LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 11/1 lup. 8-11
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Engero

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Engero
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘FUNA AMAGEZI ERA NYWEZA OKUBUULIRIRWA’
  • (Engero 1:1–9:18)
  • ENGERO EZITUWA OBULAGIRIZI
  • (Engero 10:1–29:27)
  • ‘EBY’OKUYIGA EBIKULU’
  • (Engero 30:1–31:31, NW)
  • Amagezi Aga Nnamaddala Galeekaanira mu Nguudo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • “Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 11/1 lup. 8-11

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Engero

KABAKA SULEMAANI owa Isiraeri ey’edda yali ‘asobola okwogera engero enkumi ssatu.’ (1 Bassekabaka 4:32) Tusobola okumanya engero ezo ze yayogera? Yee, tusobola okuzimanya. Ekitabo ky’Engero ekyamalirizibwa okuwandiikibwa mu 717 B.C.E., kirimu engero nnyingi eza Sulemaani. Kigambibwa nti essuula bbiri zokka ezisembayo ze zaawandiikibwa abantu abalala​—Aguli mutabani wa Yake ne Kabaka Lemweri. Kyokka abamu bagamba nti Lemweri linnya lya Sulemaani eddala.

Ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu kitabo ky’Engero birina ekigendererwa kya mirundi ebiri​—‘ziyamba omuntu okufuna amagezi n’okubuulirirwa.’ (Engero 1:2) Ebigambo ebyo bituyamba okufuna amagezi, kwe kugamba, okuba n’obusobozi bw’okulaba obulungi ebintu era n’okukozesa okumanya okusobola okugonjoola ebizibu. Era okuyitira mu bigambo ebyo tubuulirirwa oba ne tuyigirizibwa empisa. Bwe tussaayo omwoyo ku ngero zino era ne tugoberera amagezi agazirimu, emitima gyaffe gikwatibwako, tufuna essanyu era kitusobozesa okuba n’obulamu obulungi.​—Abaebbulaniya 4:12.

‘FUNA AMAGEZI ERA NYWEZA OKUBUULIRIRWA’

(Engero 1:1–9:18)

Sulemaani yagamba nti: “Amagezi googerera waggulu mu luguudo.” (Engero 1:20) Lwaki twandiwuliriza eddoboozi lyago ery’omwanguka era eritegerekeka obulungi? Essuula 2 eyogera ku miganyulo mingi egiva mu kufuna amagezi. Essuula 3 eyogera ku ngeri y’okufunamu enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Sulemaani ate yagamba: “Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi: weewaawo, funa okutegeera n’ebyo byonna bye wafunanga. Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga.”​—Engero 4:7, 13.

Kiki ekijja okutuyamba okuziyiza empisa embi eziri mu nsi? Essuula 5 ey’ekitabo ky’Engero ewa eky’okuddamu: Kozesa obusobozi bw’okutegeera era omanye engeri z’ensi ezisikiriza. Era lowooza ku kabi akava mu kwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu. Essuula eddako erabula ku bikolwa n’endowooza ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Essuula 7 ennyonnyola engeri omuntu omwenzi gye yeeyisaamu. Essuula 8, eyogera mu ngeri esikiriza ku mugaso oguli mu kubeera n’amagezi. Essuula 9, ewumbawumbako bulungi engero ezoogeddwako okuva ku ssuula esooka okutuuka ku y’omwenda. Erimu ebyokulabirako ebirungi ennyo ebitukubiriza okunoonya amagezi.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:7; 9:10​​—Mu ngeri ki gye kiri nti okutya Yakuwa “okumanya mwe kusookera” era “amagezi mwe gasookera”? Awatali kutya Yakuwa, tewayinza kubaawo kumanya, kubanga ye Mutonzi w’ebintu byonna era ye nnanyini kuwandiisa Baibuli. (Abaruumi 1:20; 2 Timoseewo 3:16, 17) Ye Nsibuko y’okumanya kwonna okutuufu. N’olwekyo, okumanya kutandikira mu kutya Yakuwa. Okutya Katonda era ye ntandikwa y’okufuna amagezi kubanga tewasobola kubaawo magezi awatali kumanya. Ate era, omuntu atatya Yakuwa tajja kukozesa kumanya kw’alina okuweesa Omutonzi ekitiibwa.

5:3​​—Lwaki omukazi omwenzi ayitibwa “omukazi omugenyi”? Engero 2:16, 17 lwogera ku ‘mukazi omugenyi’ ng’omuntu “[e]yeerabira endagaano ya Katonda we.” Omuntu yenna eyasinzanga bakatonda ab’obulimba oba eyabuusa amaaso Mateeka ga Musa, nga mw’otwalidde n’omwenzi, yali ayitibwa omugenyi.​—Yeremiya 2:25; 3:13.

7:1, 2​​—Ebigambo “ebiragiro byange” ne “ebigambo byange” bizingiramu ki? Ng’oggyeko enjigiriza za Baibuli, bizingiramu amateeka g’omu maka oba ebiragiro ebiteekebwawo abazadde ab’omu maka gaabwe basobole okuganyulwa. Abaana abato basaanidde okugagoberera awamu n’enjigiriza za Baibuli ze bayiga okuva ku bazadde baabwe.

8:30​​—“Omukoza [“omukozi omukugu,” NW]” y’ani? Amagezi agoogerwako ng’omuntu, geeyita omukozi omukugu era mu ngeri ey’akabonero gakiikirira Omwana wa Katonda omubereberye, Yesu Kristo nga tannafuuka muntu. Dda nnyo nga tannaba kuzaalibwa ku nsi ng’omuntu, ‘Katonda yasooka kutonda ye.’ (Engero 8:22) ‘Ng’omukozi omukugu,’ yakolera wamu ne Kitaawe mu kutonda ebintu byonna.​—Abakkolosaayi 1:15-17.

9:17​​—“Amazzi amabbe” ge galuwa era lwaki “gawooma”? Okuva Baibuli bwetwala okwetaba kw’abafumbo ng’okunywa amazzi amalungi agaseneddwa mu luzzi, amazzi amabbe gategeeza okukola obwenzi mu bubba. (Engero 5:15-17) Olw’okuba omuntu akola obwenzi mu bubba tebamutegeera, kireetera amazzi ago okutwalibwa ng’agawooma.

Bye Tuyigamu:

1:10-14. Twandyewaze okugoberera amakubo ga ababi olw’okutusuubiza eby’obugagga.

3:3. Ekisa eky’ensusso n’amazima twandibitutte nga bya muwendo era ne tubyoleka buli omu n’abiraba ng’omukuufu ogw’omuwendo oguba gusibiddwa mu bulago. Era twetaaga okuwandiika engeri zino ku mitima gyaffe nga tuzifuula kitundu kya bulamu bwaffe.

4:18. Okumanya kw’Ebyawandiikibwa kugenda kweyongera mpolampola. Okusobola okusigala mu kitangaala, tuteekwa okweyongera okuba abawombeefu.

5:8. Tugwanidde okwewala ebintu byonna ebiyinza okutuleetera okugwa mu bwenzi, ka bibe mu nnyimba, okwesanyusaamu, Internet, oba ebitabo ne magazini.

5:21. Omuntu ayagala Yakuwa yandikkiriza okufiirwa enkolagana ennungi gy’alina ne Katonda ow’amazima olw’okwesanyusaamu okw’akaseera obuseera? Kya lwatu nedda! Ekintu ekisingirayo ddala okutukubiriza okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa kwe kumanya nti Yakuwa alaba amakubo gaffe gonna era tuvunaanyizibwa gy’ali olw’ebyo byonna bye tukola.

6:1-5. Mu nnyiriri zino, tusangamu okubuulirira okw’amagezi okukwata ku ‘buteeyimirira’ balala ku bikwata ku ssente nga tebalina nteekateeka nnungi. Singa oluvannyuma lw’okwekenneenya ensonga tukisanga nti kye twakola tekyali kya magezi, mu bwangu ddala tusaanidde ‘okwetayirira muliraanwa waffe’ nga tumusaba tutereeze ensonga.

6:16-19. Ebintu bino omusanvu kumpi bizingiramu ebibi byonna. Tulina okubikyawa.

6:20-24. Omuntu bw’ayigirizibwa amateeka ga Baibuli okuviira ddala mu buto gayinza okumukuuma n’atagwa mu bwenzi. Abazadde tebalina kulagajjalira kutendeka baana baabwe mu ngeri eyo.

7:4. Tulina okwagala amagezi n’okutegeera.

ENGERO EZITUWA OBULAGIRIZI

(Engero 10:1–29:27)

Engero za Sulemaani ezisigaddeyo ziri mu bufunze naye nga za makulu nnyo. Ziraga enjawulo, okufaanagana, zigeraageranya ebintu, zituyigiriza empisa, enjogera n’endowooza ennungi.

Essuula 10 okutuuka ku 24 ziraga omuganyulo oguli mu kutya Yakuwa. Engero eziri mu ssuula 25 okutuuka ku 29 zaawandiikibwa “basajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda.” (Engero 25:1) Engero zino zituyigiriza okwesiga Yakuwa era n’ebintu ebirala ebikulu.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

10:6;​​—Ebigambo ‘obukambwe bubikka ku kamwa k’ababi’ bitegeeza ki? Okuva ababi bwe bakyayibwa, ebikolwa eby’obukambwe abalala bye babatuusaako oboolyawo bibasirisa. Mu Lwebbulaniya olwasooka, ebigambo ebyo biyinza okuvvuunulwa nga: ‘omumwa gw’ababi gubikka ku bukambwe.’ Kino kiyinza okuba kitegeeza nti ababi boogera ebigambo ebirungi okusobola okubikka ku biruubirirwa byabwe ebibi eby’okulumya abalala.

10:10​​—Mu ngeri ki oyo “atemya eriiso” gy’aleetamu ennaku? “Omuntu ataliiko ky’agasa” takoma ku ‘kwogera bya bulimba’ naye era agezaako okukweka ebiruubirirwa bye ‘ng’atemya ku liiso.’ (Engero 6:12, 13) Obulimba obw’engeri eno busobola okuviirako oyo gw’ayagala okukola obubi okunakuwala ennyo.

10:29​​—“Ekkubo lya Mukama” lye liruwa? Ekkubo lino ye ngeri Yakuwa gy’akolaganamu n’abantu so si ekkubo ery’obulamu lye tulina okugoberera. Engeri Katonda gy’akolaganamu n’abantu eviirako abagolokofu okufuna obukuumi naye ababi okuzikirizibwa.

11:31​​—Lwaki omubi yandiweereddwa empeera esinga ey’omutuukirivu? Empeera eyogerwako wano kye kibonerezo buli omu ky’afuna. Omuntu omutuukirivu bw’akola ensobi, empeera gy’aweebwa kwe kukangavvulwa. Omubi akola ekibi mu bugenderevu era agaana okukyuka okukola ekirungi. N’olwekyo, agwanira era aweebwa ekibonerezo eky’amaanyi.

12:23​​—Omuntu ‘akisa atya okumanya’? Okukisa okumanya tekitegeeza nti omuntu tayoleka kumanya kw’alina. Wabula kitegeeza okukwoleka mu ngeri ey’amagezi so si olw’okweraga obwerazi.

18:19​​—Mu ngeri ki gye kiri nti ‘ow’oluganda anyiize asinga ekibuga eky’amaanyi’? Okufaananako ekibuga eky’amaanyi ekizingiziddwa, omuntu ng’oyo ayinza okugaanira ddala okusonyiwa omulala ensobi ye. Obutategeeregana obubaawo wakati we n’oyo amukozeeko ekibi buyinza okuba nga ‘bye basibisa ekigo.’

Bye tuyigamu:

10:11-14. Ebigambo byaffe okusobola okuba nga bizimba, ebirowoozo byaffe biteekwa okujjuzibwa okumanya okutuufu, emitima gyaffe gigwanidde okuba nga gikubirizibwa kwagala era bye twogera byandibadde bya magezi.

10:19; 12:18; 13:3; 15:28; 17:28. Tusaanidde okusooka okulowooza nga tetunnayogera era tetwandyogedde bigambo bingi.

11:1; 16:11; 20:10, 23. Yakuwa ayagala tubeere beesigwa mu bizineesi ze tukola.

11:4. Kya busiru okuluubirira eby’obugagga ne tusuula omuguluka okusoma Baibuli, okubeerawo mu nkuŋŋaana, okusaba n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro.

13:4. Tekimala ‘kwegomba’ ekifo eky’obuvunaanyizibwa mu kibiina oba obulamu mu nsi empya. Tuteekwa okuba abanyiikivu era ne tufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa.

13:24; 29:15, 21. Omuzadde alina okwagala taginya mwana we oba okubuusa amaaso ensobi ze. Wabula abaako ky’akolawo okugolola ensobi ezo nga tezinnaba kusimba makanda.

14:10. Okuva bwe tutasobola kwolekera ddala nneewulira zaffe ez’omunda buli kiseera wadde abalala okuzitegeerera ddala buli kiseera, okubudaabuda abalala kwe batuwa kuliko ekkomo. Kiyinza okutwetaagisa okugumiikiriza ebizibu ebimu nga twesiga Yakuwa yekka.

15:7. Tetwandibuulidde muntu byonna bye tumanyi omulundi gumu, ng’omulimi bw’atasiga nsigo ze zonna mu kifo kimu. Omuntu omugezi ategeeza abalala okumanya kw’alina mpolampola okusinziira ku bwetaavu obubaawo.

15:15; 18:14. Okubeera n’endowooza ennuŋŋamu kijja kutuyamba okufuna essanyu ne mu mbeera enzibu ennyo.

17:24. Obutafaananako “omusirusiru,” atakuumira maaso ge n’ebirowoozo bye ku bintu ebikulu, twandinoonyezza okutegeera ne tusobola okweyisa mu ngeri ey’amagezi.

23:6-8. Twandyewaze endowooza ey’obukuusa nga tusembeza abagenyi.

27:21. Okutenderezebwa kuyinza okulaga kiki kye tuli. Obuwombeefu bujja kweyoleka singa bwe tutenderezebwa tusiima Yakuwa era ne tweyongera okumuweereza. Kyeyoleka nti tetuli bawombeefu singa bwe tutenderezebwa tuwulira nti tuli ba waggulu.

27:23-27. Nga zikozesa ekyokulabirako ky’omusumba, engero zino zissa essira ku muganyulo gw’okuba abamativu n’obulamu obwangu obuva mu kukola n’amaanyi. Naddala zanditulaze obwetaavu bw’okwesiga Katonda.a

28:5. Singa ‘tunoonya Yakuwa’ nga tuyitira mu kusaba n’okusoma Ekigambo kye, tuyinza ‘okutegeera byonna’ ebyetaagisa okusobola okumuweereza nga bw’ayagala.

‘EBY’OKUYIGA EBIKULU’

(Engero 30:1–31:31, NW)

Ekitabo kya Baibuli eky’Engero kifundikira n’essuula bbiri ezirimu ‘eby’okuyiga ebikulu.’ (Engero 30:1; 31:1, NW) Okuyitira mu kugeraageranya okuleetera omuntu okulowooza, obubaka bwa Aguli bulaga engeri gye kiri ekizibu omuntu ow’omululu okumatira, era bulaga bwe kiri ekizibu okumanya engeri omusajja gy’asendasendamu omuwala.b Ate era bulabula ku kwegulumiza n’okwogeza obusungu.

Eby’okuyiga ebikulu Lemweri bye yafuna okuva eri maama we birimu amagezi amalungi agakwata ku kukozesa omwenge era n’okusala omusango mu butuukirivu. Ebyogerwa ku mukazi omulungi bifundikira n’ebigambo nti: “Mumuwenga ku bibala eby’emikono gye; n’emirimu gye gimutenderezenga.”​—Engero 31:31.

Funa amagezi, kkiriza okubuulirirwa, tya Katonda era weesige Yakuwa. Ng’Engero ezaaluŋŋamizibwa zituyigiriza ebintu eby’omuganyulo ennyo! Mu buli ngeri yonna ka tusse mu nkola amagezi agazirimu era tufune essanyu erifunibwa “oyo atya Mukama.”​—Zabbuli 112:1.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba The Watchtower aka Agusito 1, 1991, olupapula 31.

b Laba The Watchtower aka Jjulaayi 1, 1992, olupapula 31.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]

Yakuwa ye Nsibuko y’okumanya kwonna okutuufu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Kitegeeza ki ‘okubunyisa okumanya’?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share