-
Ekyamateeka 6:21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 omwana wo omugambanga nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu Misiri naye Yakuwa n’atuggyayo n’omukono ogw’amaanyi.
-
-
Ekyamateeka 11:18, 19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 “Ebigambo byange bino mubiteekenga ku mitima gyammwe era mubikolerengako mu bulamu bwammwe; mubisibenga ku mikono gyammwe bibeere ng’eky’okujjukiza, era binaabanga ng’eky’okwesiba mu byenyi byammwe.*+ 19 Era mubiyigirizenga abaana bammwe; mubyogerengako nga mutudde mu nnyumba zammwe, nga mutambula mu kkubo, nga mugalamidde, era nga mugolokose.+
-
-
Yoswa 4:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 gabe akabonero mu mmwe. Abaana* bammwe bwe bababuuzanga mu biseera eby’omu maaso nti, ‘Lwaki mwateeka wano amayinja gano?’+ 7 mubagambanga nti: ‘Amayinja gano kijjukizo kya lubeerera eri abantu ba Isirayiri,+ kubanga amazzi ga Yoludaani gaalekera awo okukulukuta mu maaso g’essanduuko+ ey’endagaano ya Yakuwa. Essanduuko y’endagaano bwe yali ng’esomosebwa, Omugga Yoludaani gwalekera awo okukulukuta.’”
-