LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Jjulaayi lup. 26-30
  • “Olutalo lwa Yakuwa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Olutalo lwa Yakuwa”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • NNAKUZIBWA ABAZADDE ABAALI ABABUULIZI ABANYIIKIVU
  • NTANDIKA OKUWEEREREZA KU KITEBE EKIKULU
  • NTANDIKA OKUWEEREZA MU KITONGOLE KY’AMATEEKA
  • OKULWANIRIRA AMAWULIRE AMALUNGI N’OKUGANYWEZA OKUYITIRA MU MATEEKA
  • WEEBALE NNYO YAKUWA!
  • Kye Nkoze Kye Mbadde Nteekeddwa Okukola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Jjulaayi lup. 26-30
Philip Brumley.

EBYAFAAYO

“Olutalo lwa Yakuwa”

BYAYOGERWA PHILIP BRUMLEY

JJANWALI 28, 2010, lwali lunaku lwa butiti, era lwansanga mu kibuga ekirabika obulungi ekiyitibwa Strasbourg, eky’omu Bufalansa. Naye nnali sigenzeeyo kulambula. Nze ne be nnali nabo, twali tusindikiddwa okulwanirira eddembe ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Kkooti ya Bulaaya ey’Eddembe ly’Obuntu. Gavumenti ya Bufalansa yali egamba nti Abajulirwa ba Yakuwa balina okugisasula omusolo gwa bukadde kumpi 64 mu ssente za Bulaaya ($89,000,000 mu z’Amerika), era twali tugenzeeyo okubalaga nti ekyo kyali kimenya mateeka. Bwe twandiwangudde omusango ogwo, erinnya lya Yakuwa lwandiweereddwa ekitiibwa, abantu be bandyeyongedde okuba n’erinnya eddungi, era bandyeyongedde okusinza Yakuwa awatali kutaataaganyizibwa mu Bufalansa. Ebyo ebyaliwo nga tukola ku musango ogwo byatukakasa nti “olutalo lwa Yakuwa.” (1 Sam. 17:47) Ka mbannyonnyole.

Mu 1999, gavumenti ya Bufalansa yagamba nti ofiisi yaffe ey’ettabi ey’omu Bufalansa yalina okusasula omusolo ku ssente ezaaweebwangayo kyeyagalire okuwagira omulimu gwaffe wakati w’omwaka gwa 1993 ne 1996. Bwe twatwala ensonga eyo mu kkooti za Bufalansa, zaasalawo tukole ekyo gavumenti ky’eyagala. Twajulira mu kkooti ejulirwamu, naye kkooti eyo nayo yasalawo nti tulina okukola ekyo gavumenti ky’eyagala. Era by’ekityo, gavumenti yawamba ssente ezisukka obukadde buna n’ekitundu mu ssente za Bulaaya ($6,300,000 mu z’Amerika) okuva ku akawunti ya ofiisi yaffe ey’ettabi. Gavumenti okusobola okutuddiza ssente ezo, twatwala omusango ogwo mu Kkooti ya Bulaaya ey’Eddembe ly’Obuntu. Naye ng’omusango ogwo tegunnawulirwa, kkooti ya Bulaaya yasaba nti balooya baffe basisinkane ne balooya ba gavumenti ya Bufalansa nga waliwo n’omukungu wa kkooti ya Bulaaya, ensonga eyo tugigonjoolere ebweru wa kkooti.

Twali tusuubira nti omukungu wa kkooti ya Bulaaya agenda kutupikiriza ng’atugamba nti okusobola okugonjoola ensonga eno, gavumenti ya Bufalansa mubeeko akasente ke mugiwa. Kyokka twali tukimanyi nti ne bwe twandibawaddeko ddoola emu bw’eti, kyandibadde kikontana n’emisingi gya Bayibuli. Ab’oluganda ne bannyinaffe baali bawaddeyo ssente ezo okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. N’olwekyo ssente ezo tezaali za gavumenti ya Bufalansa. (Mat. 22:21) Wadde kyali kityo, twagenda mu lukuŋŋaana olwo kubanga twali twagala okugondera amateeka ga kkooti ya Bulaaya.

Nze n’ab’oluganda abalala abakola ku by’amateeka nga tuli mu maaso g’ekizimbe kya Kkooti ya Bulaaya ey’Eddembe ly’Obuntu, mu 2010

Olukuŋŋaana olwo nga lwakatandika, omukungu wa kkooti ya Bulaaya yatugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa balina okusasula ezimu ku ssente gavumenti ya Bufalansa z’ebasaba. Nga tetusoose na kukirowoozaako twamubuuza nti: “Obadde okimanyi nti gavumenti ya Bufalansa yamala dda okuwamba ssente ezisukka obukadde buna n’ekitundu mu ssente za Bulaaya okuva ku akawunti ya ofiisi yaffe ey’ettabi?”

Omukyala oyo yeewuunya nnyo nti gavumenti yali ekoze ekintu bwe kityo. Balooya ba gavumenti ya Bufalansa bwe bakkiriza nti ekyo kituufu, endowooza omukyala oyo gye yalina ku musango ogwo yakyukira ddala. Yabayombesa era olukuŋŋaana olwo n’aluggalawo amangu ago. Nnakiraba nti mu ngeri gye twali tutasuubira, Yakuwa yali akyusizza buli kimu tusobole okuwangula omusango ogwo. Twava mu lukuŋŋaana olwo nga tuli basanyufu nnyo era nga twewuunya ekyo ekyali kibaddewo.

Nga Jjuuni 30, 2011, Kkooti ya Bulaaya ey’Eddembe ly’Obuntu yawa ensala yaayo ku musango ogwo. Yalaga nti twali tuwangudde omusango ogwo, era nti omusolo gavumenti gwe yali esaba twali tetulina kuguwa. Bwe kityo kkooti eyo yalagira gavumenti ya Bufalansa etuddize ssente zonna ze yali ewambye nga kuliko n’amagoba! Ekyo kkooti kye yasalawo kyali kya byafaayo, era kisobozesezza Abajulirwa ba Yakuwa mu Bufalansa okusinza Yakuwa n’okutuusa leero. Ekibuuzo kye twabuuza omukungu oyo kyalinga ejjinja Dawudi lye yakuba Goliyaasi mu kyenyi, era kyakyusa ensala y’omusango ogwo. Lwaki twasobola okuwangula omusango ogwo? Nga Dawudi bwe yagamba Goliyaasi, “olutalo lwa Yakuwa.”—1 Sam. 17:​45-47.

Ogwo si gwe musango gwokka Abajulirwa ba Yakuwa gwe baali bawangudde. Wadde nga tuziyizibwa gavumenti ez’amaanyi n’amadiini, tuwangudde emisango 1,225, mu kkooti enkulu ez’ensi 70, ne mu kkooti z’ensi yonna. Emisango egyo gye tuwangudde gitusobozesa okuba n’eddembe okukola ebintu ebitali bimu gamba ng’okwewandiisa ne tumanyibwa ng’eddiini ekkirizibwa mu mateeka, okubuulira amawulire amalungi, okugaana okwenyigira mu mikolo egitumbula mwoyo gwa ggwanga, n’okugaana obujjanjabi obuzingiramu okuteekebwako omusaayi.

Nnatuuka ntya okwenyigira mu musango ogwali mu Bulaaya ng’ate mpeerereza ku Kitebe Ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu New York, Amerika?

NNAKUZIBWA ABAZADDE ABAALI ABABUULIZI ABANYIIKIVU

Bazadde bange, George ne Lucille, baali mu ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi 12. Bwe baamaliriza emisomo gyabwe, baasindikibwa kuweereza mu Ethiopia, era eyo gye nnazaalibwa mu 1956. Bantuuma Philip, erinnya ly’omubuulizi w’enjiri eyaliwo mu kyasa ekyasooka. (Bik. 21:8) Omwaka ogwaddako, gavumenti yawera eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga nnali nkyali muto, nzijukira nti twasinzanga twekwekerera. Kyokka olw’okuba nnali muto, nze nnanyumirwanga! Eky’ennaku mu 1960, ab’obuyinza baatugamba okuva mu nsi eyo.

Ow’oluganda Nathan H. Knorr (ku kkono) ng’atukyalidde awaka mu kibuga Addis Ababa, Ethiopia, mu 1959

Twasengukira mu kibuga Wichita, ekisangibwa mu ssaza eriyitibwa Kansas, mu Amerika, era bazadde bange baasigala banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira nga bwe baali nga bakyaweereza ng’abaminsani. Nze, mwannyinaze omukulu ayitibwa Judy, ne muganda wange omuto ayitibwa Leslie, ffenna twazaalibwa mu Ethiopia, era bazadde baffe baatuyigiriza okwagala Yakuwa n’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. Nnabatizibwa nga nnina emyaka 13. Oluvannyuma lw’emyaka esatu, twagenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako mu kibuga ekiyitibwa, Arequipa, ekisangibwa mu Peru.

Mu 1974 bwe nnali wa myaka 18 gyokka, ofiisi y’ettabi mu Peru yatulonda nze n’ab’oluganda abalala bana okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Twasindikibwa kubuulira mu bitundu ebitabuulirwangamu ebiri mu nsozi Andes. Twali tugenda kubuulira abantu aboogera olulimi Olukecwa n’olulimi oluyitibwa Aymara. Twatambuliranga mu mmotoka eyalimu buli kimu ng’eringa ennyumba era twali tujaagala nnyo. Kinsanyusa nnyo bwe ndowooza ku biseera lwe twakozesanga Bayibuli okulaga abantu abo nti Yakuwa ajja kuggyawo obwavu, obulwadde, n’okufa. (Kub. 21:​3, 4) Bangi ku bantu abo baafuuka abaweereza ba Yakuwa.

Emmotoka ng’eyita mu mazzi.

Emmotoka gye twakozesanga mu 1974

NTANDIKA OKUWEEREREZA KU KITEBE EKIKULU

Mu 1977, ow’oluganda Albert Schroeder, eyali aweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yakyala mu Peru era yankubiriza okujjuzaamu foomu okuweereza ku Beseri ku kitebe kyaffe ekikulu. Nnajjuzaamu foomu eyo, era oluvannyuma nga Jjuuni 17, 1977, nnatandika okuweereza ku Beseri y’omu Brooklyn. Mu myaka ena egyaddirira, nnaweereza mu kitongole Ekikola ogw’Okuyonja ne mu kitongole Ekikola ogw’Okuddaabiriza Ebintu ku Beseri.

Ku lunaku lw’embaga yaffe mu 1979

Mu Jjuuni 1978, nnasisinkana mwannyinaffe Elizabeth Avallone ku lukuŋŋaana olunene olubeerako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwali mu kibuga New Orleans, mu ssaza Louisiana. Okufaananako bazadde bange, naye bazadde be baali baagala nnyo Yakuwa era nga bamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Elizabeth yali amaze emyaka ena ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo, era yali ayagala okukozesa obulamu bwe bwonna okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Bwe twayawukana twasigala tuwuliziganya, era omukwano gwaffe gweyongera okukula. Twafumbiriganwa nga Okitobba 20, 1979, era Elizabeth yanneegattako okuweereza ku Beseri.

Baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina ekiyitibwa Brooklyn Spanish, kye twasooka okukuŋŋaaniramu, baali batwagala nnyo. Ate era ab’oluganda mu bibiina ebirala bisatu gye tuweererezza, nabo batulaze okwagala era batuzzizzaamu amaanyi nga tuweereza ku Beseri. Tusiima nnyo obuyambi ab’oluganda abo bwe batuwadde, era tusiima nnyo mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe abaatuyamba okulabirira bazadde baffe nga bakaddiye.

Philip ng’ali n’Ababeseri abalala mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

Ababeseri abaali mu kibiina ekiyitibwa Brooklyn Spanish mu 1986

NTANDIKA OKUWEEREZA MU KITONGOLE KY’AMATEEKA

Mu Jjanwali 1982, kyanneewuunyisa bwe nnagambibwa okutandika okuweereza mu Kitongole ky’Amateeka ku Beseri. Nga wayiseewo emyaka esatu, nnasabibwa okugenda ku yunivasite okusoma eby’amateeka nfuuke looya. Nga ndi eyo kyansanyusa okukitegeera nti abantu mu Amerika ne mu nsi endala, balina eddembe okukola ebintu ebitali bimu olw’emisango Abajulirwa ba Yakuwa gye bawangudde. Emisango egyo egy’enjawulo, twagikubaganyangako nnyo ebirowoozo nga tuli mu kusoma.

Mu 1986 bwe nnali wa myaka 30, nnalondebwa okukola ng’omulabirizi w’Ekitongole ky’Amateeka. Wadde nga nnasanyuka nnyo okufuna enkizo eyo nga ndi muto, nneeraliikirira olw’okuba nnali simanyi bingi bizingirwa mu buweereza obwo.

Nnafuuka looya mu 1988, naye mu kiseera ekyo nnali simanyi ngeri okubeera ku yunivasite, gye kyakwata ku nneeyisa yange n’enkolagana yange ne Yakuwa. Obuyigirize obwa waggulu buyinza okuleetera omuntu okulowooza nti wa kitalo, era n’okukitwala nti asinga abalala olw’ebintu ebingi by’aba amanyi. Elizabeth yannyamba nnyo. Yannyamba okuddamu okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo gye nnalina nga sinnagenda ku yunivasite. Kyantwalira ekiseera, naye oluvannyuma nnaddamu okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Okusinziira ku ebyo bye mpiseemu, nkimanyi bulungi nti okumanya ebintu ebingi si kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu. Okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, okumwagala, n’okwagala abantu abalala, bye bifuula obulamu okuba obw’amakulu.

OKULWANIRIRA AMAWULIRE AMALUNGI N’OKUGANYWEZA OKUYITIRA MU MATEEKA

Bwe nnamala okusoma eby’amateeka, nneemalira ku kuyamba ekitongole kyaffe okukola ku nsonga z’eby’amateeka ezaabanga zeetaagisa ku Beseri, okukuuma ekibiina kya Yakuwa, n’okulwanirira eddembe lyaffe ery’okubuulira amawulire amalungi. Omulimu gwange gwali gunnyumira nnyo, naye era waaliwo ebisoomooza bingi kubanga ekibiina kyali kikula ku sipiidi era waaliwo enkyukakyuka nnyingi. Ng’ekyokulabirako, twateranga okusaba abantu okubaako ssente ze bawaayo nga tubawa ebitabo byaffe. Naye okuva mu 1991, Ekitongole ky’eby’Amateeka kyasabibwa okuwa obulagirizi ku ngeri y’okukomyamu enkola eyo. Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okugabira abantu ebitabo ku bwereere. Ekyo kyayanguya ku mirimu egikolebwa ku Beseri ne mu mulimu gw’okubuulira, era n’okutuusa leero kiyambye ekibiina kya Yakuwa obutasasula misolo egiteetaagisa. Abamu baalowooza nti tetwandibadde na ssente zimala kukuba bitabo, bwe kityo tetwandibadde na bitabo bimala okuyamba abantu okuyiga amazima. Naye ekyo si bwe kyali. Omuwendo gw’abo abaweereza Yakuwa okuva mu 1990 gukubisizzaamu emirundi egisukka mu ebiri, era leero abantu basobola okufuna emmere ey’eby’omwoyo ku bwereere. Nkyerabiddeko n’agange nti enkyukakyuka ezikolebwa mu kibiina kya Yakuwa zivuddemu ebirungi olw’obuyambi Yakuwa bw’atuwa, n’obulagirizi bwe tufuna okuva eri omuddu omwesigwa.—Kuv. 15:2; Mat. 24:45.

Okuba nti tulina balooya abalungi si kye kyokka ekituleetera okuwangula emisango mu makooti. Emirundi egisinga, ekisinga okukwata ku balamuzi n’abakungu ba gavumenti, ze mpisa ennungi abantu ba Yakuwa ze booleka. Ekyo nnakiraba mu 1998, ab’oluganda basatu abaali ku Kakiiko Akafuzi wamu ne bakyala baabwe, bwe baakyala mu Cuba ku nkuŋŋaana ennene ez’enjawulo ezaali mu nsi eyo. Olw’okuba ab’oluganda abo baali ba kisa, nga bassaamu abalala ekitiibwa, ekyo kyakakasa ab’obuyinza nti tetwenyigira mu bya bufuzi okusinga ebyo bye twabannyonnyolanga nga tusisinkanye mu nkuŋŋaana ze twabanga nabo.

Kyokka emirundi egimu okusobola okufuna obwenkanya tuba tulina okugenda mu kkooti ‘okulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.’ (Baf. 1:7) Ng’ekyokulabirako, okumala emyaka mingi ab’obuyinza mu Bulaaya ne South Korea, baali tebassa kitiibwa mu ddembe lyaffe ery’okugaana okuyingira a magye. N’ekyavaamu, ab’oluganda nga 18,000 mu Bulaaya n’abalala abasukka mu 19,000 mu South Korea baasibibwa mu makomera kubanga omuntu waabwe ow’omunda yali tabakkiriza kuyingira magye.

Kyaddaaki nga Jjulaayi 7, 2011, Kkooti ya Bulaaya ey’Eddembe ly’Obuntu yawa ensala yaayo mu musango ogwalimu Bayatyan ne gavumenti ya Armenia, era ensala eyo yali ewaliriza ensi zonna eziri mu Bulaaya okukkiriza abantu abatayagala kuweereza mu magye olw’enzikiriza zaabwe, okukola emirimu emirala egitalina kakwate na magye. Ate era nga Jjuuni 28, 2018, Kkooti ya Ssemateeka mu South Korea nayo yasalawo nti ab’oluganda basobola okukola emirimu emirala mu kifo ky’okuyingira amagye. Kkooti ezo tezandisobodde kusalawo bwe zityo, singa abamu ku b’oluganda abo abavubuka bekkiriranya.

Ekitongole ky’Amateeka ekiri ku kitebe kyaffe ekikulu n’abo abakolera wansi waakyo ku matabi amalala mu nsi yonna, bakola nnyo okulwanirira eddembe lyaffe ery’okusinza Yakuwa, n’okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwabakaba bwa Katonda. Tugitwala nga nkizo okukiikirira baganda baffe ne bannyinaffe abaziyizibwa gavumenti ezitali zimu. Ka kibe nti tuwangudde omusango oba nedda, tuwa obujulirwa bagavana ne bakabaka, n’abantu bonna. (Mat. 10:18) Abalamuzi, abakungu ba gavumenti, bannamawulire, n’abantu okutwalira awamu, basoma ebyawandiikibwa bye tuteeka mu biwandiiko bye tukozesa mu misango egyo, n’ebyo bye tujuliza nga tuwoza. Abantu ab’emitima emirungi bategedde ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, era nti ebyo bye bakkiririzaamu babyesigamya ku Bayibuli. Abamu ku bantu abo bafuuse Bajulirwa ba Yakuwa.

WEEBALE NNYO YAKUWA!

Mu myaka 40 egiyise, mbadde n’enkizo okukola ku nsonga z’eby’amateeka n’ab’oluganda bangi okuva mu matabi ag’enjawulo okwetoolola ensi yonna, era n’okusisinkana abakungu ba gavumenti bangi. Njagala nnyo baganda bange ne bannyinaze be nkola nabo mu Kitongole ky’Amateeka wano ku kitebe kyaffe ekikulu, n’abo be tukola nabo abali mu bitongole by’Amateeka mu matabi amalala okwetooloola ensi yonna. Yakuwa ampadde emikisa mingi nnyo mu bulamu bwange, era ndi musanyufu nnyo.

Philip ne Elizabeth Brumley.

Elizabeth ampagidde nnyo mu myaka 45 egiyise, mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu. Mmwagala nnyo era mmusiima nnyo olw’ebyo byonna by’akoze, wadde ng’alina obulwadde obumuleetera okubeera omunafu ennyo.

Tukirabye nti obuyambi bwe twetaaga, n’obuwanguzi bwe tufuna tebiva mu busobozi bwaffe. Nga Dawudi bwe yagamba, “Yakuwa ge maanyi g’abantu be.” (Zab. 28:8) Awatali kubuusabuusa, “olutalo lwa Yakuwa.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share