Footnote
a Ebitabo by’Enjiri n’ebitabo bya Bayibuli ebirala byogera ku mirundi Yesu gye yalabikira abayigirizwa abalala gamba nga Maliyamu Magudaleena (Yok. 20:11-18); abakazi abalala (Mat. 28:8-10; Luk. 24:8-11); abayigirizwa ababiri (Luk. 24:13-15); Peetero (Luk. 24:34); abatume ng’oggyeeko Tomasi (Yok. 20:19-24); abatume nga ne Tomasi kw’ali (Yok. 20:26); abayigirizwa omusanvu (Yok. 21:1, 2); abayigirizwa abasukka mu 500 (Mat. 28:16; 1 Kol. 15:6); muganda we Yakobo (1 Kol. 15:7); abatume bonna (Bik. 1:4); n’abatume nga bali okumpi ne Bessaniya. (Luk. 24:50-52) Emirundi emirala gye yabalabikira tegyogerwako.—Yok. 21:25.