LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 3/15 lup. 11-15
  • Amaaso Go Gakuumire ku Mpeera

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amaaso Go Gakuumire ku Mpeera
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuba Omulamu ku Nsi Emirembe Gyonna
  • Tebaakuumira Maaso Gaabwe ku Mpeera
  • Kye Tuyigamu
  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Mpeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
    Muyimbire Yakuwa
  • Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Dduka Osobole Okufuna Ekirabo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 3/15 lup. 11-15

Amaaso Go Gakuumire ku Mpeera

“Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera.”​—BAF. 3:14.

1. Pawulo yali asuubira kufuna mpeera ki?

OMUTUME Pawulo, era eyali amanyiddwa nga Sawulo ow’e Taluso, yali ava mu maka amatutumufu. Gamalyeri, omusomesa w’Amateeka ow’erinnya, ye yamusomesa eddiini ya bajjajjaabe. (Bik. 22:3) Wadde ng’ebiseera bya Pawulo eby’omu maaso byali bitangaavu, yava mu ddiini ye n’afuuka Omukristaayo. Okuva olwo yali aluubirira kufuna mpeera ey’obulamu obutaggwawo obwasuubizibwa​—okuba kabaka era kabona mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. Obwakabaka obwo bujja kufuga ensi era bujja kugifuula olusuku lwa Katonda.​—Mat. 6:10; Kub. 7:4; 20:6.

2, 3. Pawulo yalaga atya nti okufuna obulamu obw’omu ggulu kyali kintu kikulu nnyo gy’ali?

2 Ng’alaga nti empeera eyo kyali kintu kikulu nnyo gy’ali, Pawulo yagamba nti: “Byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo. Naye era n’ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw’obulungi obungi obw’okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw’oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi.” (Baf. 3:7, 8) Ebintu abasinga bye batwala ng’ekikulu ennyo mu bulamu​—ekifo ekya waggulu, obugagga, ekitiibwa, omulimu omulungi​—Pawulo yabitwala ng’empitambi oluvannyuma lw’okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa eri abantu.

3 Okuva olwo, ekintu Paulo kye yali asinga okutwala ng’ekikulu kwe kumanya okukwata ku Yakuwa ne Kristo, Yesu kwe yayogerako bw’ati ng’asaba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yok. 17:3) Eky’okuba nti Pawulo yali ayagala nnyo okufuna obulamu obutaggwawo kyeyolekera mu bigambo bye bino ebiri mu Abafiripi 3:14: “Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.” Yee, amaaso yagakuumira ku mpeera ey’okufuna obulamu obutaggwawo mu ggulu, abeere omu ku abo abandifuze mu Bwakabaka bwa Katonda.

Okuba Omulamu ku Nsi Emirembe Gyonna

4, 5. Abantu abasinga obungi abakola Katonda by’ayagala leero ba kufuna mpeera ki?

4 Abasinga obungi ku abo abakola Katonda by’ayagala bakolerera mpeera ey’okufuna obulamu obutaggwawo mu nsi ya Katonda empya. (Zab. 37:11, 29) Okusinziira ku Yesu, lino ssuubi lya nnamaddala. Yagamba nti: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.” (Mat. 5:5) Yesu ye musika omukulu ow’ensi eno, nga Zabbuli 2:8 bw’eraga, era ajja kuba n’abalala 144,000 b’afuga nabo mu ggulu. (Dan. 7:13, 14, 22, 27) Abo abalinga endiga bajja ‘kusikira’ obulamu wano ku nsi mu Bwakabaka ‘obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.’ (Mat. 25:34, 46) Kino kirina okutuukirira kubanga Katonda eyasuubiza ‘tayinza kulimba.’ (Tit. 1:2) Okufaananako Yoswa, naffe tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Katonda bijja kutuukirira. Yagamba Abaisiraeri nti: “Tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo ekitatuuse.”​—Yos. 23:14.

5 Obulamu mu nsi ya Katonda empya tebujja kubaamu bizibu nga bwe kiri leero. Bujja kuba bulungi nnyo: tewajja kuba ntalo, bumenyi bwa mateeka, bwavu, butali bwenkanya, bulwadde wadde okufa. Olwo abantu bajja kuba n’obulamu obutuukiridde era bajja kuba mu nsi efuuliddwa Olusuku lwa Katonda. Obulamu obwo bujja kuba bulungi okusinga ne bwe tuyinza okusuubira. Yee, buli lunaku olukya lujja kuba lwa ssanyu jjereere. Ng’eyo ejja kuba mpeera ya kitalo!

6, 7. (a) Yesu yalaga atya ekijja okubaawo mu nsi ya Katonda empya? (b) Abafu banaafuna mukisa ki?

6 Bwe yali ku nsi, Yesu yaweebwa omwoyo omutukuvu n’akola ebyamagero ng’alaga ebintu eby’ekitalo ebijja okubaawo mu nsi empya. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba omusajja eyali yasannyalala okumala emyaka 38 nti tambula. Baibuli egamba nti omusajja oyo yasituka n’atambula. (Soma Yokaana 5:5-9.) Olulala, Yesu yasanga “omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso” n’amuwonya. Oluvannyuma omusajja oyo bwe baamubuuza ani yali amuwonyezza yaddamu nti: “Okuva edda n’edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g’omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo.” (Yok. 9:1, 6, 7, 32, 33) Bino byonna Yesu yasobola okubikola olw’amaanyi Katonda ge yamuwa. Buli gye yagendanga, ‘yawonyanga abaali beetaaga okuwonyezebwa.’​—Luk. 9:11.

7 Yesu teyakoma ku kuwonya abalwadde n’abalema kyokka, naye yazuukiza n’abafu. Ng’ekyokulabirako, waliwo omuwala ow’emyaka 12 eyafa ky’aleetera bazadde be ennaku ey’amaanyi. Naye Yesu yagamba bugambi nti: “Omuwala, nkugamba nti Golokoka,” era omuwala n’agolokoka! Muli olowooza abazadde be n’abalala abaaliwo baawulira batya? (Soma Makko 5:38-42.) Mu nsi ya Katonda empya, wajja kubaayo ‘okuwuniikirira’ kwa maanyi ng’abantu bukadde na bukadde bazuukiziddwa, kubanga ‘wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.’ (Bik. 24:15; Yok. 5:28, 29) Kino kijja kubaggulirawo omukisa ogw’okubeera abalamu emirembe gyonna.

8, 9. (a) Ku bikwata ku kibi kye twasikira ku Adamu, kiki ekinaabaawo mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo eky’Emyaka Olukumi? (b) Kiki ekinaasinziirwako ng’abafu basalirwa omusango?

8 Abo abanaazuukizibwa bajja kuweebwa akakisa okuba abalamu emirembe gyonna. Tebajja kusalirwa musango olw’ebibi bye baakola nga tebannafa. (Bar. 6:7) Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu abawulize bajja kuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo okutuusa lwe banavvuunuka ebizibu byonna ebyaggyawo olw’ekibi kya Adamu ne bafuuka abantu abatuukiridde. (Bar. 8:21) Yakuwa ‘ajja kumirira ddala okufa ennaku zonna; era ajja kusangula amaziga mu maaso gonna.’ (Is. 25:8) Ekigambo kya Katonda era kigamba nti ‘ebitabo bijja kubikkulwa,’ nga kino kiraga nti abo abaliba abalamu mu kiseera ekyo bajja kuweebwa ebiragiro ebipya. (Kub. 20:12) Ensi bw’eneefuuka olusuku lwa Katonda, ‘abagituulamu bajja kuyiga obutuukirivu.’​—Is. 26:9.

9 Abo abanaazuukizibwa bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye banaakola mu kiseera ekyo, so si ku bye baakola nga bakyalina ekibi kye baasikira ku Adamu. Okubikkulirwa 20:12 wagamba nti: “Abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali,” kwe kugamba, ebyo bye bakola nga bamaze okuzuukizibwa. Nga kino kyoleka bulungi obwenkanya bwa Yakuwa, ekisa kye n’okwagala kwe! Ate era, ebintu ebibaleetera ennaku mu nsi eno ‘tebirijjukirwa era tebiriyingira mu mitima gyabwe.’ (Is. 65:17) Olw’okuba wajja kubaawo ebintu ebizimba n’ebirungi bingi mu bulamu, tebajja kuwulira nnaku olw’ebyo ebyabatuukako mu biseera eby’emabega. Byonna bajja kubyerabira. (Kub. 21:4) Bwe kityo bwe kijja okuba ne ku ‘b’ekibiina ekinene’ abanaayita mu Kalumagedoni.​—Kub. 7:9, 10, 14.

10. (a) Obulamu bunaaba butya mu nsi ya Katonda empya? (b) Kiki ekinaakuyamba okukuumira amaaso go ku mpeera?

10 Mu nsi ya Katonda empya, abantu bajja kuba tebakyalwala wadde okufa. “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Is. 33:24) Abo abanaabeera mu nsi empya buli lunaku bajjanga kuzuukuka nga tebalina kabaluma, nga beesunga birungi byereere olunaku lwonna. Bajjanga kukola emirimu egibawa essanyu, era nga beetooloddwa abantu abalungi era ababafaako. Okuba mu bulamu ng’obwo ddala ejja kuba mpeera ya kitalo! Lwaki tofunayo akaseera n’osoma obunnabbi obuli mu Isaaya 33:24 ne 35:5-7? Gezaako okukuba akafaananyi ng’oli mu bulamu ng’obwo. Ekyo kijja kukuyamba okukuumira amaaso go ku mpeera.

Tebaakuumira Maaso Gaabwe ku Mpeera

11. Nnyonnyola ebyaliwo ku ntandikwa y’obufuzi bwa Sulemaani.

11 Bwe tumala okutegeera empeera egenda okutuweebwa, kitwetaagisa okufuba okusobola okukuumira amaaso gaffe ku mpeera eyo. Ng’ekyokulabirako, bwe yafuuka kabaka wa Isiraeri, Sulemaani yasaba Katonda amuwe amagezi n’okutegeera asobole okulamula obulungi abantu Be. (Soma 1 Bassekabaka 3:6-12.) Era Baibuli egamba nti, ‘Katonda yawa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo.’ Mu butuufu, ‘Amagezi ga Sulemaani gaali gakira amagezi gonna ag’abaana b’ebuvanjuba, n’amagezi gonna ag’e Misiri.’​—1 Bassek. 4:29-32.

12. Abo abandifuuse bakabaka mu Isiraeri, Yakuwa yabalabula ku ki?

12 Kyokka, Yakuwa yali yalabula dda nti omuntu yenna eyandifuuse Kabaka yalina okwewala ‘okwefunira embalaasi ennyingi n’abakazi abangi, omutima gwe gulemenga okukyuka.’ (Ma. 17:14-17) Okufuna embalaasi ennyingi kyandiraze nti kabaka yeesiga ggye lye okukuuma eggwanga, mu kifo ky’okwesiga Omukuumi waabwe Yakuwa. Era okufuna abakazi abangi kyandibadde kya kabi kubanga osanga abamu bandivudde mu mawanga agaali geenyigira mu kusinza okw’obulimba, era abakazi abo bandibadde basobola okukyusa omutima gwa kabaka n’alekera awo okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima.

13. Kiki ekyaleetera Sulemaani okuggya amaaso ku ekyo ekyali kimuweereddwa?

13 Okulabula okwo Sulemaani yakubuusa amaaso. Yasalawo okukola ebintu Yakuwa bye yali yagaana. Yeefunira embalaasi nnyingi nnyo ssaako n’abeebagazi baazo. (1 Bassek. 4:26) Era yafuna abakazi 700 n’abazaana 300, nga bangi ku bo baava mu mawanga amakaafiiri. Abakazi abo ‘baakyusa omutima gwe n’agoberera bakatonda abalala, omutima gwe ne guba nga tegutuukiridde eri Mukama.’ Sulemaani yeenyigira mu kusinza okw’obulimba okwaleetebwa bakazi be abaava mu mawanga amakaafiiri. Kino kye kyaviirako Yakuwa okugamba Sulemaani nti yali agenda ‘kumuyuzaako obwakabaka.’​—1 Bassek. 11:1-6, 11.

14. Sulemaani n’eggwanga lya Isiraeri okujeemera Yakuwa kyavaamu ki?

14 Enkizo ey’okukiikirira Katonda ow’amazima Sulemaani yali takyagitwala ng’ekikulu. Kabaka oyo yeemalira mu kusinza okw’obulimba. Oluvannyuma eggwanga lyonna lyava ku kusinza okw’amazima, era ne lizikirizibwa mu 607 E.E.T. Wadde ng’Abayudaaya bazzaawo okusinza okw’amazima, nga wayise ebyasa ebiwerako, Yesu yagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” Era ddala bwe kityo bwe kyali. Yesu yagamba nti: “Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.” (Mat. 21:43; 23:37, 38) Eggwanga eryo lyafiirwa enkizo ey’ekitalo ey’okukiikirira Katonda ow’amazima olw’obutakuuma bwesigwa. Mu 70 E.E., eggye ly’Abaruumi lyazikiriza Yerusaalemi awamu ne yeekaalu, era Abayudaaya bangi abaawonawo baafuulibwa baddu.

15. Waayo ebyokulabirako by’abantu abataakuumira maaso gaabwe ku kintu ekisinga obukulu.

15 Yuda Isukalyoti yali omu ku batume ba Yesu 12. Yaliwo nga Yesu ayigiriza ebintu eby’ekitalo, era yalaba ebyamagero omwoyo gwa Katonda omutukuvu bye gwamusobozesa okukola. Kyokka, Yuda teyakuuma mutima gwe. Yali yakwasibwa akasanduuko omwaterekebwanga ssente za Yesu n’abatume be 12. Naye ‘yali mubbi era yatwalanga ssente ezaateekebwangamu.’ (Yok. 12:6, NW) Okuba n’omululu gwa ssente kyamutuusa okwekobaana ne bakabona abakulu n’alya mu Yesu olukwe asobole okufuna ebitundu bya ffeeza 30. (Mat. 26:14-16) Omuntu omulala eyaggya amaaso ku mpeera ye Dema eyali munne w’omutume Pawulo. Dema teyakuuma mutima gwe. Pawulo yagamba nti: “Dema yandekawo, ng’ayagala emirembe egya kaakano.”​—2 Tim. 4:10; soma Engero 4:23.

Kye Tuyigamu

16, 17. (a) Omulabe waffe wa maanyi kwenkana wa? (b) Kiki ekinaatuyamba okwaŋŋanga buli mbeera Setaani gy’atuleetera?

16 Abaweereza ba Katonda bonna basaanidde okulowooza ku byokulabirako ebiri mu Baibuli kubanga etugamba nti: “Ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw’okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z’emirembe.” (1 Kol. 10:11) Kati tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu.​—2 Tim. 3:1, 13.

17 Setaani Omulyolyomi, “katonda ow’emirembe gino,” akimanyi ‘nti asigazza akaseera katono.’ (2 Kol. 4:4; Kub. 12:12) Akola buli ky’asobola okulaba nti alemesa abaweereza ba Yakuwa okutambulira ku mitindo gy’Ekikristaayo. Setaani y’afuga ensi eno, era alina obuyinza ku mikutu gyayo egy’empuliziganya. Kyokka, abantu ba Yakuwa balina ekintu eky’amaanyi ddala okusingako awo​—“amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7, NW) Amaanyi gano agava eri Katonda gasobola okutuyamba nga twolekaganye n’embeera yonna Setaani gy’aba aleeseewo. N’olwekyo, tukubirizibwa okusabanga bulijjo nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja ‘kutuwa omwoyo gwe omutukuvu.’​—Luk. 11:13.

18. Twanditunuulidde tutya ensi eno?

18 Ate era kituzzaamu amaanyi okukimanya nti enteekateeka ya Setaani yonna eneetera okuzikirizibwa, naye Abakristaayo ab’amazima bajja kuwonawo. “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yok. 2:17) Olw’ensonga eyo, tekiba kya magezi omuweereza wa Katonda yenna okulowooza nti waliwo ekintu kyonna mu nsi eno ekiyinza okuba eky’omuwendo okusinga enkolagana ye ne Yakuwa. Ensi eno efugibwa Setaani eyolekedde okuzikirizibwa, naye Yakuwa awadde abaweereza be ekibiina Ekikristaayo ekinaabayamba okuwonawo. Mu kiseera kino nga boolekedde okuyingira mu nsi empya, bakakafu ku kisuubizo kino: “Abakola obubi balizikirizibwa: naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.” (Zab. 37:9) N’olwekyo, amaaso go gakuumire ku mpeera eno ey’ekitalo!

Ojjukira

• Pawulo yatwala atya empeera gye yali asuubira okufuna?

• Kiki ekinaasinziirwako okusalira omusango abo abanaabeera ku nsi emirembe gyonna?

• Kiki ky’omaliridde okukola kati?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Bw’oba osoma Baibuli, okuba akafaananyi ng’oweereddwa empeera?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share