Footnote
a Eky’ennaku, enkyusa za Bayibuli nnyingi teziriimu linnya lya Katonda wadde ng’erinnya eryo lirabika emirundi mingi nnyo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abamu bye bayita Endagaano Enkadde. Mu bifo awandibadde erinnya eryo abo abaazivvuunula baateekawo ebitiibwa, gamba nga “Mukama” oba “Katonda.” Okumanya ebisingawo, laba olupapula 195-197 ez’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.