LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Obuwulize—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?
    Omunaala gw’Omukuumi—2001 | Apuli 1
    • “Olyoke Obeerenga Bulungi”

      Pawulo yayogera ku kirungi ekirala ekiva mu buwulize bwe yawandiika: “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery’olubereberye eririmu okusuubiza), olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.” (Abaefeso 6:2, 3; Okuva 20:12) Mu ngeri ki obuwulize eri abazadde gye buyinza okuvaamu ebirungi?

      Okusooka, si kituufu nti abazadde batusinga emyaka n’obumanyirivu? Wadde bayinza okulabika ng’abatamanyi bingi ebikwata ku kompyuta oba ebirala ebiyigirizibwa mu ssomero, bamanyi bingi ku bulamu n’engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu by’omu bulamu. Ku luuyi olulala, abavubuka, tebalina ndowooza etagudde lubege omuntu gy’afuna ng’akuze mu myaka. Bwe kityo, batera okupapa nga basalawo, emirundi mingi ne bekkiriranya nga bapikirizibwa bannaabwe, ne kibaviiramu akabi. Mu ngeri etuukirawo, Baibuli egamba: “Obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto.” Kiki ekiyinza okuvumula ekyo? “Omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy’ali.”​—Engero 22:15.

      Emiganyulo gy’obuwulize tegikoma ku nkolagana ebaawo wakati w’omuzadde n’omwana. Abantu okusobola okutabagana n’okuganyulwa, wateekwa okubaawo okukolera awamu, nakyo ekyetaagisa obuwulize. Ng’ekyokulabirako, mu bufumbo, okubeera omwetegefu okukkaanya, so si okwetaaza abalala okukola ky’oyagala n’obutafaayo ku ddembe n’enneewulira z’abalala, kye kivaamu emirembe, okutabagana n’essanyu. Mu bifo gye tukolera, kikulu nnyo abakozesebwa okubeera abawulize singa bizineesi oba ekintu ekirala kyonna kya kutuuka ku buwanguzi. Ku bikwata ku mateeka ga gavumenti, obuwulize tebuwonya muntu kubonerezebwa kyokka naye era bwa bukuumi.​—Abaruumi 13:1-7; Abaefeso 5:21-25; 6:5-8.

      Abavubuka abatawulira ba buyinza batera okufuuka ab’akabi mu bantu. Okwawukana ku ekyo, obuwulize obuyigibwa mu buto buyinza okuganyula omuntu mu bulamu bwe bwonna. Nga kyamuganyulo nnyo okubuyiga mu buto!

  • Obuwulize—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?
    Omunaala gw’Omukuumi—2001 | Apuli 1
    • Jjukira nti, ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ekiragiro ky’okubeera abawulize eri abazadde kirimu ebisuubizo bibiri nti, “olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.” Ekikakasa ekisuubizo kino kisangibwa mu Engero 3:1, 2: “Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange; kubanga ennaku ennyingi n’emyaka egy’okuwangaala n’emirembe bye birikwongerwako.” Ekirabo eky’ekitalo eky’abawulize y’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kati n’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya ey’emirembe.​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share