LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Ddesemba lup. 31
  • Okyajjukira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyajjukira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Similar Material
  • Okyajjukira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ekitundu 1
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ddesemba lup. 31

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu mwaka guno? Laba oba ng’osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Nsonga ki ezituleetera okuwa Yakuwa ekitiibwa?

Tuwa Yakuwa ekitiibwa olw’okuba tumwagala nnyo. Ate era tumuwa ekitiibwa kubanga twagala abalala bamumanye.—w25.01, lup. 3.

Kiki ekiyinza okutuyamba okusonyiwa omuntu aba akoze ekintu ekitunyiiza?

Tetuzibiikiriza nneewulira yaffe; kyokka wadde kiri kityo bwe tweggyamu obusungu era ne tutasiba kiruyi kituyamba okwewala ebizibu ebiva mu kusiba obusungu.—w25.02, lup. 15-16.

Omuyigirizwa Makko yateerawo atya ab’oluganda abakyali abato ekyokulabirako ekirungi?

Makko yakkiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa. Wadde nga waliwo embeera eyaliwo eyali esobola okumumalamu amaanyi, Makko teyalekulira. Yeeyongera okukolagana ne Pawulo n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo.—w25.04, lup. 27.

Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yasaba ng’agamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo”? (Yok. 17:26)

Abayigirizwa be baali bamanyi erinnya lya Katonda. Naye Yesu yabayamba okumanya ebikwata ku nnannyini linnya eryo, ebigendererwa bye, ebyo by’akola, n’engeri ze.—w25.05, lup. 20-21.

Bwe tuba abeetoowaze, kiki kye tusaanidde okukkiriza?

Tukkiriza nti waliwo ebintu bye tutamanyi. Ng’ekyokulabirako, tetumanyi ddi enkomerero lw’enejja oba ebyo Yakuwa by’anaakola mu kiseera ekyo. Ate era tetumanyi binaabaawo nkya oba ebyo Yakuwa by’atumanyiiko.— w25.06, lup. 15-18.

Kiki ekisobola okutuyamba okuganyulwa mu bitundu ebiba mu bitabo byaffe oba emboozi eziweebwa mu kibiina?

Tusaanidde okwebuuza nti: ‘Bukakafu ki obuweereddwa okuyamba abantu okutegeera amazima gano? Waliwo ekyokulabirako ekikozeseddwa kye nsobola okukozesa nga nnina gwe njigiriza? Ani gwe nnyinza okubuulirako ku kintu kino?’—w25.07, lup. 19.

Bye tusoma ku Dawudi bituyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu?

Wadde nga Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, bwe yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yamusonyiwa. (1 Bassek. 9:​4, 5) Katonda bw’asonyiwa omuntu, aba taliddamu kumuvunaana nsobi ye.—w25.08, lup. 17.

Omuyizi wa Bayibuli bw’aba alina ekintu ekimuzibuwalidde okutegeera, kiki ky’osobola okukola?

Bw’oba olina ekintu ky’ofubye okumuyigiriza obulungi naye nga takitegeera, kibuuke mukyogereko nga wayiseewo ekiseera.—w25.09, lup. 24.

Bayibuli eba etegeeza ki bw’eyogera ku ‘bulimba bw’amaanyi g’ekibi’? (Beb. 3:13)

Ekibi kiyinza okutuleetera okukola ebintu ebibi. Ate era kisobola okutuleetera okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala.—w25.10, lup. 16.

Bintu ki ebisatu ebiyinza okutuyamba okulongoosa mu ssaala zaffe?

(1) Fumiitiriza ku ngeri za Yakuwa. (2) Lowooza era oyogere ku mbeera gy’oba oyolekagana nayo, gamba oyinza okuba ng’olina gwe weetaaga okusonyiwa. (3) Saba okumala ekiseera ekiwanvuko. Oboolyawo ekyo kijja kukuyamba okweyabiza Yakuwa.—w25.10, lup. 19-20.

Tuyinza tutya okuyamba abo abakaddiye?

Tusobola okubakyalirako oba okubakubira ku ssimu. Tusobola okubawerekerako nga bagenda mu ddwaliro. Oba tuyinza okubuulirako wamu nabo nga tukozesa enkola ez’enjawulo.—w25.11, lup. 6-7.

Biki Abakristaayo abateekateeka embaga bye basaanidde okulowoozaako?

Balina okugoberera amateeka ga gavumenti agakwata ku bufumbo. Basaanidde okukakasa nti ebyo ebibaawo ku mukolo gw’okugatta ne mu kifo gye baaniririza abagenyi baabwe byoleka nti bakulemberwa omwoyo gwa Katonda. Basaanidde okwambala mu ngeri eweesa omukolo ekitiibwa n’okwewala obulombolombo obukontana ne Bayibuli. Mufube okuwuliziganya obulungi nga muteekateeka embaga.—w25.12, lup. 21-24.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share