Footnote
b Yusufu asembayo okwogerwako obutereevu Yesu ow’emyaka 12 bwe yasangibwa mu yeekaalu. Tewali wonna we kigambibwa nti Yusufu yaliwo ku mbaga y’obugole eyali e Kaana, ku ntandikwa y’obuweereza bwa Yesu. (Yokaana 2:1-3) Mu 33 C.E, Yesu eyali akomereddwa ku muti yakwasa omutume Yokaana omwagalwa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira Malyamu. Ekyo Yesu teyandikikoze singa Yusufu yali akyali mulamu.—Yokaana 19:26, 27.