Footnote
a Abazadde Abakristaayo baagala nnyo abaana baabwe. Bafaayo nnyo ku byetaago byabwe eby’omubiri ne ku nneewulira yaabwe. N’okusingira ddala abazadde abo bakola kyonna kye basobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulabayo emisingi ena okuva mu Bayibuli abazadde gye basobola okukozesa okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa.