Zabbuli 77:20 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 20 Abantu bo wabakulembera ng’ekisibo,+Ng’okozesa* Musa ne Alooni.+ Isaaya 40:11 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 11 Okufaananako omusumba, ajja kulabirira* ekisibo kye.+ Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe,Era ajja kuzisitulira mu kifuba kye. Ajja kukulembera n’obwegendereza ezo eziyonsa.+ Yeremiya 31:10 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 10 Mmwe amawanga, muwulire ekigambo kya Yakuwa,Era mukirangirire mu bizinga ebiri ewala:+ “Oyo eyasaasaanya Isirayiri ajja kumukuŋŋaanya. Ajja kumulabirira ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye.+ Ezeekyeri 34:12 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 12 Nja kulabirira endiga zange ng’omusumba azudde endiga ze ezibadde zisaasaanye n’aziriisa.+ Nja kuziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire n’ekizikiza ekikutte.+ 1 Peetero 2:25 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 25 Kubanga mwali ng’endiga ezibula;+ naye kaakano mukomyewo eri omusumba+ era omulabirizi w’obulamu bwammwe.
11 Okufaananako omusumba, ajja kulabirira* ekisibo kye.+ Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe,Era ajja kuzisitulira mu kifuba kye. Ajja kukulembera n’obwegendereza ezo eziyonsa.+
10 Mmwe amawanga, muwulire ekigambo kya Yakuwa,Era mukirangirire mu bizinga ebiri ewala:+ “Oyo eyasaasaanya Isirayiri ajja kumukuŋŋaanya. Ajja kumulabirira ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye.+
12 Nja kulabirira endiga zange ng’omusumba azudde endiga ze ezibadde zisaasaanye n’aziriisa.+ Nja kuziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire n’ekizikiza ekikutte.+
25 Kubanga mwali ng’endiga ezibula;+ naye kaakano mukomyewo eri omusumba+ era omulabirizi w’obulamu bwammwe.