LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr18 Ddesemba lup. 1-7
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
  • Subheadings
  • DDESEMBA 3-9
  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
mwbr18 Ddesemba lup. 1-7

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

DDESEMBA 3-9

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 9-11

“Eyali Ayigganya Ennyo Abakristaayo Afuuka Omubuulizi Omunyiikivu”

bt-E lup. 60 ¶1-2

Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”

Ekibinja ky’abantu abakoze olukwe okukwata abayigirizwa ba Yesu banaatera okutuuka e Ddamasiko. Bagenda kuggya abayigirizwa ba Yesu mu maka gaabwe, babasibe era babatwale e Yerusaalemi mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya.

Omukulembeze waabwe Sawulo, yali yaakamala okuyiwa omusaayi. Gye buvuddeko, yasanyuka bwe yalaba nga banne batta Siteefano eyali omuyigirizwa wa Yesu omunyiikivu. (Bik. 7:57–8:1) Ng’oggyeeko okuyigganya abagoberezi ba Yesu abali mu Yerusaalemi, Sawulo era mumalirivu okuyigganya n’okusaanyaawo n’abo abali mu bitundu ebirala. Ayagala kumalirawo ddala akabiina akayitibwa “Ekkubo.”—Bik. 9:1, 2; laba akasanduuko “Sawulo Aweebwa Obuyinza ku Ddamasiko,” ku lupapula 61.

w16.06 lup. 7 ¶4

Yakuwa Ye Mubumbi Waffe

Yakuwa bw’atunuulira abantu, ky’atwala ng’ekikulu si ye ndabika ey’okungulu, wabula ky’ekyo omuntu ky’ali munda. (Soma 1 Samwiri 16:7b.) Kino kyeyoleka bulungi bwe tulowooza ku ebyo ebyaliwo nga Katonda atandikawo ekibiina Ekikristaayo. Yaleeta abantu gy’ali n’eri Omwana we, nga bangi ku bo baali ng’abatasaana mu ndaba ey’obuntu. (Yok. 6:44) Omu ku bantu abo ye Mufalisaayo eyali ayitibwa Sawulo, eyali ‘omuvvoozi, ng’ayigganya abalala, era nga tawa balala kitiibwa.’ (1 Tim. 1:13) Naye Oyo “akebera emitima,” teyatwala Sawulo ng’ebbumba eritalina mugaso. (Nge. 17:3) Mu kifo ky’ekyo, Katonda yatunuulira Sawulo ng’ebbumba erisobola okubumbibwamu ekibya eky’omuwendo. Mu butuufu, Ebyawandiikibwa biraga nti Pawulo yali kibya ekyalondebwa okutwala erinnya lya Katonda eri “ab’amawanga, eri bakabaka, n’eri abaana ba Isirayiri.” (Bik. 9:15) Mu bantu abalala Katonda be yatunuulira ng’ebbumba erisobola okubumbibwamu ebibya ‘eby’ekitiibwa,’ mwalimu abaali abatamiivu, abaali bakola eby’obugwenyufu, n’ababbi. (Bar. 9:21; 1 Kol. 6:9-11) Bwe baategeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda era ne bagakkiririzaamu, bakkiriza Yakuwa okubabumba.

bt-E lup. 64 ¶15

Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”

Oyinza okuteebereza engeri abantu gye beewuunyaamu n’obusungu bwe baawulira Sawulo bwe yatandika okubuulira ebikwata ku Yesu mu makuŋŋaaniro? Baabuuza nti: “Ono si ye musajja eyayigganya ennyo abo abaali mu Yerusaalemi abakoowoola erinnya lino?” (Bik. 9:21) Bwe yali annyonnyola ensonga lwaki yakyuka okudda eri Yesu, Sawulo ‘yalaga mu ngeri etegeerekeka obulungi nti Yesu ye Kristo.’ (Bik. 9:22) Naye okunnyonnyola mu ngeri etegeerekeka obulungi tekisobola kukyusa buli muntu. Wadde kiri kityo, Sawulo teyalekera awo kubuulira.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

bt-E lup. 60-61 ¶5-6

Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”

Yesu bwe yayimiriza Sawulo ng’agenda e Ddamasiko, Yesu teyamubuuza nti: “Lwaki oyigganya abayigirizwa bange?” Nga bwe tulabye waggulu, Yesu yamubuuza nti: “Lwaki onjigganya?” (Bik. 9:4) N’olwekyo, Yesu akwatibwako nnyo abagoberezi be bwe bayigganyizibwa.—Mat. 25:34-40, 45.

Bw’oba oyigganyizibwa olw’okukkiririza mu Kristo, beera mukakafu nti Yakuwa ne Yesu bategeera embeera gy’olimu. (Mat. 10:22, 28-31) Ebizibu biyinza obutavaawo kati. Kijjukire nti Yesu yalaba nga Sawulo yeenyigira mu kutta Siteefano, era yalaba Sawulo ng’asikambula abayigirizwa okubaggya mu maka gaabwe mu Yerusaalemi. (Bik. 8:3) Kyokka, Yesu talina kye yakolawo mu kiseera ekyo. Wadde kyali kityo, Yakuwa okuyitira mu Kristo, yawa Siteefano n’abayigirizwa abalala amaanyi ge baali beetaaga okusobola okusigala nga beesigwa.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 10:6

Simooni omuwazi w’amaliba: Omuwazi w’amaliba yakolanga ku maliba g’ensolo n’agaggyako ebyoya, oba ennyama n’amasavu ebyabanga bisigaddeko. Oluvannyuma lw’okugalongoosa obulungi n’omwenge omukka gaakolebwangamu ebintu eby’amaliba. Omulimu ogwo tegwabanga mwangu kubanga amaliba gaabanga gawunya nnyo era nga gwetaagisa okukozesa amazzi mangi. Eyo ye nsonga lwaki Simooni yabeeranga kumpi n’ennyanja, oboolyawo ku njegoyego za Yopa. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, omuntu eyakwatanga ku nsolo ezifudde teyabanga mulongoofu. (Lev 5:2; 11:39) N’olwekyo, Abayudaaya bangi tebaawanga bawazi b’amaliba kitiibwa era tebaayagalanga kubeeranga nabo. Ekitabo ekiyitibwa Talmud kyayogera ku mulimu gw’okuwala amaliba ng’ogwa wansi okusinga ku gw’okukuŋŋaanya obusa. Kyokka, Peetero teyakkiriza ndowooza eyo kumulemesa kugenda wa Simooni. Olw’okuba Peetero yalina endowooza ennuŋŋamu, kyamusobozesa okufuna obuvunaanyizibwa obulala, nga bwe bw’okugenda mu maka g’omuntu ataali Muyudaaya. Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti ekigambo ky’Oluyonaani byr·seusʹ, ekyavvuunulwa “omuwazi w’amaliba” lyali linnya lya Simooni eddala.

DDESEMBA 10-16

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 12-14

“Balunabba ne Pawulo Bafuula Abantu Abayigirizwa mu Bitundu eby’Ewala”

bt-E lup. 86 ¶4

“Beeyongera Okusanyuka n’Okujjula Omwoyo Omutukuvu”

Naye lwaki omwoyo omutukuvu gwawa obulagirizi okulonda Balunabba ne Sawulo “bakole omulimu”? (Bik. 13:2) Bayibuli tetubuulira nsonga. Naye kye tumanyi kiri nti omwoyo omutukuvu gwe gwawa obulagirizi abasajja abo balondebwe. Tewali we kiragibwa nti bannabbi n’abayigiriza abaali mu Antiyokiya baawakanya okusalawo okwo. Mu kifo ky’ekyo, baakuwagira. Teeberezaamu engeri Balunabba ne Sawulo gye baawuliramu nga baganda baabwe ‘basiiba, basaba, era ne babassaako emikono ne babasiibula’ nga tebabakwatiddwa buggya. (Bik. 13:3) Naffe tusaanidde okuwagira ab’oluganda abaweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina, nga mw’otwalidde n’abasajja abalondebwa okuba abakadde. Mu kifo ky’okubakwatirwa obuggya, tusaanidde ‘okubaagala ennyo era n’okubalaga ekisa olw’omulimu gwe bakola.’—1 Se. 5:13.

bt-E lup. 95 ¶5

“Boogera n’Obuvumu olw’Okuba Baafuna Obuyinza Okuva eri Yakuwa”

Pawulo ne Balunabba baasookera mu Ikoniyo, ekibuga ekyalimu Abayonaani era nga kye kimu ku bibuga ebikulu mu ssaza lya Rooma eryali liyitibwa Ggalatiya. Ekibuga kino kyalimu Abayudaaya bangi n’abatali Bayudaaya abawerako. Nga bwe yali empisa yaabwe, Pawulo ne Balunabba baagenda mu kkuŋŋaaniro ne batandika okubuulira. (Bik. 13:5, 14) ‘Baayogera bulungi nnyo, Abayudaaya n’Abayonaani bangi ne bafuuka bakkiriza.’—Bik. 14:1.

w14 9/15 lup. 13 ¶4-5

Weereza Katonda n’Obwesigwa Wadde ng’Oyita mu “Kubonaabona Kungi”

Oluvannyuma lw’okuva e Derube, Pawulo ne Balunabba “baddayo mu Lusitula, mu Ikoniyo ne mu Antiyokiya, nga bagumya abayigirizwa era nga babakubiriza okunywerera mu kukkiriza nga babagamba nti: ‘Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.’” (Bik. 14:21, 22) Mu kusooka, ebigambo ebyo biyinza okukwewuunyisa. Lwaki? Kubanga Pawulo bwe yali azzaamu bakkiriza banne amaanyi yabagamba nti bateekwa okuyita mu “kubonaabona kungi,” ekintu ekirabika ng’ekyali kibamalamu obumazi amaanyi. Naye kisoboka kitya okuba nti Pawulo ne Balunabba ‘baagumya abayigirizwa’ nga babagamba ebigambo ng’ebyo?

Tusobola okufuna eky’okuddamu singa twekenneenya bulungi ebigambo bya Pawulo. Pawulo teyagamba nti: “Tuteekwa okugumira okubonaabona kungi.” Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Bwe kityo, Pawulo essira yalissa ku kirabo abo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa kye bajja okufuna. Ekirabo ekyo kya ddala. Yesu yagamba nti: “Oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”—Mat. 10:22.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 5/15 lup. 32 ¶7

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume

12:21-23; 14:14-18. Kerode yakkiriza okutenderezebwa ng’ate Katonda yekka y’alina okutenderezebwa. Mu kino, yayawukanira ddala ku Pawulo ne Balunabba abaagaana okukkiriza okutenderezebwa abantu. Tetulina kukkiriza kutenderezebwa olw’ebirungi bye tukola mu kuweereza Yakuwa.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 13:9

Sawulo, era ayitibwa Pawulo: Okuva ku lunyiriri luno n’okweyongerayo Sawulo ayitibwa Pawulo. Omutume oyo yazaalibwa nga Mwebbulaniya era ng’alina obutuuze bwa Rooma. (Bik 22:27, 28; Baf 3:5) N’olwekyo, kirabika okuva mu buto yalina erinnya Sawulo ery’Olwebbulaniya n’erinnya Pawulo ery’Ekiruumi. Kyabanga kya bulijjo Abayudaaya ab’omu kiseera ekyo nnaddala abataabeeranga mu Isirayiri okubeeranga n’amannya abiri. (Bik 12:12; 13:1) N’abamu ku b’eŋŋanda za Pawulo baalina amannya g’Abaruumi n’Abayonaani. (Bar 16:7, 21) ‘Ng’omutume eri amawanga,’ Pawulo yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira amawulire amalungi eri abataali Bayudaaya. (Bar 11:13) Kirabika yasalawo okukozesa erinnya lye ery’Ekiruumi; ayinza okuba nga yalowooza nti lwe bajja okumuwuliriza. (Bik 9:15; Bag 2:7, 8) Abamu bagamba nti yakozesa erinnya ery’Ekiruumi okwagala okusanyusa Serugiyo Pawulo, naye ekyo kiyinza okuba nga si bwe kiri, kubanga Pawulo yeeyongera okukozesa erinnya eryo ne bwe yava mu Kupulo. Abalala bagamba nti Pawulo yeewala okukozesa erinnya lye ery’Olwebbuniya kubanga engeri gye lyatulwamu mu Luyonaani efaanagana n’ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza omuntu atambuza amalala.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 7:58.

Pawulo: Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, erinnya Pauʹlos, eriva mu kigambo Paulus eky’Olulattini, litegeeza “Omutono.” Likozesebwa emirundi 157 ku mutume Pawulo, era likozesebwa omulundi gumu ku w’essaza lye Kupulo Serugiyo Pawulo.—Bik 13:7.

Buulira nʼObunyiikivu

bt-E lup. 78-79 ¶8-9

“Ekigambo kya Yakuwa ne Kyeyongera Okubuna”

Ekibiina kyali kimanyi bulungi eky’okukola. Ebikolwa 12:5 wagamba nti: “Peetero yali akuumirwa mu kkomera, naye ekibiina kyanyiikira okumusabira eri Katonda.” Mu butuufu, essaala ze baasaba ku lwa Peetero zaali z’amaanyi era nga ziviira ddala ku mitima gyabwe. Okufa kwa Yakobo tekwabaleetera kuggwaamu maanyi, oba okulekera awo okusaba. Yakuwa atwala okusaba ng’ekintu ekikulu ennyo. Bwe tusaba nga bw’ayagala atuddamu.[6] (Beb. 13:18, 19; Yak. 5:16) Ekyo Abakristaayo leero kye basaanidde okukola.

Omanyiyo bakkiriza banno abalina ebizibu? Bayinza okuba nga bayigganyizibwa, baawerebwa, oba nga baafuna obutyabaga. Lwaki tobateeka mu ssaala zo? Oyinza n’okuba ng’omanyiiyo abamu abalina ebizibu naye nga si byangu bya kumanya, gamba ng’ebizibu mu maka, okwennyamira, oba ebyo ebigezesa okukkiriza kwabwe. Singa ofumiitiriza nga tonnasaba, bantu bangi b’osobola okusabira ng’oyogera eri Yakuwa, “awulira okusaba.” (Zb. 65:2) Okuva bwe kiri nti naawe bw’ofuna ebizibu ob’oyagala baganda bo bakusabire.

DDESEMBA 17-23

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 15-16

“Okusalawo Okwali Kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda”

bt-E lup. 102-103 ¶8

“Waabaawo Obutakkaanya n’Okuwakana okw’Amaanyi”

Lukka agattako nti: “Bwe waabaawo obutakkaanya n’okuwakana okw’amaanyi wakati waabwe [abasajja abamu] ne Pawulo ne Balunabba, enteekateeka ne zikolebwa [abakadde] ne batuma Pawulo ne Balunabba n’abalala eri abatume n’abakadde e Yerusaalemi babategeeze ku nsonga eno.” (Bik. 15:2) “Obutakkaanya n’okuwakana” okwo kwalaga nti enjuyi zombi zaalina bye zikkiriza eby’enjawulo, era ng’ekibiina ky’omu Antiyokiya tekisobola kugonjoola nsonga eyo. Olw’okwagala okukuuma emirembe n’obumu, ekibiina kyakola enteekateeka okwebuuza ku ‘batume n’abakadde ab’omu Yerusaalemi,’ abaali ku kakiiko akafuzi. Biki bye tuyigira ku bakadde b’omu Antiyokiya?

w12 1/15 lup. 5 ¶6-7

Abakristaayo ab’Amazima Bassa Ekitiibwa mu Bayibuli

Ebigambo ebiri mu Amosi 9:11, 12 byayamba nnyo mu kugonjoola ensonga eyo. Abatume baajuliza ebigambo ebyo nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 15:16, 17, awagamba nti: “Ndiddamu okuzimba eweema ya Dawudi eyagwa; era ndiddamu okuzimba ebyamenyekamenyeka ne ngiyimiriza nate, abantu abasigaddewo ku bantu bano basobole okunoonya Yakuwa, awamu n’ab’amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange, bw’ayogera Yakuwa.”

Naye omuntu ayinza okugamba nti, ‘ekyawandiikibwa ekyo tekigamba nti Ab’amawanga abaafuuka Abakristaayo baali tebeetaaga kukomolebwa.’ Ekyo kituufu; naye bo Abakristaayo Abayudaaya ago ge makulu ge bandifunye. Lwaki? Kubanga Ab’amawanga abakomole baali babatwala nga baganda baabwe, so si ‘ng‘abantu ab’amawanga.’ (Kuv. 12:48, 49) Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku nkyusa ya Bayibuli eya Bagster eya Septuagint, Eseza 8:17 wagamba nti: “Ab’amawanga bangi baakomolebwa, ne bafuuka Abayudaaya.” Bwe kityo, Ebyawandiikibwa bwe byagamba nti abantu b’ennyumba ya Isirayiri abaali basigaddewo (Abayudaaya n’Ab’amawanga abakyufu abaali abakomole) awamu n’abantu ‘ab’amawanga gonna’ (Ab’amawanga abataali bakomole) bandiyitiddwa erinnya lya Katonda, ekyo kyali kitegeerekeka bulungi. Ab’amawanga abaali baagala okufuuka Abakristaayo kyali tekibeetagisa kusooka kukomolebwa.

bt-E lup. 123 ¶18

“Azzaamu Ebibiina Amaanyi”

Pawulo ne Timoseewo baakolera wamu okumala emyaka mingi. Ng’abalabirizi abakyalira ebibiina, baakola emirimu egy’enjawulo ku lw’akakiiko akafuzi. Bayibuli egamba nti: “Bwe baagenda bayita mu bibuga, baabuuliranga abaayo eby’okugoberera ebyali bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi.” (Bik. 16:4) Kya lwatu nti ebibiina byagoberera obulagirizi obwali buva eri abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi. N’ekyavaamu, “ebibiina ne byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.”—Bik. 16:5.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w12 1/15 lup. 10 ¶8

Sigala ng’Otunula ng’Abatume bwe Baakola

Ebyo bye tulabye bituyigiriza ki? Kyetegereze nti Pawulo yamala kutandika lugendo lwe okugenda mu Asiya omwoyo gwa Katonda ne gulyoka gutandika okumuwa obulagirizi. Era Pawulo yamala kuba ng’anaatera okutuuka e Bisuniya Yesu n’alyoka amuwa obulagirizi obulala. Ate era, Pawulo yamala kutuuka ku mwalo gw’e Tulowa Yesu n’alyoka amulagira okugenda e Makedoni. Ng’Omutwe gw’ekibiina, naffe Yesu asobola okutuwa obulagirizi nga bwe yawa Pawulo obulagirizi. (Bak. 1:18) Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’obadde olowooza ku ky’okuweereza nga payoniya oba ku ky’okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Naye Yesu okusobola okukuwa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwa Katonda, olina okusooka okubaako ne ky’okolawo. Lowooza ku kino: Omuvuzi w’emmotoka okusobola okuweta emmotoka ye ku luuyi lwonna lw’aba ayagala, emmotoka erina okuba ng’etambula. Mu ngeri y’emu, Yesu okusobola okutuwa obulagirizi mu buweereza bwaffe, tulina okuba nga tulina kye tukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 16:37

tuli basajja Baruumi: Kwe kugamba, batuuze ba Rooma. Pawulo oboolyawo ne Siira baalina obutuuze bwa Rooma. Amateeka g’Abaruumi gaali gagamba nti omutuuze yalina okuwozesebwa mu ngeri entuufu era teyalina kubonerezebwa mu lujjudde nga talina musango gw’avunaanibwa. Omuntu eyabanga n’obutuuze bw’Abaruumi yabanga n’enkizo okukola ebintu ebimu mu matwale g’Abaruumi gonna awatali kukugirwa. Omuntu oyo yafugibwanga mateeka g’Abaruumi so si mateeka g’ebibuga ebyabanga mu matwale g’Abaruumi. Bwe yavunaanibwanga omusango, yabanga wa ddembe okukkiriza okuwozesebwa okusinziira ku mateeka g’omu kitundu kye yabeerangamu, oba okuwozesebwa mu kooti z’Abaruumi. Bwe baamusaliranga ogw’okufa, yabanga asobola okujulira ewa empula. Omutume Pawulo yabuulira mu bitundu bingi mu matwale g’Abaruumi. Emirundi esatu, Bayibuli eyogera ku ngeri Pawulo gye yakozesaamu eddembe lye ng’omuntu eyalina obutuuze bw’Abaruumi. Omulundi ogusooka, yagamba abalamuzi b’omu Firipi nti okumukuba kwali kutyoboola ddembe lye.—Okumanya emirundi emirala ebiri, laba awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 22:25; 25:11.

DDESEMBA 24-30

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 17-18

“Koppa Engeri Omutume Pawulo gye Yabuuliramu ne gye Yayigirizaamu”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:2, 3

n’akubaganya nabo ebirowoozo: Pawulo teyababuulira bubuulizi mawulire malungi. Yagannyonnyola era n’abawa obukakafu okuva mu Byawandiikibwa, kwe kugamba, okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyaluŋŋamizibwa. Teyakoma ku kusoma busomi Byawandiikibwa; yakubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa, era n’atuukaganya bye yali annyonnyola n’ebyetaago by’abamuwuliriza. Ekigambo ky’Oluyonaani di·a·leʹgo·mai kitegeeza “okukubaganya ebirowoozo n’omuntu; okunyumya.” Kizingiramu okukolagana n’abantu. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyo era kikozesebwa ne mu Bik 17:17; 18:4, 19; 19:8, 9; 20:7, 9.

ng’akozesa obukakafu obuli mu buwandiike: Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozesebwa wano obuteerevu kitegeeza “okuliraanya.” Ekyo kiyinza okutegeeza nti Pawulo yageraageranya n’obwegendereza obunnabbi obwali bukwata ku Masiya obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu, n’alaga engeri Yesu gye yatuukirizaamu obunnabbi obwo.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:17

katale: Kasangibwa bukiikakkono wa Akulopolisi, katale k’omu Asene (Oluyonaani, a·go·raʹ) akaali kaweza yiika 5 oba n’okusingawo. Akatale tekaali ka kugulamu buguzi na kutunda bintu kyokka. Naye era kaali ntabiro ya bya busuubuzi, eby’obufuzi n’eby’obuwangwa. Abaasene baakuŋŋaaniranga mu kifo ekyo eky’olukale ne babaako ensonga enkulu ze bakubaganyaako ebirowoozo.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:22, 23

Ekyoto kya Katonda Gwe Tutamanyi: Ebigambo by’Oluyonaani A·gnoʹstoi the·oiʹ bye bimu ku bigambo ebyali biwandiikiddwa ku kyoto ekimu mu Asene. Abaasene baali batya nnyo bakatonda baabwe era baabazimbira yeekaalu nnyingi n’ebyoto bingi. Era baakola n’ebyoto bya bakatonda b’ebintu gamba ng’Ettutumu, Obwetoowaze, Amaanyi, n’Obusaasizi. Oboolyawo olw’okutya nti bayinza okubaako katonda gwe baleseeyo, bwe batyo ne bamunyiiza, basalawo okukola ekyoto ekya ‘Katonda Atamanyiddwa.’ Ekyoto ekyo kyalaga nti baali bakkiriza nti waaliwo Katonda gwe baali batamanyi. Mu ngeri ey’amagezi, Pawulo yakozesa ekyoto ekyo okubabuulira ku Katonda ow’amazima gwe baali batamanyi.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 5/15 lup. 32 ¶5

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume

18:18— Pawulo yeeyama kukola ki? Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti Pawulo yali yeeyamye okuba Omunaziri. (Kubal. 6:1-21, NW) Naye, Bayibuli tetubuulira kiki Pawulo kye yali yeeyamye kukola. Era Ebyawandiikibwa tebiraga obanga Pawulo yeeyama amaze kufuuka Mukristaayo oba nga tannaba, wadde okulaga obanga yali atandika butandisi obweyamo obwo oba yali abumaliriza. Ekituufu kiri nti, tekyali kikyamu Pawulo kweyama.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 18:21

Yakuwa bw’anaaba ayagadde: Ebigambo ebyo biraga nti omuntu alina okulowooza ku ekyo Yakuwa ky’ayagala nga waliwo ky’akola oba ky’ateekateeka okukola. Ekyo omutume Pawulo kye yakola. (1Ko 4:19; 16:7; Beb 6:3) Omuyigirizwa Yakobo naye yatukubiriza okugamba nti: “Yakuwa bw’anaaba ayagadde, tujja kubeerawo era tukole kino oba kiri.” (Yak 4:15) Ebigambo ebyo tetulina kubyogera bwogezi, wabula bwe tugamba nti “Yakuwa bw’anaaba ayagadde” tuba tulina n’okukola Yakuwa by’ayagala. Tekitegeeza nti ebigambo ebyo buli kiseera tulina kubyatula, wabula tusobola n’okubyogerera mu mutima.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 21:14; 1Ko 4:19; Yak 4:15 n’Ebyong. C.

DDESEMBA 31–JANWALI 6

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 19-20

“Mwekuume Era Mukuume n’Ekisibo Kyonna”

w11 6/15 lup. 20-21 ¶5

“Mulundenga Ekisibo kya Katonda Ekyabakwasibwa”

Peetero yagamba nti abakadde abo baali balina ‘okulunda ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa.’ Baali beetaaga okukimanya nti ekisibo kya Yakuwa ne Yesu Kristo. Abakadde abo baali bavunaanyizibwa ku ngeri gye baali balabiriramu endiga za Katonda. Ng’ekyokulabirako, watya singa mukwano gwo akusaba okulabirira abaana be ng’aliko gy’alaze? Tewandifubye okubalabirira obulungi era n’obawa n’ebyokulya? Kiri kitya singa omu ku bo alwala, tewandifubye okulaba nti afuna obujjanjabi obwetaagisa? Mu ngeri y’emu, abakadde balina ‘okulunda ekibiina kya Katonda, kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.’ (Bik. 20:28) Balina okukijjukira nti buli ndiga yagulibwa n’omusaayi gwa Kristo Yesu ogw’omuwendo ennyo. Olw’okuba bavunaanyizibwa mu maaso ga Katonda, abakadde bafuba okuliisa, okukuuma, n’okulabirira ekisibo.

w13 1/15 lup. 31 ¶15

Abakadde mu Kibiina ‘Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’

Abakadde mu kibiina balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. Ebiseera ebimu abakadde babulwa n’otulo nga balowooza ku bakkiriza bannaabwe era oluusi bazuukuka n’ekiro okubasabira oba okubayamba. (2 Kol. 11:27, 28) Wadde kiri kityo, okufaananako Pawulo, abakadde bafuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe era ekyo bakikola n’essanyu. Pawulo yagamba Abakkolinso nti: “Nja kusanyuka okuwaayo buli kintu era nange kennyini nkozesebwe mu bujjuvu olw’obulamu bwammwe.” (2 Kol. 12:15) Olw’okuba Pawulo yali ayagala nnyo bakkiriza banne, yakola kyonna ekisoboka okubazzaamu amaanyi. (Soma 2 Abakkolinso 2:4; Baf. 2:17; 1 Bas. 2:8) Eyo ye nsonga lwaki ab’oluganda baali bamwagala nnyo!—Bik. 20:31-38.

bt-E lup. 172 ¶20

“Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”

Pawulo yeeyisa mu ngeri ya njawulo ku y’abo abandisuubidde ekibiina okubalabirira. Yakolanga emirimu okusobola okweyimirizaawo mu kifo ky’okukaluubiriza ekibiina. Bye yakolanga okuyamba bakkiriza banne byalaga nti yali teyeefaako yekka. Yakubiriza abakadde b’omu Efeso okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Yabagamba nti: “Mulina okukola ennyo bwe mutyo musobole okuyamba abeetaaga obuyambi, era mulina okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu, nga bwe yagamba nti: ‘Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.’”—Bik. 20:35.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

bt-E lup. 161 ¶11

“Kyeyongera Okubuna era n’Okuba eky’Amaanyi” Wadde nga Waaliwo Okuyigganyizibwa

Pawulo ayinza okuba nga yayogereranga mu kizimbe ky’essomero eryo buli lunaku okuva ku ssaawa nga 5 ez’okumakya okutuuka ku ssaawa nga 10 ez’olweggulo. (Bik. 19:9, obugambo obuli wansi) Kirabika ebyo byali biseera ebisingayo okuba ebisirifu kyokka nga bye bisingayo okuba eby’ebbugumu abantu we baawummulizanga emirimu gyabwe okusobola okuwummulako n’okufuna eky’okulya. Pawulo bw’aba nga yagoberera enteekateeka eyo okumala emyaka ebiri, kiba kitegeeza nti yamala essaawa ezisukka mu 3,000 ng’abuulira. Eyo ye nsonga endala lwaki ekigambo kya Yakuwa kyeyongera okubuna. Pawulo yali munyiikivu era ng’atuukana n’embeera. Yakyusa mu nteekateeka ye asobole okubuulira abantu b’omu kitundu ekyo. Kiki ekyavaamu? “Abatuuze b’omu ssaza ly’e Asiya bonna, Abayudaaya n’Abayonaani, baawulira ekigambo kya Mukama waffe.” (Bik. 19:10) Mazima ddala yawa obujulirwa mu bujjuvu!

bt-E lup. 162-163 ¶15

“Kyeyongera Okubuna era n’Okuba eky’Amaanyi” Wadde nga Waaliwo Okuyigganyizibwa

Okufeebezebwa kw’abaana ba Sukeva kwaviirako abantu bangi okutya Katonda ow’amazima ne bafuuka bakkiriza era ne balekayo ebikolwa eby’obusamize. Abeefeso baalina eby’obusamize bingi. Ebintu ebikozesebwa mu by’obusamize n’eby’obulogo byali buli wamu. Abeefeso bangi baggyayo ebitabo n’ebintu ebirala eby’obusamize ne babyokya mu lujjudde, wadde nga byali bya bbeeyi nnyo nga bibalirirwamu enkumi n’enkumi za ddoola. Lukka agamba nti: “Bwe kityo ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi.” (Bik. 19:17-20) Obwo nga bwali buwanguzi bwa maanyi nnyo! Abantu abo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Naffe tuli mu nsi ejjudde eby’obusamize. Bwe tuba n’ekintu kyonna ekyekuusa ku by’obusamize tusaanidde okukyeggyako mu bwangu ng’Abeefeso bwe baakola! Tusaanidde okweggyako ebintu ebyo ne bwe tuba nga twabigula ssente nnyingi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share