OLUYIMBA 54
“Lino Lye Kkubo”
1. Waliwo ekkubo
Nga lyo lya mirembe.
Lyeryo lye wayiga
Era nga lyava dda;
Lye kkubo eryo Yesu
Lye yakulaga.
Lya mirembe
Egiva eri Yakuwa.
(CHORUS)
’Kkubo lino lidda mu bulamu.
Tolivaamu; Totunula bbali!
Katonda ’gamba: ‘Kkubo lino,
Tolivaamu; litambuliremu.’
2. Waliwo ekkubo
Nga lyo lya kwagala.
Togenda walala;
Katonda ’tulaga
Okwagala kungi
Okwa nnamaddala.
’Kkubo lya kwagala;
Tukwatibwako nnyo.
(CHORUS)
’Kkubo lino lidda mu bulamu.
Tolivaamu; Totunula bbali!
Katonda ’gamba: ‘Kkubo lino,
Tolivaamu; litambuliremu.’
3. Waliwo ekkubo
Nga lyo lya bulamu.
Katonda ’tugamba:
Teri lirisinga;
Lino lya mirembe,
Lino lya kwagala,
Lino lya bulamu;
Twebaze Katonda.
(CHORUS)
’Kkubo lino lidda mu bulamu.
Tolivaamu; Totunula bbali!
Katonda ’gamba: ‘Kkubo lino,
Tolivaamu; litambuliremu.’
(Laba ne Zab. 32:8; 139:24; Nge. 6:23.)