Footnote
a Eky’okuba nti zabbuli zino zombi zikwatagana kyeyolekera mu ngeri gye zaasengekebwamu ne mu ebyo ebizirimu. Omusajja “oyo” atya Katonda Zabbuli 112 gw’eyogerako akoppa engeri za Katonda ezoogerwako mu Zabbuli 111, nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 111:3, 4 ne Zabbuli 112:3, 4.