LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 2:30-35
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 30 Naye Sikoni kabaka wa Kesuboni teyatukkiriza kuyita mu nsi ye, kubanga Yakuwa Katonda wo yamuleka n’awaganyala+ era n’omutima gwe ne gukakanyala asobole okumuwaayo mu mukono gwo nga bwe kiri leero.+

      31 “Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Laba, ntandise okukugabula Sikoni n’ensi ye. Tandika okutwala ensi ye.’+ 32 Sikoni bwe yafuluma n’abantu be bonna okutwaŋŋanga mu lutalo e Yakazi,+ 33 Yakuwa Katonda waffe n’amutugabula ne tumuwangula ye ne batabani be n’abantu be bonna. 34 Mu kiseera ekyo twawamba ebibuga bye byonna era ne tuzikiriza ebibuga byonna, n’abasajja, n’abakazi, n’abaana. Tewali n’omu gwe twalekawo.+ 35 Ensolo zokka ze twatwala ng’omunyago awamu n’ebyo bye twaggya mu bibuga bye twawamba.

  • Ekyamateeka 29:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 7 Kyaddaaki mwatuuka mu kifo kino era Sikoni kabaka w’e Kesuboni+ ne Ogi kabaka wa Basani+ ne bajja okutulwanyisa naye ne tubawangula.+

  • Ekyabalamuzi 11:19, 20
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 19 “‘Oluvannyuma lw’ebyo, Isirayiri yatuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abaamoli, kabaka wa Kesuboni, n’amugamba nti: “Tukusaba otukkirize tuyite mu nsi yo tugende ewaffe.”+ 20 Naye Sikoni teyeesiga Isirayiri kuyita mu nsi ye, era Sikoni yakuŋŋaanya abantu be bonna ne basiisira e Yakazi ne balwanyisa Isirayiri.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share