Oluyimba 18
Okwagala kwa Katonda Okunywevu
Printed Edition
1. Katonda kwagala.
Kino kitusanyusa.
Yatuma Omwana we,
Eyatununula ffe,
Tufune obulamu
Obw’emirembe gyonna.
(CHORUS)
Mmwe mmwenna abayonta,
Mujje munywe amazzi.
Munywe mmwe abayonta;
Kisa kya Katonda.
2. Katonda kwagala.
By’akola bikiraga.
Era olw’okwagala,
Yassa Yesu ku ntebe
Ey’Obwakabaka bwe.
Kaakati buzaaliddwa.
(CHORUS)
Mmwe mmwenna abayonta,
Mujje munywe amazzi.
Munywe mmwe abayonta;
Kisa kya Katonda.
3. Katonda kwagala.
Naffe ka twagalenga.
Tuyambe abateefu,
Nga banoonya Katonda.
Ffenna tubuulirenga,
Tubudeebude bonna.
(CHORUS)
Mmwe mmwenna abayonta,
Mujje munywe amazzi.
Munywe mmwe abayonta;
Kisa kya Katonda.
(Era laba Zab. 33:5; 57:10; Bef. 1:7.)