Ekyabalamuzi
2 Awo malayika wa Yakuwa+ n’ava e Girugaali+ n’agenda e Bokimu n’agamba nti: “Nnabaggya e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe.+ Era nnagamba nti: ‘Sirimenya ndagaano gye nnakola nammwe.+ 2 Era nammwe temukolanga ndagaano na bantu ba mu nsi eno.+ Ebyoto byabwe mubimenyamenyanga.’+ Naye temuwulirizza ddoboozi lyange.+ Lwaki mukoze ekintu kino? 3 Nange kyenvudde ŋŋamba nti: ‘Sijja kubagoba mu maaso gammwe,+ era bajja kufuuka kyambika gye muli,+ era bakatonda baabwe bajja kubasendasenda.’”+
4 Malayika wa Yakuwa olwamala okwogera ebigambo ebyo eri Abayisirayiri bonna, abantu ne batandika okutema emiranga. 5 Ekifo ekyo ne bakituuma Bokimu,* era ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa mu kifo ekyo.
6 Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, buli omu ku Bayisirayiri n’agenda mu busika bwe okutwala ensi.+ 7 Abantu beeyongera okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna Yoswa we yabeererawo era n’ekiseera kyonna we waabeererawo abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa, abaali balabye ebintu byonna eby’ekitalo Yakuwa bye yakolera Isirayiri.+ 8 Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Yakuwa n’afa ng’alina emyaka 110.+ 9 Ne bamuziika mu kitundu eky’obusika bwe e Timunasu-keresi+ mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, ebukiikakkono w’Olusozi Gaasi.+ 10 Ab’omulembe ogwo bonna ne bagoberera bajjajjaabwe,* ne waddawo omulembe omulala ogutaamanya Yakuwa wadde ebyo bye yali akoledde Isirayiri.
11 Abayisirayiri ne bakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era ne baweereza* Babbaali.+ 12 Bwe batyo ne baleka Yakuwa Katonda wa bakitaabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri;+ ne bagoberera bakatonda abalala, bakatonda b’amawanga agaali gabeetoolodde,+ ne babavunnamira, ne banyiiza Yakuwa.+ 13 Bwe batyo ne baleka Yakuwa ne batandika okuweereza Bbaali n’ebifaananyi bya Asutoleesi.+ 14 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyaganga;+ n’abatunda mu mukono gw’abalabe baabwe abaali babeetoolodde,+ ne baba nga tebakyasobola kulwanyisa balabe baabwe.+ 15 Buli gye baagendanga Yakuwa yabalemesanga ne batuukibwako akabi+ nga Yakuwa bwe yali ayogedde era nga Yakuwa bwe yali abalayiridde,+ bwe batyo ne babeeranga mu buyinike obw’amaanyi.+ 16 Yakuwa n’abawanga abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gw’abo abaabanyaganga.+
17 Naye n’abalamuzi baagaana okubawuliriza, ne benda ku bakatonda abalala era ne babavunnamira. Baava mangu mu kkubo bajjajjaabwe abaagondera ebiragiro bya Yakuwa lye baatambulirangamu.+ Tebeeyisa nga bajjajjaabwe. 18 Buli Yakuwa lwe yabawanga abalamuzi,+ Yakuwa yabeeranga n’omulamuzi oyo era n’abalokola mu mukono gw’abalabe baabwe ennaku zonna omulamuzi oyo ze yabeerangawo, kubanga Yakuwa yabasaasiranga*+ bwe yawuliranga okusinda kwabwe olw’abo abaabanga bababonyaabonya+ n’abo abaabanga babakijjanya.
19 Naye omulamuzi bwe yafanga nga baddamu okukola ebibi ebyali bisinga n’ebyo bakitaabwe bye baakolanga, nga bagoberera bakatonda abalala, nga babaweereza era nga babavunnamira.+ Tebaalekayo bikolwa byabwe n’enneeyisa yaabwe eyali eyoleka emputtu. 20 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri,+ n’agamba nti: “Olw’okuba eggwanga lino limenye endagaano+ gye nnakola ne bajjajjaabwe era linjeemedde,+ 21 nange sijja kugoba mu maaso gaabwe ggwanga na limu ku ago Yoswa ge yalekawo mu nsi ng’afudde.+ 22 Kino nja kukikola okugezesa Isirayiri okulaba obanga banaanywerera mu kkubo lya Yakuwa+ ne balitambuliramu nga bakitaabwe bwe baakola.” 23 Yakuwa kyeyava aleka amawanga ago n’atagagobaamu mangu era n’atagagabula mu mukono gwa Yoswa.