Oluyimba 81
“Twongere Okukkiriza”
Printed Edition
1. Tetuli batuukirivu, Yakuwa;
Emitima gyaffe gitulimba.
Ekibi ekitukwasa amangu
Kye ky’obutaba na kukkiriza.
(CHORUS)
Twongereko ’kukkiriza Yakuwa.
Obwetaavu bwaffe bukoleko.
Otwongere okukkiriza ffenna,
Tukuweese ’kitiibwa bulijjo.
2. Omuntu bw’ataba na kukkiriza,
Tayinza kusiimibwa ’maaso go.
Okukkiriza kulinga engabo.
Tetutya biseera bya mu maaso.
(CHORUS)
Twongereko ’kukkiriza Yakuwa.
Obwetaavu bwaffe bukoleko.
Otwongere okukkiriza ffenna,
Tukuweese ’kitiibwa bulijjo.
(Era laba Lub. 8:21; Beb. 11:6; 12:1.)