Ebyafaayo
Emyaka Ensanvu gye Mmaze nga Nneekutte ku Lukugiro lw’Omuyudaaya
Byayogerwa Leonard Smith
Bwe nnali nkyali muvubuka, waliwo ebyawandiikibwa bibiri ebyankwatako ennyo. Kati wayise emyaka 70 naye nkyajjukira ekiseera we nnategeerera amakulu g’ebigambo ebiri mu Zekkaliya 8:23, ebyogera ku ‘bantu ekkumi’ abeekwata ku “lukugiro lw’omuntu Omuyudaaya” nga bamugamba nti: “Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”
OMUSAJJA Omuyudaaya akiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ate ‘abantu ekkumi’ bakiikirira ‘ab’endiga endala,’ oba ab’ekibiina kya “Yekonadabu,” ng’ab’endiga endala bwe baali bayitibwa mu kiseera ekyo.a (Yok. 10:16) Ekyo bwe nnakitegeera, nnakiraba nti okusobola okubeera omulamu emirembe gyonna ku nsi, nneetaaga okuyamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta.
Ebigambo bya Yesu ebikwata ku ‘ndiga n’embuzi,’ ebiri mu Matayo 25:31-46, nabyo byankwatako nnyo. “Endiga” zikiikirira abantu abanaasangibwa nga basaanira mu maaso ga Katonda abajja okuwonawo ku nkomerero olw’okuyamba baganda ba Kristo abakyali ku nsi. Ng’omu ku abo abali mu kibiina kya Yekonadabu, nnakiraba nti Kristo okusobola okuntwala ng’emu ku ndiga ze, nnali nneetaaga okuyamba baganda be abaafukibwako amafuta n’okubagondera kubanga Katonda ali wamu nabo. Okutegeera ebyawandiikibwa ebyo kinnyambye nnyo mu myaka egisukka mu nsanvu gye mmaze nga mpeereza Yakuwa.
‘EKIFO KYANGE KYE KIRUWA?’
Maama wange yabatizibwa mu 1925 mu kizimbe omwabeeranga enkuŋŋaana ekyali okumpi ne Beseri. Ekizimbe ekyo kyali kiyitibwa London Tabernacle era ab’oluganda abaali babeera mu kitundu ekyo mwe baakuŋŋaaniranga. Nnazaalibwa nga Okitobba 15, 1926. Nnabatizibwa mu Maaki 1940 ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga Dover ekya Bungereza. Nneeyongera okwagala amazima. Olw’okuba maama yali omu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, ye ‘Muyudaaya’ gwe nnasooka okukwata ku “lukugiro.” Mu kiseera ekyo, taata wange ne baaba wange omuwala baali tebaweereza Yakuwa. Twali tukuŋŋaanira mu kibiina ky’e Gillingham ekyali mu bukiika ddyo bwa Bungereza. Mu kibiina ekyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta be baali basinga obungi. Maama wange yali munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira era yanteerawo ekyokulabirako ekirungi.
Mu Ssebutemba 1941 waliwo olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwali mu kibuga Leicester. Emu ku mboozi ezaaweebwa yayogera ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna. Emboozi eyo yannyamba okukiraba nti ensonga eri wakati wa Yakuwa ne Sitaani naffe etukwatako. Emboozi eyo yalaga nti tulina okulaga nti tuli ku ludda lwa Yakuwa nga tusigala tuli beesigwa gy’ali ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna.
Olukuŋŋaana olwo lwassa nnyo essira ku ky’okuweereza nga bapayoniya, era abavubuka baakubirizibwa okuweereza nga bapayoniya. Emboozi eyalina omutwe ogugamba nti “Ekifo kya Bapayoniya mu Kibiina” yandeetera okwebuuza, ‘Ekifo kyange kye kiruwa?’ Olukuŋŋaana olwo lwannyamba okukiraba nti ng’omu ku abo abali mu kibiina kya Yekonadabu, nnalina okukola kyonna ekisoboka okuyamba abaafukibwako amafuta mu mulimu gw’okubuulira. Ku lukuŋŋaana olwo lwennyini, nnajjuza foomu ey’abo abaagala okuweereza nga bapayoniya.
OKUWEEREZA NGA PAYONIYA MU KISEERA KY’OLUTALO
Nga Ddesemba 1, 1941, nga ndi wa myaka 15, nnatandika okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Maama ye payoniya gwe nnasooka okukola naye, kyokka oluvannyuma lw’omwaka nga gumu, obulwadde bwamuleetera okulekera awo okuweereza nga payoniya. Ofiisi y’ettabi ly’e London yasindika Ow’oluganda Ron Parkin okudda mu kifo kya maama. Ow’oluganda oyo kati ali ku Kakiiko k’Ettabi ly’e Puerto Rico.
Twasindikibwa okuweereza mu kibuga Broadstairs ne Ramsgate mu ssaza ly’e Kent. Mu kiseera ekyo, bapayoniya baaweebwanga doola z’Amerika nga munaana okukola ku byetaago byabwe. Oluvannyuma lw’okusasulako ennyumba, twasigazanga ssente ntono nnyo, era oluusi twabanga tetumanyi na wa gye tunaggya kya kulya. Naye Yakuwa yatulabiriranga.
Twalina eggaali, era twazikozesanga okwetikka ebintu byaffe. Mu kiseera ekyo Abagirimaani baakubanga bbomu n’ebikompola ku kibuga London naye nga biyita Kent gye twali tubeera. Lumu nnalina okubuuka ku ggaali ne ngwa mu lukonko oluvannyuma lwa bbomu okumpita ku mutwe n’etulikira okumpi ne we nnali. Wadde ng’embeera teyali nnyangu, okuweereza nga bapayoniya mu Kent kyatuleetera essanyu lingi.
NTANDIKA OKUWEEREZA KU BESERI NGA NKYALI MUTO
Maama wange yayogeranga bulungi nnyo ku buweereza bwa Beseri. Yateranga okuŋŋamba nti, “Kijja kunsanyusa nnyo okukulaba ng’otandise okuweereza ku Beseri ng’okyali muto.” Lowooza ku ssanyu lye nnafuna mu Jjanwali 1946 bwe nnayitibwa okuweereza ku Beseri mu London okumala wiiki ssatu. Wiiki ezo bwe zaggwaako, Pryce Hughes, ow’oluganda eyali alabirira emirimu gy’oku ttabi, yansaba okusigala ku Beseri. Ebintu bye nnayiga nga mpeereza ku Beseri binnyambye nnyo n’okutuusa leero.
Mu kiseera ekyo, Beseri y’e London yalimu Ababeseri 30, nga bangi ku bo baali bavubuka abali obwannamunigina. Ate era ku Beseri eyo kwaliko n’ab’oluganda abaafukibwako amafuta abawerako, gamba nga Pryce Hughes, Edgar Clay, n’Ow’oluganda John Barr, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi. Nga nnafuna enkizo ya maanyi okukozesa emyaka gyange egy’obuvubuka okuyamba baganda ba Kristo nga nkolera wamu n’ab’oluganda abo abaali “ng’empagi”!—Bag. 2:9.
Lumu bwe nnali ku Beseri, ow’oluganda omu yaŋŋamba nti waaliwo omukyala eyali ayagala okundaba. Kyaneewuunyisa okulaba nga maama ye yali aze okundaba era ng’azze n’ensawo. Maama yagamba nti yali tagenda kuyingira kubanga yali tayagala kutaataaganya mirimu gyange. Naye yampa ensawo gye yali akutte n’agenda. Mu nsawo eyo mwalimu ekikooti. Ekyo maama kye yakola kyanzijukiza ekyo Kaana kye yakola bwe yatwaliranga mutabani we Samwiri ekizibaawo bwe yali aweereza mu weema entukuvu.—1 Sam. 2:18, 19.
OKUGENDA MU SSOMERO LYA GIREYAADI
Nze awamu n’ab’oluganda abalala bana abaali baweereza ku Beseri twayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 11 eryali mu Amerika mu 1948. We twatuukira mu New York, obudde bwali bunnyogovu nnyo. Ekirungi kiri nti nnalina ekikooti ekibuguma maama kye yali ampadde!
Siyinza kwerabira emyezi omukaaga gye nnamala mu Ssomero lya Gireyaadi. Okubeerako awamu n’ab’oluganda abaali bazze mu ssomero okuva mu nsi 16 ez’enjawulo kyanjigiriza ebintu bingi. Ng’oggyeko ebintu bye twayigirizibwa mu ssomero, nnaganyulwa nnyo okubeerako awamu n’ab’oluganda abaali bakuze mu by’omwoyo. Omu ku b’oluganda abo yali Lloyd Barry eyali muyizi munnange, omulala yali Albert Schroeder, eyali omusomesa waffe, n’omulala yali John Booth eyali alabirira ekifo awaali Essomero lya Gireyaadi. Oluvannyuma ab’oluganda abo abasatu baaweereza ku Kakiiko Akafuzi. Nsiima nnyo amagezi amalungi ab’oluganda abo ge bampa awamu n’ekyokulabirako ekirungi kye baateekawo mu kubeera abeesigwa eri Yakuwa awamu n’ekibiina kye.
MPEEREZA NG’OMULABIRIZI W’EKITUNDU ERA NZIRAYO KU BESERI
Bwe nnava mu Gireyaadi, nnasindikibwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu ssaza lya Ohio mu Amerika. Wadde nga nnali wa myaka 21 egy’obukulu, ab’oluganda bakkirizanga obulagirizi bwe nnabawanga. Bwe nnali mpeereza mu kitundu ekyo, nnina ebintu bingi bye nnayigira ku bakadde mu kibiina abaalina obumanyirivu.
Nga wayise emyezi mitono, nnayitibwa okuddayo ku Beseri e Brooklyn okwongera okutendekebwa. Mu kiseera ekyo, nnasobola okumanya ab’oluganda nga Milton Henschel, Karl Klein, Nathan Knorr, Thomas Sullivan, ne Lyman Swingle, nga bonna baaweerezaako ku Kakiiko Akafuzi. Kyanzizzaamu nnyo amaanyi okulaba engeri gye baali bakolamu emirimu gyabwe era n’okulaba engeri ennungi ze baayolekanga. Ekyo kyannyamba okwongera okussa obwesige mu kibiina kya Yakuwa. Oluvannyuma lw’okutendekebwa, nnaddayo okuweereza mu Bulaaya.
Maama wange yafa mu Febwali 1950. Bwe twamala okumuziika, nnatuulako wamu ne taata awamu ne mwannyinazze Dora ne njogerako nabo. Nnababuuza kiki kye baali balowooza ku kuyiga amazima okuva bwe kiri nti kati maama yali afudde ate nga nange nnali sikyabeera waka. Baali bamanyi Ow’oluganda Harry Browning eyali akaddiye era nga yafukibwako amafuta era baali bamussaamu ekitiibwa. Bakkiriza abayigirize Bayibuli. Mu mwaka gumu gwokka, taata ne mwannyinaze Dora baabatizibwa. Oluvannyuma taata yafuuka omuweereza mu kibiina ky’e Gillingham. Oluvannyuma lwa taata okufa, Dora yafumbirwa Ow’oluganda Roy Moreton, eyali aweereza ng’omukadde. Dora yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa mu 2010.
OKUWEEREZA MU BUFALANSA
Bwe nnali nkyasoma, nnayiga Olufalansa, Olugirimaani, n’Olulattini. Naye ku nnimi ezo essatu, Olufalansa lwe lwasinga okunkaluubirira. Bwe kityo, bwe nnasabibwa okugenda okuweereza ku Beseri y’e Paris mu Bufalansa nnawulira nga ntiddemu. Bwe nnali eyo, nnafuna enkizo okukolerako awamu n’Ow’oluganda Henri Geiger, eyali yafukibwako amafuta era nga ye yali alabirira emirimu ku ofiisi y’ettabi. Emirimu gye nnalina okukola tegyali myangu era nnakolanga ensobi nnyingi. Wadde kyali kityo, emirimu egyo gyannyamba okuyiga okukolagana obulungi n’abantu.
Ate era nnaweebwa obuvunaanyizibwa okuteekateeka olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu kibuga Paris mu 1951. Ow’oluganda Léopold Jontès, eyali aweereza ng’omulabirizi atambula yajja ku Beseri okunyambako. Oluvannyuma Ow’oluganda Léopold yalondebwa okulabirira emirimu ku ofiisi y’ettabi ly’e Paris. Olukuŋŋaana olwo lwali mu Palais des sports, okumpi n’omunaala gwa Eiffel. Abo abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baava mu nsi 28. Abajulirwa ba Yakuwa 6,000 abaali mu Bufalansa baasanyuka nnyo okukimanya nti olukuŋŋaana olwo lwaliko abantu abaawerera ddala 10,456!
Bwe nnali nnaakagenda mu Bufalansa, nnali sisobola kwogera bulungi Lufalansa. Ate ensobi ey’amaanyi gye nnakola kwe kuba nti bwe nnabanga ssikakasa bulungi kya kwogera, nnasalangawo okusirika. Naye nnakiraba nti omuntu bw’atakola nsobi tewabaawo amutereeza, era bw’atyo tasobola kuyiga.
Okusobola okugonjoola ekizibu ekyo, nnasalawo okuyingira essomero eriyigiriza abagwira Olufalansa. Nnasomanga buli kawungeezi ku nnaku kwe ssaabeereranga na nkuŋŋaana. Nnatandika okwagala olulimu Olufalansa, era emyaka bwe gigenze giyitawo nneeyongedde okulwagala. Ekyo kivuddemu emiganyulo mingi kubanga nsobodde okuyambako mu mulimu gw’okuvvuunula ebitabo. Oluvannyuma lw’ekiseera, nange kennyini nnatandika okuvvuunula ebitabo okuva mu Lungereza nga nziza mu Lufalansa. Nga nfunye enkizo ya maanyi okuyambako ab’ekibiina ky’omuddu omwesigwa okutuusa emmere ey’eby’omwoyo ku b’oluganda aboogera olulimu Olufalansa mu nsi yonna!—Mat. 24:45-47.
MPASA ERA NFUNA N’ENKIZO ENDALA
Mu 1956, nnawasa Esther, enzaalwa ya Switzerland era eyali aweereza nga payoniya era nga nnali nnamusisinkanako emyaka mitono emabega. Twagattirwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekyali okumpi ne Beseri y’e London. Ekizimbe ekyo mu kusooka kyali kiyitibwa London Tabernacle era mu kizimbe ekyo maama wange mwe yabatirizibwa. Ow’oluganda Hughes ye yawa emboozi. Maama wa Esther eyali Omukristaayo eyafukibwako amafuta naye yaliwo ku mukola ogwo. Okuwasa Esther, omukyala eyali omwesiga eri Yakuwa, kyampa akakisa okubeerangako awamu ne maama we, omukyala eyali ayagala ennyo Yakuwa era eyamuweereza n’obwesigwa okutuusa lwe yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi mu 2000.
Oluvannyuma lw’okuwasa Esther, nnalekera awo okusula ku Beseri. Kyokka, nnasigala nkyaweereza ku Beseri. Nnagendanga ku Beseri okuvvuunula ebitabo, ate nga ye Esther aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Paris. Esther yasobola okuyamba abantu bangi okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Mu 1964, twayitibwa okubeera ku Beseri. Mu 1976, Obukiiko bw’Amatabi bwe bwatandikibwawo, nnalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Esther ampagidde nnyo mu myaka egyo gyonna.
“SIJJA KUBA NAMMWE BULIJJO”
Nfunye enkizo okugenda ku kitebe kyaffe ekikulu mu New York emirundi egiwerako. Buli lwe mbadde ŋŋendayo, mbaddenga nfuna amagezi amalungi okuva eri ab’oluganda abatali bamu abali ku Kakiiko Akafuzi. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe nnagamba Ow’oluganda Knorr nti nnali mweraliikirivu olw’emirimu emingi gye nnalina okumaliriza mu kiseera ekigereke, yaŋŋamba nti: “Teweeraliikirira. Ggwe kola bukozi!” Okuva olwo, bwe mba n’eby’okukola ebingi, mu kifo ky’okupakuka, nkwata omulimu gumu ku gumu okutuusa gyonna lwe njimaliriza, era ebiseera ebisinga obungi njimalira mu budde.
Bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Sijja kuba nammwe bulijjo.” (Mat. 26:11) Naffe ab’endiga endala tukimanyi nti tetujja kubeera na baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta bulijjo ku nsi. N’olwekyo, ngitwala nga nkizo ya maanyi okuba nti mbadde nkolera wamu n’abaafukibwako amafuta okumala emyaka egisukka mu 70. Mu myaka egyo gyonna mbadde nneekutte ku lukugiro lw’Omuyudaaya.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku kibiina kya “Yekonadabu,” laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 83, 165, 166.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 21]
Ow’oluganda Knorr yaŋŋamba nti: “Teweeraliikirira. Ggwe kola bukozi!”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
(Ku kkono) Maama ne taata
(Ku ddyo) Nga ndi ku Ssomero lya Gireyaadi mu 1948, nga nnyambadde ekikooti maama kye yampa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Nga ntaputa emboozi Ow’oluganda Lloyd Barry gye yawa ng’ettabi lya Bufalansa liweebwayo mu 1997
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
(Ku kkono) Nga ndi ne Esther nga twakagattibwa
(Ku ddyo) Nga ndi ne Esther mu buweereza bw’ennimiro