EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 ABAKKOLINSO 7-10
Okuyamba Baganda Baffe Abeetaaga Obuyambi
Abakristaayo balina obuweereza bwa mirundi ebiri bwe beenyigiramu—“obuweereza obw’okutabaganya,” oba omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, n’obuweereza obw’okuyamba bakkiriza bannaabwe abeetaaga obuyambi. (2Ko 5:18-20; 8:4) N’olwekyo, okuyamba Bakristaayo bannaffe kitundu kya buweereza obutukuvu. Bwe twenyigira mu buweereza obwo,
tukola ku byetaago bya baganda baffe ne bannyinaffe.—2Ko 9:12a
tuyamba ababa bakoseddwa obutyabaga okuddamu okwenyigira mu by’omwoyo, gamba ng’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ne balaga nti basiima ebyo Yakuwa by’abakoledde.—2Ko 9:12b
tuweesa Yakuwa ekitiibwa. (2Ko 9:13) Omulimu gw’okudduukirira ababa bakoseddwa obutyabaga guwa abantu obujulirwa, nga mw’otwalidde n’abo abalina endowooza enkyamu ku Bajulirwa ba Yakuwa