EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27
OLUYIMBA 79 Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu
Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okusalawo Okuweereza Yakuwa
“Munywerere mu kukkiriza . . . Mubeere ba maanyi.”—1 KOL. 16:13.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba bye tusobola okukola okuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulanya okukkiriza n’obuvumu bye beetaaga okukola enkyukakyuka ezeetaagisa basobole okuweereza Yakuwa.
1-2. (a) Lwaki abamu ku bayizi ba Bayibuli balonzalonza okusalawo okuweereza Yakuwa? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
WALI olonzalonza kufuuka Omujulirwa wa Yakuwa? Oboolyawo wali otya nti bakozi banno, mikwano gyo, oba ab’eŋŋanda zo bandinyiize. Era oyinza okuba wali otya nti kyandikuzibuwalidde okukola ebyo byonna Yakuwa by’atwetaagisa. Bwe kiba kityo, otegeera ensonga lwaki abamu ku bayizi ba Bayibuli bazibuwalirwa okusalawo okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.
2 Yesu yali akimanyi nti ebintu ng’ebyo bisobola okulemesa omuntu okuweereza Yakuwa. (Mat. 13:20-22) Naye teyalekayo kuyamba abo abaali balonzalonza okufuuka abagoberezi be. Mu kifo ky’ekyo, yalaga abayigirizwa be engeri gye bayinza okuyamba abantu abalinga abo (1) okumanya ebyali bibalemesa okukulaakulana, (2) okweyongera okwagala Yakuwa, (3) okukyusa mu ebyo bye baali bakulembeza, ne (4) kye baali bayinza okukola okuvvuunuka ebyali bibalemesa okuweereza Yakuwa. Tuyinza tutya okukolera ku ebyo Yesu bye yagamba abayigirizwa be nga tukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! okuyamba abayizi ba Bayibuli okuweereza Yakuwa?
YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKUMANYA EBIBALEMESA OKUWEEREZA YAKUWA
3. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyali kiremesa Nikodemu okufuuka omugoberezi wa Yesu?
3 Nikodemu, omu ku bakulembeze b’Abayudaaya, yalina ekyali kimulemesa okufuuka omugoberezi wa Yesu. Nga waakayita emyezi mukaaga gyokka bukya Yesu atandika obuweereza bwe, Nikodemu yakitegeera nti Yesu ye yali Masiya. (Yok. 3:1, 2) Kyokka yasalawo okusisinkana Yesu mu kyama “olw’okutya Abayudaaya.” (Yok. 7:13; 12:42) Ayinza okuba yali atya okuggibwako ekitiibwa kye n’ebimu ku by’obugagga bye bwe yandifuuse omugoberezi wa Yesu.a
4. Yesu yayamba atya Nikodemu okumanya ekyo Katonda kye yali amwetaagisa?
4 Nikodemu yali amanyi bulungi Amateeka ga Musa, naye yali yeetaaga okuyambibwa okutegeera ekyo Katonda kye yali amwetaagisa. Yesu yamuyamba atya? Wadde nga Nikodemu yagenda kiro eri Yesu, Yesu yayogera naye. Ate era yamubuulira bye yalina okukola okufuuka omuyigirizwa we. Yamugamba nti yalina okwenenya ebibi bye, abatizibwe mu mazzi, era akkiririze mu Mwana wa Katonda.—Yok. 3:5, 14-21.
5. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okumanya ebimulemesa okuweereza Yakuwa?
5 Omuyizi wa Bayibuli ne bw’aba ng’amanyi bulungi Ebyawandiikibwa, ayinza okuba nga yeetaaga okuyambibwa okumanya ekimulemesa okuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, omulimu gwe guyinza okuba nga gumutwalira ebiseera bingi oba ab’eŋŋanda ze bayinza okuba nga tebaagala afuuke Omujulirwa wa Yakuwa. N’olwekyo okufaananako Yesu, waayo obudde okumuyamba. Oyinza okumuyita ne munywerako wamu caayi oba n’ogendako naye mu kifo ekiwummulirwamu. Ng’oli naye mu mbeera ng’ezo ayinza okukweyabiza ne kikuyamba okumanya ebimulemesa okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Kubiriza omuyizi wo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa ng’alina ekigendererwa eky’okusanyusa Yakuwa so si ggwe.
6. Oyinza otya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okuba omuvumu n’asobola okukolera ku ebyo by’ayiga? (1 Abakkolinso 16:13)
6 Omuyizi wo bw’aba omukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba okutambulira ku mitindo gye, kimuyamba okufuna obuvumu okukolera ku ebyo by’ayiga. (Soma 1 Abakkolinso 16:13.) Obuvunaanyizibwa bwo buyinza okugeraageranyizibwa ku bw’omusomesa. Lowooza ku kiseera bwe wali ng’okyasoma. Musomesa ki gwe wali osinga okwagala? Oboolyawo y’oyo eyali akugumiikiriza, era eyakuyamba okwekkiririzaamu. Mu ngeri y’emu, omusomesa wa Bayibuli omulungi takoma ku kubuulira muyize we ebyo Katonda by’ayagala tukole, naye era amuyamba okuba omukakafu nti asobola okubikola olw’okuba Yakuwa w’ali okumuyamba. Ekyo oyinza kukikola otya?
YAMBA OMUYIZI WO OWA BAYIBULI OKWEYONGERA OKWAGALA YAKUWA
7. Yesu yayamba atya abo abaali bamuwuliriza okweyongera okwagala Yakuwa?
7 Yesu yali akimanyi nti okwagala Yakuwa kwandiyambye abayigirizwa be okukolera ku bye baali bayiga. Emirundi mingi yabayigirizanga ebintu ebyandibayambye okweyongera okwagala Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, yageraageranya Yakuwa ku taata awa abaana be ebirungi. (Mat. 7:9-11) Abamu ku abo abaali bamuwuliriza bayinza okuba nga baali tebabeerangako na kitaabwe abaagala. Lowooza ku ngeri gye baawuliramu Yesu bwe yagera olugero olukwata ku taata eyayaniriza omwana we eyali yakola ebintu ebibi. Ekyo kyabayamba okukiraba nti Yakuwa ayagala nnyo abantu.—Luk. 15:20-24.
8. Oyinza otya okuyamba omuyizi wo owa Bayibuli okweyongera okwagala Yakuwa?
8 Naawe osobola okuyamba omuyizi wo okweyongera okwagala Yakuwa nga bw’oba omuyigiriza oyogera ku ngeri za Yakuwa. Buli lwe muba muyiga, muyambe okulaba engeri ebyo bye muba muyigako gye biraga nti Yakuwa atwagala nnyo. Bwe muba muyiga ku kinunulo, muyambe okukiraba nti kimukwatako ng’omuntu kinnoomu. (Bar. 5:8; 1 Yok. 4:10) Omuyizi bw’akiraba nti Yakuwa amwagala ng’omuntu kinnoomu, kijja kumuleetera okumwagala.—Bag. 2:20.
9. Kiki ekyayamba Michael okukyusa obulamu bwe?
9 Lowooza ku Michael, abeera mu Indonesia. Yakulira mu mazima naye teyabatizibwa. Bwe yaweza emyaka 18, yagenda mu nsi endala okukola omulimu gw’okuvuga loole. Oluvannyuma yawasa naye n’aleka ab’omu maka ge ne yeeyongera okukolera mu nsi endala. Oluvannyuma mukyala we ne muwala we baatandika okuyiga Bayibuli era ne bakulaakulana. Oluvannyuma lwa maama we okufa, Michael yasalawo okukomawo mu Indonesia okulabirira kitaawe era yakkiriza okuyiga Bayibuli. Bwe yali ayiga ku ebyo ebiri mu kitundu “Yiga Ebisingawo” mu essomo 27 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, yakwatibwako nnyo. Bwe yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawuliramu ng’alaba omwana we abonaabona yatulika n’akaaba. Yasiima nnyo ekinunulo era ekyo kyamuleetera okukyusa obulamu bwe n’abatizibwa.
YAMBA OMUYIZI WO OKUKYUSA MU EBYO BY’AKULEMBEZA
10. Yesu yayamba atya abayigirizwa be okukyusa mu ebyo bye baali bakulembeza? (Lukka 5:5-11) (Laba n’ekifaananyi.)
10 Abayigirizwa ba Yesu abaasooka baakitegeera mangu nti Yesu ye Masiya, naye baali beetaaga okuyambibwa okukulembeza omulimu gw’okubuulira. Yesu we yayitira Peetero ne Andereya okumugoberera ekiseera kyonna, ababiri abo baali bamaze ekiseera nga bayigirizwa be. (Mat. 4:18, 19) Baali bakolera wamu ne Yakobo ne Yokaana omulimu gw’okuvuba n’okutunda eby’ennyanja, era kirabika bizineesi yaabwe yali ekola bulungi. (Mak. 1:16-20) Peetero ne Andereya bwe baalekayo bizineesi yaabwe okugoberera Yesu, kirabika baakola enteekateeka ezandibasobozesezza okweyongera okulabirira ab’omu maka gaabwe. Kiki ekyabaleetera okukyusa mu ebyo bye baali bakulembeza? Ebyo bye tusoma mu Bayibuli biraga nti Yesu yakola ekyamagero ekyabayamba okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa yali asobola okubalabirira.—Soma Lukka 5:5-11.
Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayambamu abayigirizwa be okukyusa mu ebyo bye baali bakulembeza? (Laba akatundu 10)b
11. Oyinza otya okukozesa ebyo bye wayitamu okuyamba omuyizi wo okunyweza okukkiriza kwe?
11 Kyo kituufu nti tetusobola kukola byamagero nga Yesu, naye tusobola okubuulira abayizi ba Bayibuli ebyo bye tuyiseemu ebiraga nti Yakuwa ayamba abo abamukulembeza mu bulamu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, ojjukira engeri Yakuwa gye yakuyambamu bwe watandika okubangawo mu nkuŋŋaana? Oboolyawo walina okunnyonnyola mukama wo nti wali tokyasobola kukola ssaawa nnyingi ku lunaku lw’enkuŋŋaana. Bw’oba obuulira omuyizi bye wayitamu, mulage engeri okukkiriza kwo gye kweyongera okunywera bwe walaba engeri Yakuwa gye yakuyambamu ng’osalawo okumukulembeza mu bulamu bwo.
12. (a) Lwaki tusaanidde okugenda ne bakkiriza bannaffe ab’enjawulo nga tugenda okuyigiriza omuyizi waffe? (b) Oyinza otya okukozesa vidiyo okuyamba omuyizi wo okukulembeza Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.
12 Omuyizi wo era ajja kuganyulwa nnyo bw’anaawulira ebyo bakkiriza banno bye baakola okusobola okukulembeza Yakuwa. N’olwekyo, fuba okugendanga n’ab’oluganda ab’enjawulo okumuyigiriza. Basabe bamubuulire engeri gye baayigamu amazima n’ebyo bye baakola okusobola okuweereza Yakuwa. Ate era, ggwe n’omuyizi wo mulabe vidiyo eziri mu kitundu “Yiga Ebisingawo” oba “Laba Ebisingawo” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Ng’ekyokulabirako, bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku ssomo 37, oyinza okwogera ku misingi egiri mu vidiyo Yakuwa Ajja Kukola ku Byetaago Byaffe.
YAMBA OMUYIZI WO OKUVVUUNUKA EBYO EBIMULEMESA OKUWEEREZA YAKUWA
13. Yesu yayamba atya abayigirizwa be okweteekerateekera okuyigganyizibwa?
13 Enfunda n’enfunda Yesu yagamba abagoberezi be nti abantu bandibadde babayigganya, nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zaabwe. (Mat. 5:11; 10:22, 36) Bwe yali anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi, yagamba abayigirizwa be nti baali basobola okuttibwa olw’okusinza Yakuwa. (Mat. 24:9; Yok. 15:20; 16:2) Yabakubiriza okuba abeegendereza nga babuulira. Ng’ekyokulabirako, yabagaana okuwakana n’abo abawakanya ebyo bye bakkiririzaamu era n’okuba abeegendereza mu ebyo bye bakola ne bye boogera basobole okweyongera okubuulira.
14. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi waffe okweteekerateekera okuyigganyizibwa? (2 Timoseewo 3:12)
14 Naffe tusobola okuyamba omuyizi waffe okweteekerateekera okuyigganyizibwa nga tumunnyonnyola ebyo bakozi banne, mikwano gye, oba ab’eŋŋanda ze bye bayinza okumugamba. (Soma 2 Timoseewo 3:12.) Abamu ku bakozi banne bayinza okumusekerera olw’okuba atandise okukolera ku ebyo by’ayiga. Abalala bayinza okuwakanya ebyo by’ayiga. Abayizi baffe bwe tubabuulira amangu nti bajja kuyigganyizibwa, bajja kuba bamanyi eky’okukola singa bayigganyizibwa.
15. Kiki ekiyinza okuyamba omuyizi wo bw’aba ng’ayigganyizibwa ab’eŋŋanda ze?
15 Omuyizi wo bw’aba ng’aziyizibwa ab’eŋŋanda ze, muyambe okumanya ensonga lwaki si basanyufu olw’okuba ayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bayinza okuba nga balowooza nti abuzaabuziddwa, oba nti Abajulirwa ba Yakuwa bantu babi. N’abamu ku b’eŋŋanda za Yesu tebaali basanyufu olw’ebyo bye yali akola. (Mak. 3:21; Yok. 7:5) N’olwekyo, yamba omuyizi wo okuba omugumiikiriza era n’okukozesa amagezi ng’abuulira abalala omuli n’ab’eŋŋanda ze.
16. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okubuulirako abalala ebyo by’ayiga mu ngeri ey’amagezi?
16 Ne bwe kiba nti ab’eŋŋanda z’omuyizi baagala okuyiga ebiri mu Bayibuli, kirungi obutababuulira byonna by’ayize omulundi gumu. Singa akola bw’atyo, bayinza okulekera awo okukubaganya naye birowoozo. N’olwekyo kubiriza omuyizi wo okukubaganya ebirowoozo n’ab’eŋŋanda ze mu ngeri enaamusobozesa okweyongera okunyumya nabo ku Bayibuli. (Bak. 4:6) Ng’ekyokulabirako, ayinza okubagamba okugenda ku mukutu gwaffe jw.org, bamanye ebisingawo wonna we baba baagalidde.
17. Oyinza otya okuyamba omuyizi wo okuddamu ebibuuzo abantu bye beebuuza ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Oyinza okukozesa ekitundu “Ebibuuzo Abantu Bye Batera Okwebuuza ku Bajulirwa ba Yakuwa” ekiri ku jw.org, okuyamba omuyizi wo okumanya engeri gy’ayinza okuddamu ebibuuzo ab’eŋŋanda ze oba bakozi banne bye bayinza okumubuuza. (2 Tim. 2:24, 25) Ku buli nkomerero y’essomo mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kitundu “Abamu Bagamba Nti” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Kubiriza omuyizi wo okwegezaamu engeri gy’ayinza okunnyonnyolamu abalala ebyo by’akkiriza. Bwe kiba kyetaagisa muyambe okulongoosaamu. Bwe yeegezaamu mu ngeri eyo, kijja kumuyamba okunnyonnyola by’akkiririzaamu nga talina kutya kwonna.
Kubiriza omuyizi wo okubuulirako abalala ebyo by’ayiga nga weegezaamu naye (Laba akatundu 17)c
18. Oyinza otya okuyamba omuyizi wo okutandika okubuulira n’ekibiina? (Matayo 10:27)
18 Yesu yalagira abayigirizwa be okubuulira abantu amawulire amalungi. (Soma Matayo 10:27.) Omuyizi bw’atandika okubuulira n’ekibiina, ajja kulaba engeri Yakuwa gy’amuyambamu era ajja kweyongera okumwesiga. Oyinza otya okuyamba omuyizi wo okweteerawo ekiruubirirwa ekyo? Bwe balanga mu kibiina nti wagenda kubaawo kaweefube ow’okubuulira okw’enjawulo, yamba omuyizi wo okumanya bye yeetaaga okukola okusobola okufuuka omubuulizi atali mubatize. Munnyonnyole nti bangi bakisanga nga kyangu okutandika okubuulira mu kiseera kya kaweefube. Ate era mugambe nti asobola okussaawo ekiruubirirwa eky’okutandika okuwa ebyokulabirako mu lukuŋŋaana lwa wakati mu wiiki. Bw’anaatuuka ku kiruubirirwa ekyo, ajja kuyiga engeri y’okunnyonnyolamu abalala ebyo by’akkiririzaamu nga yeekakasa.
KIRAGE NTI OMUYIZI WO OMWESIGA NTI AYAGALA OKUSANYUSA YAKUWA
19. Yesu yakiraga atya nti yali yeesiga abayigirizwa be, era tuyinza tutya okumukoppa?
19 Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu, yagamba abayigirizwa be nti yandizzeemu okubeera awamu nabo. Mu kiseera ekyo tebaakitegeera nti yali ategeeza nti bandigenze mu ggulu. Wadde nga baali tebategeera bintu ebimu, Yesu yali mukakafu nti baali baagala okuba abagoberezi be. (Yok. 14:1-5, 8) Yali akimanyi nti baali beetaaga ekiseera okutegeera ebintu ebimu, gamba ng’essuubi ery’okugenda mu ggulu. (Yok. 16:12) Okufaananako Yesu, naffe tusaanidde okulaga abayizi baffe nti tukimanyi nti baagala okukola ebyo Yakuwa by’ayagala.
Omuyizi bw’atandika okubuulira n’ekibiina, ajja kulaba engeri Yakuwa gy’amuyambamu era ajja kweyongera okumwesiga
20. Mwannyinaffe omu mu Malawi yakiraga atya nti yali mukakafu nti omuyizi we yali ayagala okukola ekituufu?
20 Tusaanidde okusigala nga tulina essuubi nti omuyizi waffe ayagala okukola ekituufu. Ng’ekyokulabirako mwannyinaffe Chifundo, abeera mu Malawi, yatandika okuyiga Bayibuli n’omukyala eyali Omukatuliki eyali ayitibwa Alinafe mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Bwe baamalako essomo 14, Chifundo yamubuuza kye yali alowooza ku kukozesa ebifaananyi mu kusinza. Ekyo kyayisa bubi Alinafe era n’amuddamu nti, “Ekyo nze nkyesalirawo!” Chifundo yalowooza nti Alinafe yali agenda kulekera awo okuyiga. Naye yeeyongera okumuyigiriza nga mukakafu nti oluvannyuma lw’ekiseera yandibadde akitegeera nti okukozesa ebifaananyi kibi. Nga wayiseewo emyezi, Chifundo yamubuuza ekibuuzo ekiri mu ssomo 34, ekigamba nti: “Okusoma Bayibuli n’okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda ow’amazima, kikuganyudde kitya?” Chifundo agamba nti: “[Alinafe] yayogera ebintu bingi bye yali ayize ng’ekimu ku byo kwe kuba nti Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bintu ebivumirirwa mu Bayibuli.” Waayita ekiseera kitono, Alinafe n’alekera awo okukozesa ebifaananyi era oluvannyuma yabatizibwa.
21. Tuyinza tutya okuyamba omuyizi waffe okusalawo okuweereza Yakuwa?
21 Wadde nga Yakuwa ‘y’akuza,’ naffe waliwo kye tulina okukolawo okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana. (1 Kol. 3:7) Tetusaanidde kukoma ku kumuyigiriza Katonda ky’ayagala akole, naye tusaanidde okumuyamba okweyongera okwagala Yakuwa. Ate era tusaanidde okumuyamba okwoleka okwagala okwo ng’akyusa mu ebyo by’akulembeza. Era tusaanidde okumuyamba okuyiga okwesiga Yakuwa nga waliwo abamuyigganya. Bwe tukiraga nti tumwesiga, kimuyamba okuba omuvumu n’asalawo okuweereza Yakuwa.
OLUYIMBA 55 Temubatyanga!
a Wadde nga waali wayise emyaka ebiri n’ekitundu nga Nikodemu amaze okusisinkana Yesu ekiro, Bayibuli eraga nti yali akyali omu ku b’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. (Yok. 7:45-52) Bannabyafaayo abamu bagamba nti Nikodemu yafuuka omuyigirizwa wa Yesu oluvannyuma lwa Yesu okufa.—Yok. 19:38-40.
b EBIFAANANYI: Peetero n’abavubi abalala baaleka bizineesi yaabwe ey’okuvuba n’okutunda eby’ennyanja ne bagoberera Yesu.
c EKIFAANANYI: Mwannyinaffe atendeka omuyizi we owa Bayibuli engeri gy’ayinza okubuuliramu abalala ebyo by’ayize.