LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w22 Ddesemba lup. 14
  • Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Similar Material
  • Yakuwa—‘Yawanga Obuddukiro’ mu Biseera bya Baibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • ‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Tutenderereze Wamu Erinnya lya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
w22 Ddesemba lup. 14

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Mu Zabbuli 61:8, Dawudi yawandiika nti yanditenderezza erinnya lya Yakuwa “emirembe n’emirembe.” Ekyo kitegeeza nti yali alowooza nti teyandifudde?

Kabaka Dawudi ayimba ng’eno bw’akuba entongooli.

Nedda. Ebyo Dawudi bye yawandiika byali bituufu.

Lowooza ku ebyo bye yawandiika mu lunyiriri olwo n’endala. Yagamba nti: “Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe nga bwe nsasula obweyamo bwange buli lunaku.” “Ai Yakuwa Katonda wange, nkutendereza n’omutima gwange gwonna. Nja kugulumizanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.” “Nja kutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe.”​—Zab. 61:8; 86:12; 145:1, 2.

Dawudi bwe yawandiika ebigambo ebyo yali tasavuwaza, era yali talowooza nti teyandifudde. Yali akimanyi nti Yakuwa yagamba nti ekibi kyandiviiriddeko abantu okufa, era Dawudi yali akkiriza nti yali mwonoonyi. (Lub. 3:3, 17-19; Zab. 51:4, 5) Ate era Dawudi yali akimanyi nti n’abantu Katonda be yali asiima, gamba Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nabo baafa. Era Dawudi yali akimanyi nti ekiseera kyandituuse naye n’afa. (Zab. 37:25; 39:4) Naye ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 61:8 biraga nti yali ayagala nnyo okutendereza Katonda emirembe gyonna, kwe kugamba, ekiseera kyonna Dawudi kye yandimaze nga mulamu.​—2 Sam. 7:12.

Ebimu ku ebyo Dawudi bye yawandiika bikwata ku ebyo bye yali ayiseemu mu kiseera ekyo, nga bwe kiragibwa mu bigambo ebiri waggulu wa Zabbuli 18, 51, ne 52. Mu Zabbuli 23, Dawudi yayogera ku Yakuwa ng’omusumba awa abantu be obulagirizi, abazzaamu amaanyi, era abakuuma. Dawudi naye yali musumba eyali alabirira obulungi endiga ze, era yali ayagala okuweereza Katonda ‘ennaku zonna ez’obulamu bwe.’​—Zab. 23:6.

Ate era kijjukire nti Yakuwa ye yaluŋŋamya Dawudi okuwandiika ebyo bye yawandiika. Ebimu ku ebyo bye yawandiika bwali bunnabbi obukwata ku ebyo ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, mu Zabbuli 110, Dawudi yayogera ku kiseera Mukama we lwe ‘yanditudde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo’ mu ggulu n’aweebwa obuyinza bungi. Lwaki yandibadde aweebwa obuyinza obwo? Okusobola okuwangula abalabe ba Katonda ‘n’okusalira amawanga omusango.’ Dawudi yali jjajja wa Masiya oyo eyasuubizibwa, eyandifugidde mu ggulu era eyandibadde “kabona emirembe gyonna.” (Zab. 110:1-6) Yesu yalaga nti obunnabbi obuli mu Zabbuli 110 bwali bukwata ku ye era nti bwali bwa kutuukirizibwa mu biseera eby’omu maaso.​—Mat. 22:41-45.

N’olwekyo, Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku bintu ebyaliwo mu kiseera kye, era ne ku ebyo ebyandituukiriziddwa mu biseera eby’omu maaso ng’amaze okuzuukizibwa n’aba ng’asobola okutendereza Yakuwa emirembe gyonna. Bwe kityo n’ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:10, 11, 29 bisobola okuba nga byogera ku mbeera eyaliwo mu Isirayiri ey’edda, era ne ku mbeera ejja okubaawo mu nsi yonna mu biseera eby’omu maaso nga Katonda atuukirizza ebisuubizo bye.​—Laba akatundu 8 mu kitundu, “Oliba Nange mu Lusuku lwa Katonda” ekiri mu magazini eno.

N’olwekyo ebigambo ebiri mu Zabbuli 61:8 ne mu nnyiriri endala, biraga nti Dawudi yali ayagala kutendereza Yakuwa ekiseera kyonna kye yandimaze nga mulamu. Ate era biraga ekyo Dawudi ky’anaakola mu biseera eby’omu maaso nga Yakuwa amuzuukizza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share