Footnote
c Ng’emyaka 40 gye baamala mu ddungu ginaatera okuggwaako, Abayisirayiri baalina ensolo mitwalo na mitwalo ze baafuna ng’omunyago okuva mu ntalo ze baalwana. (Kubal. 31:32-34) Wadde kyali kityo, beeyongera okulya emmaanu okutuusa lwe baayingira mu Nsi Ensuubize.—Yos. 5:10-12.