LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • scl lup. 113
  • Okweraliikirira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okweraliikirira
  • Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu
Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu
scl lup. 113

Okweraliikirira

Owulira nga weeraliikiridde olw’ebizibu gamba ng’obwavu, obutaba na mmere, oba olw’obutaba na wa kubeera?

Nge 10:15; 19:7; 30:8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Kuk 3:19​—Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, nnabbi Yeremiya, okufaananako Abayudaaya abalala bangi, talina wa kubeera

    • 2Ko 8:​1, 2; 11:27​—Abakristaayo mu Masedoniya baavu nnyo; emirundi mingi n’omutume Pawulo abulwa eby’okulya, taba na bya kwambala, era abulwa aw’okusula

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

    • Zb 37:25; 145:15; Nge 10:3; Mat 6:​25-34

    • Laba ne Ma 24:19

Owulira nga weeraliikiridde olw’obutaba na mikwano, olw’ekiwuubaalo, oba olw’obutayagalibwa?

Yob 19:19; Mub 4:​10, 12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 18:22; 19:​9, 10​—Nnabbi Eriya awulira ekiwuubaalo olw’okuba alowooza nti ye yekka asigadde ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa

    • Yer 15:​16-21​—Nnabbi Yeremiya awulira ng’awuubadde olw’okuba abantu b’alimu baagala nnyo eby’amasanyu okusinga obubaka bw’ababuulira

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

    • Zb 25:​15, 16; 1Pe 5:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • 1Sk 19:​1-19​—Yakuwa awa Eriya eky’okulya n’eky’okunywa, amuwuliriza bulungi ng’amubuulira ebimweraliikiriza, amuyamba okukimanya nti alina amaanyi mangi

    • Yok 16:​32, 33​—Yesu akimanyi nti abatume be bajja kumwabulira, naye era akimanyi nti tali yekka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share