LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Maayi lup. 32
  • Okugumira Obutali Bwenkanya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okugumira Obutali Bwenkanya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Similar Material
  • Bulijjo “Omulamuzi w’Ensi Yonna” by’Akola Biba Bituufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Nyinza Ntya Okukola Ekibi Ekyenkanidde Awo?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Akuyamba Osobole Okutuuka ku Buwanguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Omuddu Eyagondera Katonda
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Maayi lup. 32

BY’OYINZA OKWESOMESA

Okugumira Obutali Bwenkanya

Soma Olubereberye 37:​23-28; 39:​17-23 okusobola okumanya engeri Yusufu gye yagumiramu obutali bwenkanya.

Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Kiki ekyaviirako Yusufu okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (Lub. 37:​3-11; 39:​1, 6-10) Yusufu yamala bbanga ki ng’agumira obutali bwenkanya? (Lub. 37:2; 41:46) Mu kiseera ekyo, kiki Yakuwa kye yakolera Yusufu era kiki ky’ataamukolera?—Lub. 39:​2, 21; w23.01 17 ¶13.

Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Bayibuli teraga nti Yusufu yeewozaako nga muka Potifaali amuwaayiriza. Ebyawandiikibwa bino biyinza bitya okutuyamba okumanya ensonga lwaki Yusufu ayinza okuba nga yasalawo okusirika obusirisi, oba lwaki tetwandisuubidde kutegeezebwa kalonda yenna akwata ku ebyo ebyaliwo? (Nge. 20:2; Yok. 21:25; Bik. 21:37) Ngeri ki eziyinza okuba nga ze zaayamba Yusufu okugumira obutali bwenkanya?—Mi. 7:7; Luk. 14:11; Yak. 1:​2, 3.

Lowooza ku ebyo by’oyigamu. Weebuuze:

  • ‘Butali bwenkanya bwa ngeri ki bwe nnyinza okwolekagana nabwo olw’okubeera omugoberezi wa Kristo?’ (Luk. 21:​12, 16, 17; Beb. 10:​33, 34)

  • ‘Nnyinza ntya okweteekerateekera obutali bwenkanya bwe nnyinza okwolekagana nabwo?’ (Zab. 62:​7, 8; 105:​17-19; w19.07 2-7)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share