24 Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ebisubi
Era ng’essubi ekkalu bwe liggweerera mu nnimi z’omuliro,
N’emirandira gyabwe bwe gityo bwe girivunda,
Era n’ebimuli byabwe birifuumuuka ng’obuwunga,
Kubanga baagaana amateeka ga Yakuwa ow’eggye
Era baanyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.+