-
Eby’Abaleevi 16:21, 22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Alooni anassanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu n’agyatulirako ensobi z’Abayisirayiri zonna, n’ebyonoono byabwe, n’ebibi byabwe byonna, n’abiteeka ku mutwe gw’embuzi,+ n’agisindiikiriza mu ddungu ng’etwalibwa omuntu anaabanga alondeddwa okukola kino.* 22 Anaasindiikirizanga embuzi, era eneetwalanga ebibi byabwe byonna+ mu ddungu.+
-