Oluyimba 116
Ekitangaala Kyeyongera
t(Engero 4:18)
1. Bannabbi baayagala nnyo ’kumanya
Ebikwata ku Kristo byonna.
Baabikkulirwa nti Masiya ajja,
Omulokozi waffe ffenna.
Kati Masiya ’tandise ’kufuga;
’Bujulizi tubulaba.
Nga nkizo nnene okumanya bino,
Bamalayika bye bekkaanya!
(CHORUS)
Ekitangaala kyeyongedde,
Era mwe tutambulira.
Laba Katonda by’abikkudde;
K’atuluŋŋamyenga ffenna.
2. Mukama waffe yassaawo ’muddu we,
Atuwe emmere mu budde.
Ekitangaala kizze kyeyongera,
Abawombeefu bamatidde.
Tutambulira mu kkubo kkakafu,
Era tuli mu musana.
Yakuwa y’atulaze amazima,
Era tumwebaza nnyo ddala.
(CHORUS)
Ekitangaala kyeyongedde,
Era mwe tutambulira.
Laba Katonda by’abikkudde;
K’atuluŋŋamyenga ffenna.
(Era laba Bar. 8:22; 1 Kol. 2:10; 1 Peet. 1:12.)