Tulina bingi ebisobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu. Mu brocuwa Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza, ne mu kitundu “Buulira n’Obunyiikivu” ekiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe, mulimu amagezi agasobola okutuyamba. Ebintu ebyo obikozesa mu bujjuvu? Bwe tweteekateeka obulungi, kituyamba okwogera nga tetutya era nga tuli bakkakkamu.
11. Kiki ekiyambye Abakristaayo abamu okulongoosa mu ngeri gye bayigirizaamu?
11 Ate era tusobola okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu nga twetegereza abo abayigiriza obulungi mu kibiina. Sam, ayogeddwako waggulu, yeetegereza abo abayigiriza obulungi mu kibiina era n’afuba okubakoppa. Mwannyinaffe Talia assaayo omwoyo ku engeri aboogezi abalina obumanyirivu gye bakulaakulanyaamu emboozi ya bonna. Ekyo kimuyambye okuyiga engeri y’okukubaganyaamu ebirowoozo n’abantu ku nsonga ezitali zimu mu buweereza.
BEERA KYAKULABIRAKO MU NKUŊŊAANA
Bwe tuyimba ne ssanyu nga tulimu mu nkuŋŋaana tuba tutendereza Yakuwa (Laba akatundu 12-13)
12. Kiki ekizibuwalira abamu okukola?
12 Ffenna tusobola okwenyigira mu nkuŋŋaana zaffe nga tuyimbira wamu n’abalala era nga tubaako bye tuddamu ebitegekeddwa obulungi. (Zab. 22:22) Kyokka abamu batya okuyimba oba okubaako bye baddamu mu nkuŋŋaana. Naawe bw’otyo bw’oli? Bwe kiba bwe kityo, ojja kuganyulwa nnyo bw’onoomanya ekiyambye abalala okuggwaamu okutya.
13. Kiki ekisobola okukuyamba okuyimba okuviira ddala ku mutima ng’oli mu nkuŋŋaana?
13 Yimba okuviira ddala ku mutima. Ensonga enkulu lwaki tuyimba ennyimba zaffe ez’Obwakabaka, kwe kutendereza Yakuwa. Mwannyinaffe ayitibwa Sara agamba nti si muyimbi mulungi naye ayagala okutendereza Yakuwa okuyitira mu kuyimba. Ekimuyamba kwe kweteekerateekera okuyimba ng’ali waka, nga bw’ategeka ebitundu ebirala eby’enkuŋŋaana. Yeegezaamu mu nnyimba era ne yeetegereza engeri ebigambo ebiri mu nnyimba gye bikwataganamu n’ebyo ebigenda okwogerwako mu nkuŋŋaana. Agamba nti: “Ekyo kinnyamba okusa ebirowoozo ku bigambo ebiri mu luyimba mu kifo ky’okubissa ku ngeri gye nnyimbamu.”
14. Bw’oba ng’otya okuddamu mu nkuŋŋaana, kiki ekisobola okukuyamba?
14 Fubanga okubaako by’oddamu mu nkuŋŋaana. Ekyo abamu kibazibuwalira okukola. Talia eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ntya okwogerera mu bantu abangi, wadde nga ekyo abamu tebakiraba olw’okuba eddoboozi lyange liba teriraga nti mba ntidde. N’olwekyo, okuddamu mu nkuŋŋaana kinzibuwalira nnyo.” Kyokka, ekyo tekiremesa Talia kubaako by’addamu mu nkuŋŋaana. Bw’aba yeetegekera nkuŋŋaana, akijjukira nti eky’okuddamu ekisooka mu kibuuzo kirina okuba mu bufunze era nga kituukira ku nsonga. Agamba nti: “Ekyo kinnyamba okukimanya nti tekirina buzibu eky’okuddamu kyange bwe kiba ekimpi era nga kituukira ku nsonga, kubanga eky’okuddamu ng’ekyo n’oyo akubiriza ky’aba ayagala.”
15. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe kituuka ku kubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana?
15 N’Abakristaayo abatatya kuddamu mu nkuŋŋaana, oluusi kibazibuwalira okubaako bye baddamu. Lwaki? Mwannyinaffe ayitibwa Juliet agamba nti, “Oluusi siddamu mu nkuŋŋaana kubanga mba ndowooza nti eky’okuddamu kyange kyangu nnyo oba nti si kirungi nnyo.” Kyokka tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ayagala tumuwe ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwaffe.c Asiima nnyo bwe tufuba okumutendereza nga tuli mu nkuŋŋaana wadde ng’oluusi tuyinza okuwulira nga tutidde.
BEERA KYAKULABIRAKO NG’OYOGERA N’ABALALA
16. Njogera ya ngeri ki gye tusaanidde okwewala?
16 Weewale ebigambo ‘ebivuma.’ (Bef. 4:31) Nga bwe twalabye, Omukristaayo asaanidde okwewalira ddala okukozesa ebigambo ebibi. Naye waliwo ebigambo ebiyinza okulabika ng’ebitali bibi bye tusaanidde okwewala. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okwewala okugeraageranya abantu nga tusinziira ku buwangwa bwabwe, ku bika byabwe, ne ku nsi mwe bava. Ate era tusaanidde okwewala okwogera ebigambo ebirumya abalala. Ow’oluganda omu agamba nti: “Oluusi nkozesa ebigambo ebijerega oba ebikiina abalala nga ndowooza nsaaga kyokka nga bo bibalumya. Okumala emyaka, mukyala wange annyambye nnyo okumanya nti ebigambo ebimu bye mba nkozesezza bimulumya era birumya n’abalala. Ekyo akikola nga tuli ffekka.”
17. Okusinziira ku Abeefeso 4:29, tuyinza tutya okuzimba abalala?
17 Yogera mu ngeri ezimba abalala. Fuba okusiimanga abalala mu kifo ky’okubavumirira oba okwemulugunya buli kiseera. (Soma Abeefeso 4:29.) Abayisirayiri baalina ebintu ebirungi bingi Yakuwa bye yali abakoledde ebyandibaleetedde okusiima, kyokka beemulugunyanga nnyo. Bwe tuba n’omuze ogw’okwemulugunya, kiyinza okuviirako abalala nabo okutandika okwemulugunya. Kijjukire nti ebigambo ebimalamu amaanyi abakessi ekkumi bye baayogera, byaleetera ‘Abayisirayiri bonna okwemulugunya ku Musa.’ (Kubal. 13:31–14:4) Ku luuyi olulala, okusiima abalala kivaamu emiganyulo mingi. Emu ku nsonga lwaki muwala wa Yefusa yeeyongera okuweereza Yakuwa eri nti, mikwano gye abawala baamusiimanga. (Balam. 11:40) Sara, eyayogeddwako waggulu agamba nti, “Bwe tusiima abalala, kibaleetera okuwulira nti Yakuwa abaagala era nti ba mugaso mu kibiina kye.” N’olwekyo kozesa buli kakisa k’ofuna okusiima abalala mu bwesimbu.
18. Okusinziira ku Zabbuli 15:1, 2, lwaki tulina okwogera amazima, era ekyo kizingiramu ki?
18 Yogera amazima. Tetusobola kusanyusa Yakuwa bwe tuba nga tetwogera mazima. Yakuwa akyawa obulimba obw’engeri yonna. (Nge. 6:16, 17) Wadde ng’abantu abasinga obungi leero okulimba bakutwala ng’ekintu ekya bulijjo, ffe tunywerera ku ndowooza Katonda gy’alina ku nsonga eyo. (Soma Zabbuli 15:1, 2.) Kya lwatu nti tetukoma ku kwewala kulimba, naye era twewala okubuzaabuza abalala n’okubawa ekifaananyi ekitali kituufu.
Bwe tukyusa emboozi ne twogera ku bintu ebirungi tusanyusa Yakuwa (Laba akatundu 19)
19. Kiki ekirala kye tusaanidde okwegendereza?
19 Weewale okusaasaanya eŋŋambo. (Nge. 25:23; 2 Bas. 3:11) Juliet, eyayogeddwako waggulu alaga engeri olugambo gye lumuyisaamu. Agamba nti: “Okuwulira omuntu ayogera obubi ku balala kimmalamu nnyo amaanyi, era kindeetera okulekera awo okwesiga oyo ayogera obubi ku balala. Era nneebuuza nti mmanya ntya nti nange tanjogereko bubi ng’ali n’omuntu omulala?” Bw’oba onyumya n’omuntu n’olaba ng’atandise okwogera obubi ku balala, kyusa emboozi musobola okwogera ku bintu ebirungi.—Bak. 4:6.
20. Kiki ky’omaliridde okukola?
20 Olw’okuba abantu abasinga obungi mu nsi bakozesa bubi olulimi lwabwe, tusaanidde okufuba ennyo okwogera mu ngeri esanyusa Yakuwa. Kijjukire nti okwogera kirabo okuva eri Yakuwa, era afaayo nnyo ku ngeri gye tukozesaamu ekirabo ekyo. Bwe tunaakozesa obulungi ekirabo eky’okwogera mu buweereza, mu nkuŋŋaana, era nga tunyumya n’abalala, Yakuwa ajja kutuwa emikisa. Yakuwa bw’anaamala okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno, kijja kutubeerera kyangu okwogera mu ngeri emuweesa ekitiibwa. (Yud. 15) Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, ‘ebigambo by’akamwa ko ka bisanyusenga’ Yakuwa.—Zab. 19:14.
OLUYIMBA 121 Tulina Okwefuga
a Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo, nga kino kye kirabo eky’okwogera. Eky’ennaku, abantu abasinga obungi tebakozesa kirabo ekyo nga Yakuwa bw’ayagala bakikozese. Kiki ekinaatuyamba okwogera mu ngeri esaana era ezimba, ng’emitindo gy’empisa mu nsi gyeyongedde okusereba? Tuyinza tutya okwogera mu ngeri esanyusa Yakuwa nga tuli mu buweereza, nga tuli mu nkuŋŋaana, era nga tunyumya n’abalala? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
c Okumanya ebisingawo ebikwata ku kuddamu mu nkuŋŋaana, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Tendereza Yakuwa mu Kibiina” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2019.
d EBIFAANANYI: Ow’oluganda addamu bubi ng’omuntu gw’abuulidde amukambuwalidde; ow’oluganda tayimba ng’ali mu nkuŋŋaana; mwannyinaffe ayogera bubi ku muntu omulala.