43 Emirundi mingi yabanunula,+
Naye beewaggulanga era baajeemanga,+
Baafeebezebwanga olw’ensobi zaabwe.+
44 Naye yalabanga ennaku gye baabangamu+
Era n’awulira okuwanjaga kwabwe.+
45 Ku lwabwe yajjukiranga endagaano gye yakola nabo,
Era yabakwatirwanga ekisa, olw’okuba alina okwagala okutajjulukuka kungi.+