Footnote
a Abakristaayo balina okuyiga okutya Katonda mu ngeri entuufu. Okutya okw’engeri eyo kusobola okukuuma emitima gyaffe era ne kutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu n’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya ebyo ebiri mu Engero essuula 9, awoogera ku bakazi babiri, omu ng’akiikirira amagezi ate omulala ng’akiikirira obusirusiru. Okubuulirira okuli mu ssuula eno kusobola okutuyamba kati ne mu biseera eby’omu maaso.