LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Okitobba lup. 2-5
  • 1925​—⁠Emyaka Kikumi Emabega

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1925​—⁠Emyaka Kikumi Emabega
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABANTU BA KATONDA BAALINA OKULINDIRIRA
  • ABAYIZI BA BAYIBULI BATANDIKAWO EMIKUTU GYA LEEDIYO EMIRALA
  • TUYIGA AMAZIMA AMAKULU ENNYO
  • ABAYIZI BA BAYIBULI BAKITEGEERA NTI BALINA OKUWA OBUJULIRWA KU YAKUWA
  • BATANDIKA OKUDDIŊŊANA ABO BE BABUULIDDE
  • EBISEERA EBY’OMU MAASO
  • 1924​—⁠Emyaka Kikumi Emabega
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • 1922—Emyaka Kikumi Egiyise
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Okitobba lup. 2-5
Ab’oluganda ne bannyinaffe beekubya ekifaananyi ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga Indianapolis, Indiana, mu 1925.

Olukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga Indianapolis, Indiana, mu 1925

1925​​—⁠Emyaka Kikumi Emabega

Magazini ya Watch Tower eya Jjanwali 1, 1925, yagamba nti: “Tusuubira nti waliwo ebintu ebikulu ebigenda okubaawo omwaka guno.” Magazini eyo era yagamba nti: “Abakristaayo tebalina kumalira nnyo birowoozo byabwe ku ebyo ebiyinza okubaawo mu mwaka guno. Bwe bakola bwe batyo bayinza okuwugulibwa ne balekera awo okukola omulimu Yakuwa gw’abeetaagisa okukola.” Kiki Abayizi ba Bayibuli kye baali basuubira okubaawo mu 1925? Era kiki ekyabayamba okusigala nga banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira wadde nga kye baali basuubira tekyabaawo?

ABANTU BA KATONDA BAALINA OKULINDIRIRA

Abayizi ba Bayibuli bangi baali basuubira nti ensi egenda kufuulibwa Olusuku lwa Katonda mu 1925. Lwaki? Ow’oluganda Albert Schroeder, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi, yagamba nti: “Twali tukkiriza nti mu 1925, abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta abaali bakyasigaddewo ku nsi banditwaliddwa mu ggulu, era nti abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda gamba nga Ibulayimu, Dawudi, n’abalala bandizuukiziddwa ne baweereza ng’abaami ku nsi efugibwa Obwakabaka bwa Katonda.” Naye ekyo kye baali basuubira bwe kitaabaawo, baganda baffe ne bannyinaffe abamu baggwaamu amaanyi.—Nge. 13:12.

Wadde ng’ekyo Abayizi ba Bayibuli kye baali basuubira tekyatuukirira, abasinga obungi ku bo beeyongera okukola omulimu gw’okubuulira era baakitegeera nti omulimu ogw’okuwa obujulirwa ku Yakuwa mukulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. Ka tulabe engeri gye baakozesa leediyo okubuulira abantu bangi.

ABAYIZI BA BAYIBULI BATANDIKAWO EMIKUTU GYA LEEDIYO EMIRALA

Mu 1924, abantu bangi baali bawuliriza leediyo y’ekibiina eyitibwa WBBR. N’olwekyo mu 1925, Abayizi ba Bayibuli baasalawo okutandikawo leediyo endala ey’amaanyi, naye ku luno baagiteeka kumpi n’ekibuga Chicago, mu ssaza Illinois. Leediyo eyo yali eyitibwa WORD. Ralph Leffler, yinginiya eyakola ku kuteekawo leediyo eyo yagamba nti: “Mu budde obw’obutiti ekiro, WORD yali esobola okuwulirwa n’abantu abali ewala ennyo.” Ng’ekyokulabirako, ab’omu maka agamu abaali babeera mayiro ezisukka mu 3,000 mu kibuga ekiyitibwa Pilot Station, mu Alaska, baawuliriza emu ku programu ezaasooka okuweerezebwa ku leediyo eyo. Ab’omu maka ago bwe baamala okuwuliriza programu eyo, baawandiikira abakozi b’oku leediyo eyo nga babeebaza olwa programu eyo eyabayamba okumanya ebikwata ku Katonda ne Bayibuli.

Ku kkono: Emirongooti gya leediyo eyali eyitibwa WORD mu kibuga Batavia, Illinois

Ku Ddyo: Ralph Leffler ng’akola ku leediyo eyo

Magazini ya Watch Tower eya Ddesemba 1, 1925, yannyonnyola ensonga lwaki abantu bangi baali bawuliriza leediyo eno. Yagamba nti: “WORD y’emu ku leediyo ezisingayo amaanyi mu Amerika. Abantu mu Buvanjuba ne mu Bugwanjuba bw’Amerika bonna basobola okugiwuliriza. Ate era abantu mu Cuba ne mu bitundu eby’ewala mu bukiikakkono bwa Alaska, nabo bagiwuliriza. Abantu bangi abaali batawulirangako mazima agali mu Bayibuli, kati baagala okuyiga ebisingawo kubanga bawuliriza leediyo eno.”

George Naish

Mu kiseera ekyo kye kimu, Abayizi ba Bayibuli mu Canada baali baagala okukozesa leediyo okubuulira amawulire amalungi. Mu 1924, leediyo eyitibwa CHUC yazimbibwa mu kibuga Saskatoon, mu ssaza Saskatchewan. Leediyo eyo y’emu ku leediyo z’eddiini ezaasooka mu Canada. Mu 1925, baalina okunoonya ekifo ekineneko we banazza leediyo eno. N’olwekyo Watch Tower Society yeddiza obwannannyini bwa leediyo eyo, era n’egula ekizimbe ekyali kikozesebwa okulaga emizannyo mu kibuga Saskatoon, ne kiddaabirizibwa okusobola okuteekamu leediyo eyo.

Leediyo eyo yayamba abantu bangi abaali mu bitundu ebyesudde mu Saskatchewan okuwulira amawulire amalungi omulundi gwabwe ogwasooka. Ng’ekyokulabirako, mu kabuga akamu akaali keesudde, Mukyala Graham bwe yamala okuwuliriza programu emu ku leediyo, yawandiika ng’asaba okuweebwa ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Ow’oluganda George Naish agamba nti: “Omukyala oyo bwe yasaba okuyigirizibwa Bayibuli, kyalabika nti yali akyetaaga mu bwangu. Bwe kityo twamusindikira emizingo gyonna egy’ekitabo Studies in the Scriptures.” Mu kiseera kitono, omukyala oyo yatandika okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ne mu bitundu eby’ewala.

TUYIGA AMAZIMA AMAKULU ENNYO

Magazini ya Watch Tower eya Maaki 1, 1925, yalimu ekitundu ekigamba nti “Okuzaalibwa kw’Eggwanga.” Lwaki ekitundu ekyo kyali kikulu nnyo? Okumala ekiseera Abayizi ba Bayibuli baali bakimanyi nti Sitaani alina ekibiina kye ekirimu badayimooni, amadiini ag’obulimba, gavumenti z’abantu, n’enteekateeka y’eby’obusuubuzi. Okuyitira mu kitundu ekyo, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yayamba ab’oluganda okukitegeera nti Yakuwa naye alina ekibiina kye, era nti ekibiina ekyo kya njawulo nnyo ku kibiina kya Sitaani. (Mat. 24:45) Abo abali mu kibiina kya Yakuwa bakolera wamu okumuwagira, n’okuziyiza Sitaani awamu n’abo abamuwagira. Ate era omuddu omwesigwa yalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwatandika okufuga mu 1914, waaliwo olutalo mu ggulu era Sitaani ne badayimooni be baagobebwa mu ggulu ne basuulibwa wano ku nsi.—Kub. 12:​7-9.

Abamu ku Bayizi ba Bayibuli tebakkiriziganya na ntegeera eno mpya. Kyokka ekitundu ekyo kyayongerako ne kigamba nti: “Bwe wabaawo abasomi ba Watch Tower abatakkiriziganya na ntegeera eno, tubakubiriza okusigala nga bagumiikiriza era nga bakkakkamu, beesige Yakuwa era beeyongere okumuweereza n’obwesigwa.”

Tom Eyre, ow’omu Britain, eyali aweereza nga kolopoota (kati amanyiddwa nga payoniya) yayogera ku ngeri Abayizi ba Bayibuli gye baawuliramu nga basomye ekitundu ekyo. Yagamba nti: “Ab’oluganda baasanyuka nnyo okuwulira engeri ebyo ebiri mu Okubikkulirwa 12 gye byannyonnyolwamu. Bwe twakitegeera nti Obwakabaka bwa Katonda bwali buteekeddwawo mu ggulu, twawulira nga twagala nnyo okubuulirako abalala amawulire ago amalungi. Ekyo kyatuleetera okwagala okweyongera okubuulira n’obunyiikivu, era kyatuyamba okulaba nti Yakuwa yalina ebintu ebikulu by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso.”

ABAYIZI BA BAYIBULI BAKITEGEERA NTI BALINA OKUWA OBUJULIRWA KU YAKUWA

Leero, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyi bulungi ebigambo ebiri mu Isaaya 43:10 ebigamba nti: “‘Mmwe muli bajulirwa bange,’ Yakuwa bw’agamba, ‘Omuweereza wange gwe nnalonda.’” Naye ng’omwaka gwa 1925 tegunnatuuka, ekyawandiikibwa ekyo kyali tekyogerwako nnyo mu bitabo byaffe. Kyokka ekyo kyali kigenda kukyuka. Mu mwaka gwa 1925, magazini za Watch Tower 11 ku ezo ezaafulumizibwa zaayogera nnyo ku Isaaya 43:10 ne 12!

Ku nkomerero ya Agusito 1925, Abayizi ba Bayibuli baakuŋŋaanira mu kibuga Indianapolis, mu ssaza Indiana, ku lukuŋŋaana olunene. Mu bubaka obwali bwaniriza abo abaali bazze ku lukuŋŋaana obwali buwandiikiddwa ku programu, ow’Oluganda Joseph F. Rutherford yagamba nti: “Tuzze ku lukuŋŋaana luno . . . okufuna amaanyi okuva eri Mukama waffe tusobole okuddayo tumuweeko obujulirwa.” Ennaku omunaana olukuŋŋaana olwo ze lwamala, abo abaaluliko baakubirizibwa okuwa obujulirwa ku Yakuwa buli lwe baba bafunye akakisa.

Ku Lwomukaaga, nga Agusito 29, ow’Oluganda Rutherford yayogera ku mutwe ogugamba nti, “Mubeeko Kye Mukolawo.” Mu kwogera okwo yakikkaatiriza nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo ng’agamba nti: “Yakuwa agamba abantu be . . . : ‘Muli bajulirwa bange . . . nze Katonda.’ Oluvannyuma abawa ekiragiro ng’akozesa ebigambo bino: ‘Muwanikire amawanga akabonero.’ Abantu bokka ku nsi abasobola okuwa obujulirwa ku Yakuwa, beebo b’awa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu kubanga bantu be.”—Is. 43:12; 62:10.

Tulakiti eyalimu ekiteeso ekigamba nti, “Obubaka Obuwa Essuubi.”

Tulakiti eyali eyitibwa Obubaka Obuwa Essuubi

Oluvannyuma lw’okwogera kw’ow’Oluganda Rutherford, abo abaali bamuwuliriza bakkiriza okuwagira ekiteeso ekyalina omutwe ogugamba nti: “Obubaka Obuwa Essuubi,” ekyali kiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obugenda okuleetera abantu “emirembe, obulamu obulungi, n’essanyu ery’olubeerera.” Ekiteeso ekyo oluvannyuma kyavvuunulwa mu nnimi eziwerako era ne kikubibwa mu kyapa kisobole okukozesebwa mu kubuulira. Kopi z’ekiteeso ekyo ng’obukadde 40, ze zaagabibwa.

Waayitawo emyaka egiwerako ng’Abayizi ba Bayibuli tebannakyusa linnya lyabwe kuyitibwa Bajulirwa ba Yakuwa. Naye baali batandise okutegeera nti kikulu nnyo okubuulira ebikwata ku Yakuwa.

BATANDIKA OKUDDIŊŊANA ABO BE BABUULIDDE

Omuwendo gw’Abayizi ba Bayibuli bwe gwagenda gweyongera mu nsi yonna, baakubirizibwa okuddira abantu abaali baagala okweyongera okuwulira amawulire amalungi. Oluvannyuma lwa kaweefube ow’okugaba tulakiti erina omutwe Obubaka Obuwa Essuubi, akatabo Bulletina kaagamba nti: “Muddeeyo mukyalire abantu be mwawa tulakiti erina omutwe Obubaka Obuwa Essuubi.”

Akatabo Bulletin aka Jjanwali 1925, kaalimu obubaka okuva eri Omuyizi wa Bayibuli ow’omu kibuga Plano, mu ssaza Texas. Yagamba nti: “Kitwewuunyisa nnyo buli lwe tuddamu okubuulira mu bitundu bye twali tubuuliddemu. Abantu mu bitundu ebyo bawuliriza nnyo okusinga bwe kiba nga tubuulidde mu bitundu bye tutabuulirangamu. Waliwo akabuga akatono mu kitundu kyaffe akaakabuulirwamu emirundi etaano mu myaka ekkumi egiyise. . . . Gye buvuddeko awo, Mwannyinaffe Hendrix ne maama wange baddamu okubuulira mu kabuga ako era baagaba ebitabo bingi okusinga bwe kyali kibadde.”

Ate mu nsi ya Panama, kolopoota omu yawandiika nti: “Abantu bangi abaagaananga okuwuliriza obubaka ku mulundi gwe nnabanga nsoose okubabuulira, bwe nnaddangayo ku mulundi ogwokubiri oba ogwokusatu endowooza yaabwe yabanga ekyuse. Ebiseera byange ebisinga omwaka guno mbimaze nzirira abantu be nnali nnabuulirako, era waliwo ebirungi bingi bye nfunye.”

EBISEERA EBY’OMU MAASO

Mu bbaluwa ya buli mwaka ow’Oluganda Rutherford gye yawandiika mu 1925, eri bakolopoota bonna yayogera ku birungi ebyali bituukiddwako mu mulimu gw’okubuulira, era n’ababuulira ku ebyo ebyalina okukolebwa omwaka ogwandizzeeko. Yabagamba nti: “Mu mwaka oguyise mubadde n’enkizo okubudaabuda abantu bangi abanakuwavu. Omulimu guno gubaleetedde essanyu lingi. . . . Mu 1926, mugenda kuba n’akakisa okuwa obujulirwa ku Katonda ne ku Bwakabaka bwe n’okulaga baani ddala abamusinza mu ngeri entuufu. . . . Ffenna ka tweyongere okukozesa amaloboozi gaffe okutendereza Katonda waffe ne Kabaka waffe.”

Omwaka 1925 bwe gwali gunaatera okuggwaako, ab’oluganda baakola enteekateeka okugaziya Beseri y’omu Brooklyn. Mu 1926 baali bagenda kutandika projekiti y’okuzimba eyali esingayo okuba ennene ekibiina kya Yakuwa gye kyali kikoze mu kiseera ekyo.

Ab’oluganda nga bakola ku kizimbe ekipya ekyali kyakatandika okuzimbibwa.

Okuzimba Beseri ku Adams Street, mu kibuga Brooklyn, New York, mu 1926

a Kati kayitibwa Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share