OLUYIMBA 147
Katonda Atusuubizza Obulamu Obutaggwaawo
Printed Edition
	- 1. Abantu abawombeefu - Katonda ’basuubizza - ’Bulamu obutaggwaawo. - Ekyo kikakafu. - (CHORUS) - Tujja kubeerawo - Emirembe gyonna. - Kino kisuubizo - Ekyesigika. 
- 2. Olusuku lwa Katonda - Lunaaba luzziddwawo. - Emirembe mu nsi yonna - Gijja kubeerawo. - (CHORUS) - Tujja kubeerawo - Emirembe gyonna. - Kino kisuubizo - Ekyesigika. 
- 3. Ng’abafu bazuukiziddwa - Ennaku eneekoma. - Katonda anaasangula - Amaziga gonna. - (CHORUS) - Tujja kubeerawo - Emirembe gyonna. - Kino kisuubizo - Ekyesigika. 
(Laba ne Is. 25:8; Luk. 23:43; Yok. 11:25; Kub. 21:4.)