EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Weesomese ng’Olina Ekiruubirirwa eky’Okubuulirako Abalala by’Oyize
Bwe twesomesa tuwulira bulungi, naye ate tuwulira bulungi n’okusingawo singa bye tusomye tubibuulirako abalala. Engero 11:25 wagamba nti: “Buli azzaamu abalala amaanyi ajja kuzzibwamu amaanyi.”
Bwe tubuulirako abalala ebyo bye tuba tuyize, kituyamba okubijjukira era n’okweyongera okubitegeera. Era bwe tulaba engeri abalala gye baganyulwa mu ebyo bye tuba tubabuulidde, kituleetera essanyu.—Bik. 20:35.
Gezaako kino: Mu wiiki eziddako, baako omuntu gw’onyumyako naye ku bintu by’oba oyize. Ayinza okuba omu ku b’eŋŋanda zo, mukkiriza munno, mukozi munno, oyo gw’osoma naye, muliraanwa wo, oba omuntu gw’oba osanze ng’obuulira. Gezaako okumunnyonnyola mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi.
Jjukira kino: Buulirako abalala ebyo by’oyize okubazzaamu amaanyi, so si okubalaga nti omanyi nnyo.—1 Kol. 8:1.