W’Osobola Okutandikira Okusoma Bayibuli
Osobola okunyumirwa okusoma Bayibuli! Bino wammanga bye bimu ku by’osobola okutandikirako. Londako ekisinga okukukwatako, era osome ebyawandiikibwa ebiweereddwa.
Abantu Aboogerwako mu Bayibuli n’Ebintu Ebyaliwo
Nuuwa n’Amataba: Olubereberye 6:9–9:19
Musa ku Nnyanja Emmyufu: Okuva 13:17–14:31
Luusi ne Nawomi: Luusi essuula 1-4
Dawudi ne Goliyaasi: 1 Samwiri essuula 17
Abbigayiri: 1 Samwiri 25:2-35
Danyeri mu kinnya ky’empologoma: Danyeri essuula 6
Erizabeesi ne Maliyamu: Lukka essuula 1-2
Amagezi Agatuyamba mu Bulamu Obwa Bulijjo
Obulamu bw’amaka: Abeefeso 5:28, 29, 33; 6:1-4
Emikwano: Engero 13:20; 17:17; 27:17
Okusaba: Zabbuli 55:22; 62:8; 1 Yokaana 5:14
Okuyigiriza okw’Oku Lusozi: Matayo essuula 5-7
Okukola emirimu: Engero 14:23; Omubuulizi 3:12, 13; 4:6
Bw’Oba Nga . . .
Oweddemu amaanyi: Zabbuli 23; Isaaya 41:10
Ofiiriddwa omuntu wo: 2 Abakkolinso 1:3, 4; 1 Peetero 5:7
Omutima gukulumiriza olw’ekibi kye wakola: Zabbuli 86:5; Ezeekyeri 18:21, 22
Bayibuli ky’Eyogera ku . . .
Nnaku ez’enkomerero: Matayo 24:3-14; 2 Timoseewo 3:1-5
Biseera eby’omu maaso: Zabbuli 37:10, 11, 29; Okubikkulirwa 21:3, 4
KY’OYINZA OKUKOLA: Okusobola okumanya ensonga eba eyogerwako mu byawandiikibwa ebyo waggulu, soma essuula yonna oba essuula zonna omuggiddwa ebyawandiikibwa ebyo. Kozesa ekipande, “Lamba w’Otuuse mu Kusoma Bayibuli” ekiri ku nkomerero y’ekitabo kino olambe buli ssuula gy’oba omaze okusoma. Ssaawo ekiruubirirwa eky’okusoma Bayibuli buli lunaku.