12 Bwe batyo ne baleka Yakuwa Katonda wa bakitaabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri;+ ne bagoberera bakatonda abalala, bakatonda b’amawanga agaali gabeetoolodde,+ ne babavunnamira, ne banyiiza Yakuwa.+
21 Temuyinza kunywa ku kikopo kya Yakuwa* ne ku kikopo kya badayimooni; Temuyinza kulya ku “mmeeza ya Yakuwa”*+ ne ku mmeeza ya badayimooni. 22 Oba, ‘tuleetera Yakuwa* okukwatibwa obuggya’?+ Tumusinga amaanyi?