ABAVUBUKA BABUUZA
Bayibuli Eyinza Etya Okunnyamba?—Ekitundu 1: Manya Bayibuli Yo
“Ngezezzaako okusoma Bayibuli, naye buli lwe ndowooza ku bunene bwayo, nzigwamu amaanyi!”—Briana, wa myaka 15.
Naawe bw’otyo bw’owulira? Ekitundu kino kijja kukuyamba.
Lwaki nnandisomye Bayibuli?
Bw’olowooza ku kusoma Bayibuli, owulira nga tosobola kunyumirwa kugisoma? Ekyo kitegeerekeka. Oyinza okuba nga Bayibuli ogitwala ng’ekitabo ekirina empapula ennyingi, ekyawandiikibwa mu bunukuta obutono, era omutali na bifaananyi. Era oyinza okukitwala nti teyinza kukunyumira nga bwe wandinyumiddwa okulaba ttivi.
Naye kirowoozeeko: Singa osanga essanduuko ey’edda eyinza okubaamu ebintu eby’omuwendo, tewandyagadde kumanya bigirimu?
Bayibuli eringa essanduuko eyo erimu ebintu eby’omuwendo. Erimu amagezi agasobola okukuyamba
Okusalawo obulungi
Okukolagana obulungi ne bazadde bo
Okufuna emikwano emirungi
Okwaŋŋanga ebikweraliikiriza
Ekitabo ekyo eky’edda kiyinza kitya okubaamu amagezi agasobola okutuyamba leero? Ekyo kiri kityo kubanga “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Ekyo kitegeeza nti amagezi agali mu Bayibuli gava eri Omutonzi waffe asingayo okuba ow’amagezi.
Bayibuli eringa essanduuko erimu eby’obugagga eby’omuwendo
Nnandisomye ntya Bayibuli?
Engeri emu kwe kugisoma yonna okuva w’etandikira okutuuka w’ekoma. Ekyo kijja kukuyamba okumanya obubaka obukulu obuli mu Bayibuli. Waliwo engeri nnyingi z’osobola okusomamu Bayibuli. Ka tulabeyo bbiri:
Osobola okusoma ebitabo byayo 66 nga bwe bisengekeddwa okuva ku Olubereberye okutuuka ku Okubikkulirwa.
Osobola okugisoma ng’osinziira ku ngeri ebintu ebyogerwako mu Bayibuli gye byajja biddiriŋŋana.
Ekiyinza okukuyamba: Ebyongerezeddwako A7 mu Enkyusa ey’Ensi Empya biraga ebintu ebikulu ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu ku nsi nga bwe byajja biddiriŋŋana.
Engeri ey’okubiri ey’okusomamu Bayibuli kwe kulonda ensonga eyogerwako mu Bayibuli ng’ekwatagana n’embeera gy’olimu. Ng’ekyokulabirako:
Wandyagadde okufuna emikwano egyesigika? Soma ebikwata ku Yonasaani ne Dawudi. (1 Samwiri, essuula 18-20) Oluvannyuma noonya engeri Dawudi ze yalina eziyinza okuba nga ze zaaleetera Yonasaani okumufuula mukwano gwe.
Oyagala okuyiga engeri gy’oyinza okweyongera okuziyiza ebikemo? Soma ku ngeri Yusufu gye yaziyizaamu ekikemo. (Olubereberye, essuula 39) Oluvannyuma weetegereze ebyo bye yakola okusobola okuziyiza ekikemo ekyo n’engeri gy’oyinza okumukoppamu.
Oyagala okumanya engeri okusaba gye kuyinza okukuyambamu? Soma ebikwata ku Nekkemiya. (Nekkemiya, essuula 2) Oluvannyuma weetegereze engeri Katonda gye yaddamu okusaba kwe.
Ekiyinza okukuyamba: Bw’oba osoma Bayibuli, kakasa nti wooli wasirifu osobole okussaayo omwoyo.
Engeri ey’okusatu ey’okusomamu Bayibuli kwe kulonda ekintu ekimu ekyogerwako mu Bayibuli, gamba nga mu zabbuli, n’okisomako era oluvannyuma n’olowooza ku ngeri gye kikukwatako. Oluvannyuma lw’okusoma, weebuuze ebibuuzo nga bino:
Lwaki ekintu kino Yakuwa yakiteeka mu Bayibuli?
Kinjigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’akolamu ebintu?
Bino bye nsomye, nnyinza ntya okubikolerako?
Ekiyinza okukuyamba: Weeteerewo ekiruubirirwa eky’okusoma Bayibuli. Wandiika ddi lwe wandyagadde okutandika okugisoma, era kozesa enteekateeka y’okusoma Bayibuli eri ku jw.org.