Footnote
a Abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala’ tebajja kufuuka baana ba Katonda okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kyokka, olw’okuba baba beewaaddeyo eri Katonda, basobola okumuyita ‘Kitaabwe’ era babalibwa ng’ab’omu maka ga Yakuwa abamusinza.—Yok. 10:16; Is. 64:8; Mat. 6:9; Kub. 20:5.