17 Yayima waggulu n’agolola omukono gwe,
N’ankwata n’anzigya mu mazzi amawanvu.+
18 Yannunula mu mukono gw’omulabe wange ow’amaanyi,+
Yannunula mu mukono gw’abo abatanjagala era abaali bansinga amaanyi.
19 Bannumba ku lunaku lwe nnali mu buzibu,+
Naye Yakuwa yannyamba.
20 Yantwala mu kifo omutali kabi;+
Yannunula kubanga yali asiima bye nkola.+