EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Ddamu Ofumiitirize ku Nsonga Enkulu
Kyali kikuzibuwaliddeko okujjukira bye wali waakamala okusoma? Ekyo ffenna oluusi kitutuukako. Kiki ekisobola okutuyamba? Kwe kuddamu okufumiitiriza ku nsonga enkulu.
Bw’oba osoma, siriikiriramu buli luvannyuma lwa kiseera ofumiitirize ku nsonga ezisinga obukulu. Weetegereze engeri omutume Pawulo gye yayambamu abo be yawandiikira ebbaluwa okukola ekyo. Yagamba nti: “Eno ye nsonga enkulu.” (Beb. 8:1) Mu ngeri eyo, yabayamba okutegeera kye yali ategeeza n’engeri ebyo bye yayogera gye byali bikwataganamu n’ensonga enkulu gye yali ayogerako.
Oyinza okufissaawo eddakiika nga kkumi ng’omaze okwesomesa, n’ofumiitiriza ku nsonga enkulu ezibadde mu ebyo by’osomye. Bw’oba nga tokyazijjukira bulungi, ddamu osome emitwe emitono oba sentensi ezisooka ku buli katundu kikuyambe okujjukira ensonga enkulu. Bw’oba olina ekintu ekipya ky’oyize, gezaako okukinnyonnyola mu bigambo byo. Bw’oddamu n’ofumiitiriza ku ebyo by’ova okusoma, kijja kukwanguyira okubijjukira era ojja kumanya engeri gy’oyinza okubikozesaamu mu bulamu bwo.