-
Okubala 14:29-31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
29 Emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino,+ abo bonna mu mmwe abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, mmwe mmwenna abanneemulugunyizzaako.+ 30 Tewali n’omu ku mmwe ajja kuyingira mu nsi gye nnalayira* okubawa okubeeramu,+ okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.+
31 “‘“Abaana bammwe be mugambye nti bajja kufuuka munyago,+ abo be nja okuyingiza mu nsi, era bajja kumanya ensi gye munyoomye.+
-