LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 8/1 lup. 27-32
  • Tukubirizibwa ‘Ebintu bya Katonda eby’Ekitalo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tukubirizibwa ‘Ebintu bya Katonda eby’Ekitalo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Baakubirizibwa Okubaako Kye Bakolawo!
  • Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi
  • Tukubirizibwa Okukolera ku Mitindo gya Yakuwa
  • ‘Temwagalanga Nsi’
  • Lwaki Kikulu Okufaayo ku Nnyambala Yaffe ne ku Ndabika Yaffe?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Okwambala n’Okwekolako mu Ngeri Ennungi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 8/1 lup. 27-32

Tukubirizibwa ‘Ebintu bya Katonda eby’Ekitalo’

“Tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe [ebintu] eby’ekitalo ebya Katonda.”​—EBIKOLWA 2:11.

1, 2. Kintu ki ekyewuunyisa ekyaliwo mu Yerusaalemi ku Pentekoote 33 C.E.?

LUMU ku makya mu kasambula w’omwaka 33 C.E., ekintu ekyewuunyisa kyatuuka ku bayigirizwa ba Yesu Kristo abaali bakuŋŋaanidde mu maka agamu mu Yerusaalemi. “Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. Ne kulabika ku bo ennimi ng’ez’omuliro . . . , bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu, ne batanula okwogera ennimi endala.”​—Ebikolwa 2:2-4, 15.

2 Ekibiina ky’abantu ekinene kyakuŋŋaana mu maaso g’ennyumba eyo. Mu bo mwalimu Abayudaaya ‘abatya Katonda’ abaazaalirwa mu nsi endala, abaali bazze mu Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Baawuniikirira kubanga buli omu yali awulira ng’abayigirizwa boogera mu lulimi lw’ewaabwe ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo.’ Ekyo kyasoboka kitya okuva bonna abaali boogera bwe baali Abaggaliraaya?​—Ebikolwa 2:5-8, 11.

3. Omutume Peetero yayogera ki eri ekibiina ku Pentekoote?

3 Omu ku Baggaliraaya abo yali omutume Peetero. Yannyonnyola nti wiiki ntono nnyo emabega, Yesu Kristo yali attiddwa abasajja abatali batuukirivu. Kyokka, Katonda yali azuukizza Omwana we okuva mu bafu. Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yalabikira abayigirizwa be nga mw’otwalidde n’omutume Peetero n’abamu ku abo abaaliwo. Ennaku kkumi zokka emabega, Yesu yali agenze mu ggulu. Yesu ye yali afuse omwoyo omutukuvu ku bayigirizwa be. Kino kyalina amakulu gonna eri abantu abo abaali bazze ku mbaga ya Penteekoote? Yee, ky’alina. Okufa kwa Yesu kwabateekerawo ekisinziirwako okusonyiyibwa ebibi byabwe era ‘n’okufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu’ singa baamukkiririzaamu. (Ebikolwa 2:22-24, 32, 33, 38) Kati, abo abaalaba ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo’ baakolawo ki? Era ebyo ebyaliwo biyinza bitya okutuyamba okukebera obuweereza bwaffe eri Yakuwa?

Baakubirizibwa Okubaako Kye Bakolawo!

4. Bunnabbi ki obwa Yoweeri obwatuukirizibwa ku lunaku lwa Pentekoote mu mwaka 33 C.E.?

4 Oluvannyuma lw’okufuna omwoyo omutukuvu, abayigirizwa abaali mu Yerusaalemi baatandikirawo okubuulira abalala amawulire amalungi ag’obulokozi ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanye ku makya ago aga Pentekoote 33 C.E. Okubuulira kwabwe kwatuukiriza obunnabbi obukulu ennyo obwawandiikibwa Yoweeri, mutabani wa Pesweri, emyaka 800 emabega: “Ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa: era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange . . . [ng’]olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnaba kujja.”​—Yoweeri 1:1; 2:28, 29, 31; Ebikolwa 2:17, 18, 20.

5. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baalagula mu ngeri ki? (Laba obugambo obutono wansi.)

5 Kino kyategeeza nti Katonda yali agenda kuyimusaawo bannabbi, abasajja n’abakazi abalinga Dawudi, Yoweeri ne Debola, abakozese okulagula ebyali eby’okubaawo mu maaso? Nedda. ‘Batabani n’abawala, abaddu n’abazaana’ Abakristaayo, bandiragudde mu ngeri nti bandikubiriziddwa omwoyo gwa Yakuwa okulangirira ‘ebintu eby’ekitalo’ Yakuwa bye yali akoze n’ebyo bye yandikoze mu kiseera eky’omu maaso. Bwe kityo, bandiweerezza ng’aboogezi b’oyo Ali Waggulu Ennyo.a Kati olwo, ekibiina kyakolawo ki?​—Abaebbulaniya 1:1, 2.

6. Oluvannyuma lw’ekibiina okuwulira Peetero bye yayogera, bangi mu kibiina baakola ki?

6 Oluvannyuma lw’ekibiina okuwulira ebyo Peetero bye yannyonnyola, bangi baalina kye baakolawo. “[B]akkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku luli abantu ng’enkumi ssatu.” (Ebikolwa 2:41) Olw’okuba baali Bayudaaya nzaalwa era nga n’abalala baali bakyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya, baali bamanyiko ku Byawandiikibwa. Okumanya okwo awamu n’okukkiririza mu ebyo bye baawulira okuva ku Peetero, byabasobozesa okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe n’[o]mwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu.” (Matayo 28:19) Oluvannyuma lw’okubatizibwa ‘beeyongera okunyiikirira okuyigiriza kw’abatume.’ Okugatta ku ekyo, baatandika okutegeeza abalala enzikiriza yaabwe empya. Mazima ddala, “ba[a]nyiikiriranga bulijjo n’omwoyo gumu mu yeekaalu, . . . nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna.” Ekyava mu kubuulira kuno kyali nti “Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokokanga.” (Ebikolwa 2:42, 46, 47) Mangu ddala, ebibiina eby’Ekikristaayo byatandikibwawo mu bifo abakkiriza bano abappya gye baali babeera. Awatali kubuusabuusa obunyiikivu bwabwe mu kubuulira abalala “amawulire amalungi” nga bazzeeyo mu bitundu byabwe gye baali babeera, bulina kinene kye bwakola mu kusobozesa okweyongera kuno.​—Abakkolosaayi 1:23.

Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi

7. (a) Kiki ekisikiriza abantu ab’amawanga gonna eri ekibiina kya Yakuwa leero? (b) Kukulaakulana ki okuyinza okubaawo mu nsi yonna era ne mu nsi yammwe? (Laba obugambo obutono wansi.)

7 Kiri kitya eri abo abaagala okufuuka abaweereza ba Katonda leero? Nabo beetaaga okuyiga Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza. Nga bayiga, bakizuula nti Yakuwa, Katonda “ajjudde okusaasira era [wa] kisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Okuva 34:6; Ebikolwa 13:48) Bayiga ku nteekateeka ya Yakuwa ey’ekinunulo okuyitira mu Yesu Kristo, ng’omusaayi gwe ogwayiibwa gusobola okubatukuza okuva mu kibi kyonna. (1 Yokaana 1:7) Era bategeera ekigendererwa kya Katonda ‘eky’okuzuukiza abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.’ (Ebikolwa 24:15) Okwagala kwe balina eri oyo Asibukako ‘ebintu bino eby’ekitalo’ kweyongera, era ne kubakubiriza okubuulira abalala amazima gano ag’omuwendo. Oluvannyuma, bafuuka abaweereza ba Katonda abeewaddeyo gy’ali, ne babatizibwa era ne ‘beeyongera okukulaakulana mu kumanya okukwata ku Katonda.’b​—Abakkolosaayi 1:10; 2 Abakkolinso 5:14.

8-10. (a) Ekyokulabirako ky’omukyala omu Omukristaayo kiraga kitya nti Ekigambo kya Katonda ‘kya amaanyi’? (b) Ekyokulabirako kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa n’engeri gy’akolaganamu n’abaweereza be? (Okuva 4:12)

8 Okumanya abaweereza ba Katonda kwe bafuna okuyitira mu kuyiga Baibuli tekukoma bukomi mu mitwe. Okumanya ng’okwo kukubiriza emitima gyabwe, kubaleetera okukyusa endowooza zaabwe, era ne bakukolerako buli lunaku. (Abaebbulaniya 4:12) Ng’ekyokulabirako, omukyala ayitibwa Camille yafuna omulimu ogw’okulabirira bannamukadde. Omu ku abo be yalabiriranga yali ayitibwa Martha, ng’ono yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Olw’okuba Martha yafuna obulwadde obwamutabula omutwe, yali yeetaaga okulabirirwa buli kiseera. Yali yeetaaga okujjukizibwa okulya awamu n’okumira emmere gye yali amaze okugaaya. Kyokka, waliwo ekintu kimu ekitaava mu bwongo bwa Martha nga bwe tujja okulaba oluvannyuma.

9 Lumu Martha yalaba Camille ng’akaaba olw’ebizibu bye yalina. Martha yamukwatako n’amusaba ayige naye Baibuli. Naye omuntu ali mu mbeera ng’eya Martha yandisobodde okuyigiriza omulala Baibuli? Yee, yali asobola! Wadde nga yali yeerabidde ebintu bingi, Martha yali teyeerabidde Katonda we akola eby’ekitalo; era yali teyeerabidde na mazima ag’omuwendo ge yayiga mu Baibuli. Nga bayiga, Martha yagamba Camille asome buli katundu, akebere Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa, yeebuuze ekibuuzo ekiri wansi w’obutundu ate oluvannyuma akiddemu. Baasoma bwe batyo okumala ebbanga eriwera era Camille n’akulaakulana mu kumanya Baibuli wadde ng’embeera ya Martha teyali nnungi. Martha yakitegeera nti Camille yali yeetaaga okukuŋŋaana n’abalala abaali baagala okuweereza Katonda. N’olwekyo, Martha yawa Camille ekiteeteeyi n’engatto, asobole okubeera n’olugoye olusaanira bw’anaaba agenze mu lukuŋŋaana lwe olusooka mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

10 Camille yakwatibwako nnyo olw’okwagala Martha kwe yamulaga wamu n’ekyokulabirako kye n’okukkiriza. Camille yakitegeera nti Martha bye yali agezaako okumuyigiriza okuva mu Baibuli byali bikulu nnyo, okuva Martha bwe yali yeerabidde kumpi buli kintu okuggyako ebyo bye yali ayize mu Byawandiikibwa. Oluvannyuma, Camille bwe yakyusibwa n’azzibwa mu kifo ekirala, yakitegeera nti yalina okubaako ne ky’akolawo. Bwe yafuna akakisa bw’ati, yagenda bunnambiro mu Kizimbe ky’Obwakabaka ng’ayambadde ekiteeteeyi n’engatto Martha bye yamuwa, era n’asaba okuyigirizibwa Baibuli. Camille yakulaakulana era n’abatizibwa.

Tukubirizibwa Okukolera ku Mitindo gya Yakuwa

11. Ng’oggyeko okubeera abanyiikivu mu kubuulira, tuyinza tutya okulaga nti tukubirizibwa amawulire g’Obwakabaka?

11 Okufaananako Martha ne Camille, leero waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abasoba mu bukadde mukaaga ababuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka” mu nsi yonna. (Matayo 24:14, NW; 28:19, 20) Era okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, bakubirizibwa ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo.’ Basanyufu okuba nti bayitibwa erinnya lya Yakuwa era n’okuba nti abawadde omwoyo gwe. N’olwekyo, bafuba ne ssekufuba yenna “okutambulanga nga bwe kisaanira [mu maaso ga Yakuwa] olw’okusiimibwa kwonna,” nga bagoberera ebiragiro bye mu bulamu bwabwe. Kino kizingiramu okugondera emisingi gya Katonda egikwata ku kwambala n’okwekolako.​—Abakkolosaayi 1:10; Tito 2:10.

12. Kuwabula ki okukwata ku kwambala n’okwekolako okuli mu 1 Timoseewo 2:9, 10?

12 Yee, Yakuwa atuteereddewo emitindo egy’okugobera ku bikwata ku ndabika yaffe. Omutume Pawulo yalaga ebimu ku ebyo Katonda by’atwetaagisa mu nsonga eno. “Abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n’okukwatibwa ensonyi n’okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez’omuwendo omungi; naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n’ebikolwa ebirungi.”c Kiki kye tuyigira ku bigambo ebyo?​—1 Timoseewo 2:9, 10.

13. (a) Ebigambo “[e]byambalo ebisaana” bitegeeza ki? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti emitindo gya Yakuwa si mikakali?

13 Ebigambo bya Pawulo biraga nti Abakristaayo balina okwambala “[e]byambalo ebisaana.” Tebalina kumala geeyambalira. Buli omu, k’abeere wa nfuna njabayaba, asobola okutuukana n’omutindo ogwo nga akakasa nti engoye ze nnyonjo, ngolole era nga zisaanira. Ng’ekyokulabirako, buli mwaka Abajulirwa ba Yakuwa okuva mu nsi emu ey’omu Amereka ow’Amaseregenta, batambula mayiro nnyingi nga bayita mu kibira ate oluvannyuma ne bakozesa eryato okumala essaawa nnyingi basobole okubaawo mu lukuŋŋaana olunene. Oluusi abamu bagwa mu mazzi g’omugga oba ebitittiriri ne biyuza engoye zaabwe nga batambula. We batuukira awanaabeera olukuŋŋaana, baba tebafaananikako. N’olw’ensonga eyo, kibatwalira ekiseera okutunga engoye zaabwe, okuzooza wamu n’okuzigolola basobole okuzambala mu lukuŋŋaana. Basiima nnyo okwanirizibwa ku mmeeza ya Yakuwa, n’olwekyo, baba baagala okwambala mu ngeri esaana.

14. (a) Kitegeeza ki okwambala ‘mu ngeri esaanira’? (b) Kiki ekizingirwa mu kwambala ‘ng’abantu abatya Katonda’?

14 Pawulo era yagattako nti tulina okwambala ‘mu ngeri esaanira.’ Kino kitegeeza nti tetwandyambadde olw’okweraga, oba okwambala engoye ezisiikuula okwegomba okubi, eziraga ebitundu by’omubiri ebitalina kulagibwa, oba eziraga obulazi omusono. Okugatta ku ekyo, twandyambadde mu ngeri eraga nti ‘tutya Katonda.’ Ensonga ezo tezituleetera okwekebera? Tekiri nti twandyambadde bulungi nga tuzze mu nkuŋŋaana z’ekibiina mwokka ate oluvannyuma ne twambala mu ngeri etasaanira mu biseera ebirala. Endabika yaffe buli kiseera yandiraze nti tutya Katonda era ng’emuweesa ekitiibwa kubanga tuli Bakristaayo ekiseera kyonna. Kya lwatu, engoye ze tukoleramu ne ze tusomeramu zandibadde zituukagana bulungi ne kye tuba tukola mu kiseera ekyo. Naye era, twandyambaddenga bulungi, mu ngeri eweesa ekitiibwa. Engoye zaffe bwe ziba nga ziraga nti tukkiririza mu Katonda buli kiseera, tetujja kutya kubuulira mbagirawo olw’okuba tutya okuswala olw’endabika yaffe.​—1 Peetero 3:15.

‘Temwagalanga Nsi’

15, 16. (a) Lwaki tetusaanidde kukoppa nsi ku bikwata ku nnyambala n’okwekolako? (1 Yokaana 5:19) (b) Lwaki twandyewaze emisono n’okwekolako ebigobererwa abantu mu nsi?

15 Era okubuulirira okuli mu 1 Yokaana 2:15, 16 nakwo kuwa obulagirizi ku ngeri gye twandyambaddemu wamu n’okwekolako. Tusoma: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.”

16 Nga okubuulirira okwo kutuukirawo nnyo! Nga tuli mu mulembe okupikirizibwa mwe kuli okw’amaanyi, tetwandirese nsi kutusalirawo nnyambala yaffe. Emisono egy’okwambala n’okwekolako gyonoonese nnyo ensangi zino. Olaba n’egyo egigobererwa abasuubuzi n’abayivu tegisaanira eri Abakristaayo. Eno ye nsonga endala lwaki twandyekuumye buli kiseera tuleme ‘okufaananyizibwa ng’omulembe guno’ bwe tuba ab’okugoberera emitindo gya Katonda, mu ngeri eyo ne tuleetera abalala ‘okusiima okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda, mu byonna.’​—Abaruumi 12:2; Tito 2:10.

17. (a) Bibuuzo ki bye twandirowoozezaako nga tugula olugoye oba nga tulonda omusono? (b) Lwaki emitwe gy’amaka bandifuddeyo ku ndabika y’ab’omu maka gaabwe?

17 Nga tonnasalawo kugula lugoye, kyandibadde kirungi osooke weebuuze: ‘Lwaki olugoye luno lunsikiriza? Kyandiba nti waliwo omuntu omumanyifu ennyo alwambala​—omuntu gwe njagala okukoppa? Olugoye luno lwambalibwa abayaaye oba abantu abakubiriza omwoyo gw’obwewagguzi?’ Era twandyekenneenyezza n’olugoye lwennyini. Bwe kiba nga kiteeteeyi oba sikaati, mpanvu kwenkana wa? Olugoye olwo lusaanira, oba lummiima? Lusiikuula okwegomba okubi? Weebuuze, ‘Bwe nnaalwambala kinaaleetera abalala okwesittala?’ (2 Abakkolinso 6:3, 4) Lwaki twandifuddeyo nnyo ku ekyo? Kubanga Baibuli egamba: “Ne Kristo teyeesanyusanga yekka.” (Abaruumi 15:3) Abakristaayo emitwe gy’amaka bandifuddeyo ku ndabika y’abo abaali mu maka gaabwe. Olw’okutya Katonda ow’ekitiibwa gwe basinza, emitwe gy’amaka tebanditidde kubuulirira ba mu maka gaabwe mu ngeri ey’okwagala, kyokka n’obuvumu bwe kiba nga kyetaagisa.​—Yakobo 3:13.

18. Kiki ekikukubiriza okufaayo ku nnyambala yo era n’okwekolako?

18 Obubaka bwe tubuulira busibuka eri Yakuwa, atuteerawo ekyokulabirako mu kulaga ekitiibwa n’obutukuvu. (Isaaya 6:3) Baibuli etukubiriza okumukoppa “ng’abaana abaagalwa.” (Abaefeso 5:1, NW) Ennyambala yaffe n’okwekolako biyinza okuweesa Kitaffe ekitiibwa oba okumuvumaganya. Awatali kubuusabuusa twagala okusanyusa omutima gwe!​—Engero 27:11.

19. Miganyulo ki egiva mu kutegeeza abalala ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo’?

19 Owulira otya oluvannyuma lw’okuyiga ku ‘bintu bya Katonda eby’ekitalo’? Mazima ddala nga twandibadde basanyufu olw’okuba tuyize amazima! Olw’okuba tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu Kristo, ebibi byaffe bisonyiyibwa. (Ebikolwa 2:38) Olw’ensonga eyo, tetutya kutuukirira Katonda. Tetutya kufa ng’abalala abatalina ssuubi. Okuleka ekyo, Yesu yatukakasa nti ekiseera kijja kutuuka ‘bonna abali mu ntaana bawulire eddoboozi lye, baveemu.’ (Yokaana 5:28, 29) Yakuwa abadde wa kisa ng’atubikkulira bino byonna. Okugatta ku ekyo, atuwadde omwoyo gwe omutukuvu. N’olwekyo, okusiima ebintu byonna ebirungi by’atukoledde kwanditukubirizza okukolera ku mitindo gye egya waggulu era ne tumutendereza nga tuli banyiikivu, nga tulangirira ‘ebintu bye eby’ekitalo’ eri abalala.

[Obugambo obuli wansi]

a Yakuwa bwe yalonda Musa ne Alooni okwogera eri Falaawo ku lw’abantu be, yagamba Musa: ‘Laba, nkufudde Katonda eri Falaawo: era Alooni muganda wo alibeera nnabbi wo.’ (Okuva 7:1) Alooni yali nnabbi, si mu ngeri nti yali alagula ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso, wabula mu ngeri nti yali mwogezi wa Musa.

b Ku nkumuliitu y’abantu abaaliwo ku Kijjulo kya Mukama waffe nga Maaki 28, 2002, bukadde na bukadde tebannatandika kuweereza Yakuwa. Twagala nnyo era tusaba nti bangi ku bano abaagala okuyiga naffe, banaakubirizibwa mu mitima gyabwe beeyongere okukulaakulana bafuuke ababuulizi b’amawulire amalungi.

c Wadde nga Pawulo ebigambo bye yabyolekeza bakazi Abakristaayo, omusingi ogwo gukwata ne ku baami Abakristaayo era ne ku bavubuka.

Wandizzeemu Otya?

• ‘Bintu ki eby’ekitalo’ abantu bye baawulira ku Pentekoote 33 C.E., era baakolawo ki?

• Omuntu afuuka atya omuyigirizwa wa Yesu Kristo, era okubeera omuyigirizwa kizingiramu ki?

• Lwaki kikulu okufaayo ku nnyambala yaffe n’engeri gye twekolako?

• Bintu ki ebyandirowoozeddwako ng’olonda omusono oba olugoye olw’okwambala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Peetero yalangirira nti Yesu yali azuukiziddwa okuva mu bafu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Endabika yo eweesa Katonda gw’osinza ekitiibwa?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Abazadde Abakristaayo bandifuddeyo ku ndabika y’ab’omu maka gaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share