-
Nekkemiya 9:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Awo n’okola obubonero n’ebyamagero ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku bantu b’omu nsi ye bonna,+ kubanga wamanya nti baabonyaabonya+ abantu bo. Weekolera erinnya erikyaliwo ne leero.+ 11 Wayawuzaamu ennyanja mu maaso gaabwe, ne basomoka nga bayita ku ttaka ekkalu wakati mu nnyanja,+ era abaali babawondera wabakasuka mu buziba ng’ejjinja erikasukiddwa mu mazzi ageefuukuula.+
-
-
Kaabakuuku 3:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Wayita mu nnyanja n’ogirinnyirira n’embalaasi zo,
Wayita mu mazzi amangi agabimba.
-