OLUYIMBA 99
Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde
Printed Edition
1. Obukadde n’obukadde
Obw’ab’oluganda,
Bajulirwa banywevu
Ate nga beesigwa.
Tuli bangi nnyo ddala
Ng’ate tweyongera.
Mu mawanga gonna ’g’omu nsi,
Tutenda Katonda.
2. ’B’oluganda tuli bangi;
Tubuulira wonna
’Mawulire ’malungi
Agayaayaanirwa.
Tubuulira n’essanyu
Wadde nga tukooye.
Yesu atuzzaamu amaanyi;
Tulin’e mirembe.
3. ’B’oluganda tuli bangi;
Katonda ’tukuuma
Era ’tulabirira
Nga tumuweereza.
Tuli bangi nnyo ddala;
Tubunyis’e njiri.
Katonda tukola naye nga
Tuweereza ku nsi.
(Laba ne Is. 52:7; Mat. 11:29; Kub. 7:15.)