OLUYIMBA 13
Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe
Printed Edition
1. Mazima Katonda
Waffe wa kwagala.
Yatwagala nnyo n’awaayo ’Mwana we.
Yesu yajja ku nsi
N’abeera ng’omuddu.
Ka tukoppeng’o bwetoowaze bwe.
2. Ebyawandiikibwa
Yabigoberera.
Yabisomanga ne bimuganyula.
Kristo yayagala
Nnyo obuweereza.
Ka tufube nnyo okumukoppa.
3. Tutambulire mu
Bigere bya Yesu.
Tujja kuweesa Yakuwa ’kitiibwa.
Ka tufube nnyo ffe
Okubeera nga ye.
Tujja kusanyusa nnyo Katonda.
(Laba ne Yok. 8:29; Bef. 5:2; Baf. 2:5-7.)