Oluyimba 70
“Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu”
Printed Edition
1. Twetaaga nnyo amagezi leero,
’Kumanya ebisaana,
’Kumanya ’bisinga obukulu,
’Kumanya ’by’okukola!
Yagala nnyo ebirungi.
Kyawa ’kibi;
Ojja kuba n’essanyu. Sabanga;
Weesomese.
Yee, tukolenga ebikulu.
2. Mulimu ki omukulu ennyo
’Kusinga ’kubuulira,
Okunoonya endiga za Yakuwa
Tuzirage ’kkubo?
Bateekeddwa okumanya.
Ka tuyambe
Baliraanwa baffe okulaba
Amazima!
Okubuulira kukulu nnyo.
3. ’Kukkiriza kwaffe kunywera,
Bwe tumanya ebikulu.
Tuba n’emirembe egy’ensusso
N’essuubi erinywevu.
N’emikwano ’gy’amazima,
Tugifuna.
’Mikisa mingi nnyo gye tufuna,
Bwe tumanya,
Ebikulu ne tubikola!
(Era laba Zab. 97:10; Mat. 22:37; Yok. 21:15-17; Bik. 10:42.)