LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 31:20
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 20 Bwe nnaabatuusa mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe+—ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki+—ne balya ne bakkuta ne bagejja,+ bajja kukyuka badde eri bakatonda abalala babaweereze, bannyoome, era bamenye endagaano yange.+

  • 2 Bassekabaka 17:13, 14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 13 Yakuwa yalabulanga Isirayiri ne Yuda ng’ayitira mu bannabbi be bonna ne mu abo bonna abaategeezanga abantu okwolesebwa okwavanga gy’ali,+ ng’agamba nti: “Muleke amakubo gammwe amabi!+ Mukwate amateeka gange n’ebiragiro byange byonna ebiwandiikiddwa mu mateeka ge nnawa bajjajjammwe era ge nnabawa nga mpitira mu baweereza bange bannabbi.” 14 Naye tebaawuliriza, era baasigala bakakanyavu nga* bajjajjaabwe abataalaga kukkiriza mu Yakuwa Katonda waabwe.+

  • Nekkemiya 9:26
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 26 “Kyokka tebaali bawulize; baakujeemera+ era baava ku Mateeka go.* Batta bannabbi bo abaabalabulanga basobole okubazza gy’oli, era baakolanga ebikolwa eby’obunyoomi ennyo.+

  • Isaaya 1:4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  4 Zisanze eggwanga eryonoonyi,+

      Abantu abeetisse ebibi ebingi,

      Abantu ababi, abaana aboonoonefu!

      Bavudde ku Yakuwa;+

      Banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri;

      Bamukubye amabega.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share